TOP

Ffembi twazaalibwa ku Valentayini

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2020

Olunaku Kaitesi lwe yanziramu nti ‘I Love you too’ nasula seebase. Omutima gwatandika okunkubira okumukumu n’ebirowoozo ne byesomba.

Damba1 703x422

Tadius ne Juliet nga bali ne bbebi waabwe.

EBINTU bingi ebibaawo mu bulamu ebyewuunyisa. bya Lawrence Mukasa 

Laavu ky’ekimu ku bintu ebisinga okufuga obulamu bw’abantu era omuntu bw’afuna munne ng’emitima gyabwe gikubira wamu awo babeera baddembe okubera bonna.

Tadeo Ddamba n’omwagalwa we Juliet Kaitesi ab'e Kireka bagamba nti baasisinkana mu 2014 ku dduuka eritunda essimu, Ddamba we yali akolera n’atandika okumwogereza okumala emyezi 8 naye nga Kaitesi akyeremye.

“Mu September natandika okuwulira nga Kaitesi ankandaalirizza nnyo ne njagala mmwesonyiwe so nga bambi ate we nnali nkooyedde ate nga ye w’asumululidde omutima gwe.

Olunaku Kaitesi lwe yanziramu nti ‘I Love you too’ nasula seebase. Omutima gwatandika okunkubira okumukumu n’ebirowoozo ne byesomba.

Nalwawo okukikkiriza nti yali anzikirizza era nga mwetegefu okubeera nange.

Twatandika okumanyaganya mu nnaku ezaddako era eno gye twazuulira nti olunaku lwe twazaalibwa lwe lumu ate nga lwe lunaku lwennyini olw’abaagalana nga February 14 okuggyako emyaka gye gyawukana.

Olunaku luno buli lwe lutuuka buli omu abeera alwesunga nga mbaga era tubeera mu mpaka z’ani asinga okulaga munne amapenzi anti ebirabo tubigabana kyenkanyi.

Ye Kaitesi agamba nti ekimu ku bisinga okumwagaza olulenzi lwe kwe kuba nti lumufaako nnyo ate nga lumanyi n’omukwano, ‘mu butuufu omusajja atamanyi laavu ne bw’abeera ne ssente atama’.

Bano buli Valentayini lw’etuuka babeera n’emikolo ebiri egy’okukuza omuli olw’abaagalana n’olwamazaalibwa gaabwe.

Ono era ayongerako nti tagenda kwerabira Valentayini ya 2017 kwe yafunira olubuto lwa muwala waabwe Alma Favor Ddamba gwe balina kati era ono agamba nti ekiro ekyo kijja kulwawo okumuva ku mutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu