TOP

Ennaku ennumidde mu laavu ne nkoowa abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2020

GODFREY Bogere yatuuse mu katale k’oku Kaleerwe ng’avuga pikipiki. Alina we yagisimbye ne yeesogga akatale okugula ebintu.

Yiga 703x422

Bogere ng’akunguzza Niwagira okumutwala ku poliisi.

Obwedda akola bino byonna ng’omuvubuka Ronald Niwagira amulaba. Yasoose kugula nnaanansi n’azisiba ku boodabooda ye n’addayo.

Niwagira yamulabirizza n’asumululako ennaanansi n’abulawo. Waliwo abaamulabye ne batemya ku Bogere n’amulinnya akagere n’amukwata n’amukuba.

Yafunye abamuyambako abamu ne bakwata erudda n’abalala erudda ne bamukunguzza ng’eno bwe bamuyisaamu empi n’ensambaggere era baagenze okumuta ng’empale baziyuzizza ate n’adda mu kulaajana nti, ‘‘bannange musooke mundeke nneetereeze abakazi bagenda kunsekerera nga waya waya eri wabweru’’.

Bino tebaabiwulirizza ne bamusika ebitogi ne bamu-kunguzza okumutwala ku poliisi y’oku Kaleerwe.

Olwatuuse eno ate ne yeekangabiriza ng’agamba abaserikale nti nga tebannaba kumuyingiza Kaduukulu basooke bakwate abaamukubye kuba baatwalidde amateeka mu ngalo.

Niwagira yakkirizza ogw’okutwala ennannansi kyokka n’agamba nti baabadde tebalina kumukuba batyo ng’omutemu.

Abasuubuzi baagambye nti bakooye ababbi ku Kaleerwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde