TOP

Valentayini ya 2019 yazza buggya laavu yaffe

By Patrick Kibirango

Added 13th February 2020

SALIM Ssentongo ne Tarkia Nanyunja ab’ e Ndejje Kibutika bagamba nti omukwano gwabwe we batuukidde essaawa ya leero nga guli mu bire.

Val1 703x422

Salim ne Tarkia lwe baagenda ku bizinga e Kalangala omwaka oguwedde.

SALIM Ssentongo ne Tarkia Nanyunja ab’ e Ndejje Kibutika bagamba nti omukwano gwabwe we batuukidde essaawa ya leero nga guli mu bire.

Bino byonna bibala bya Valentayini ya 2019, Bukedde Ttivvi bwe yabawa omukisa ne bamala ennaku bbiri nnamba ku bizinga by’e Ssese nga beeraga amapenzi mu kalulu ka Valentayini Maseeyeeye.

Bano abaasangiddwa mu mukwano ogutiiriika ng’omubisi gw’enjuki baagambye nti mu kiseera we baagendera ku bizinga, Nanyunja yali lubuto era nti situlesi gye yalina mu kiseera ekyo yagenda okudda ng’ateredde.

 alim ne arkia ne bbebi waabwe Salim ne Tarkia ne bbebi waabwe.

 

“Embeera omukyala gy’ayitamu ng’ali lubuto etegeerekeka mukyala munne naye nze essanyu lye naggya ku bizinga mu bikujjuko bya Valentayini nagenda nalyo mu leeba kuba bwemba sirimbye ssaawulira na ku mwana bw’aluma ekyali kitambeerako,” Nanyunja bw’anyumya.

Ssentongo obwedda ayogera nga bw’abuuza ekyana kye nti ‘Bbebi wamma nnimba ?’, yannyonnyodde nti Valentayini y’omwaka oguwedde we yategeerera nti waliwo abantu abanyumirwa ensi y’omukwano.

“Nze nnali ssimanyi nti buli lw’otwala omukyala Valentayini ya 2019 yazza buggya laavu yaffe n’omucakazaamu omukwano gwammwe gw’ekubisaamu emirundi bukadde, era kino Bukedde ye yakinsomesa,” Ssentongo bwe yagasseeko.

Bano baategeezezza nti essanyu lye baava nalyo ku bizinga n’okutuusa olwaleero likyabali ku mutima ate buli lwe batunula ku zzadde lye baafuna nga baakava mu bizinga buli omu ayongera okwagala munne era omwana waabwe baamuwa erinnya lya Afreem eritegeeza Obuzira.

Ne ku mulundi guno Bukedde TV ezzeemu okuteerawo abaagalana omukisa gw’okufuula Valentayini yaabwe eya 2020 ey’ebinnonoggo ng’ ebazzaayo ku bizinga bye Ssese gye bagenda okumala ebiro bibiri nga beeraga laavu mu kye batuumye OMUHABATI KU KIZINGA.

Okuwangula, olina okwekuumira ku Bukedde TV bw’olaba oluyimba lwa Rema Namakula oluyitibwa CLEAR olwo ng’osindika obubaka mw’otadde erinnya lyo, gy’obeera, obudde kw’owuliridde oluyimba wamu n’obugambo obusuusuuta omwagalwa wo, osindike ku peegi ya Bukedde Tv.

Anaasinza obugambo obuwoomu y’ajja okuwangula n’omwagalwawe. Osobola okukuba essimu mu pulogulaamu ya Kayisanyo n’owaana omwagalwa wo era abanaasinga okuwaana ebijuujulu byabwe be bajja okuwangula. Bino biwagiddwa aba Brovad Sands Louge e Kalangala, Beats by Deryk ne Delight Decors ng’okuwangula kugenda mu maaso okutuusa wiiki esemba mu February

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu