TOP

Omwagalwa tomutonera kimuli kya pulasitiika

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2020

OLUNAKU lw’abaagalana bangi abaluwa ekitiibwa nga batandikira ku nnyambala, okwegabira ebirabo, okugendako awutu ne kalonda omulala era bw’oyita mu kibuga oyanguwa okumanya nti bangi balutegedde.

Valentine22 703x422

Ekimuli ky’oyinza okutonera omwagalwa wo.

OLUNAKU lw’abaagalana bangi abaluwa ekitiibwa nga batandikira ku nnyambala, okwegabira ebirabo, okugendako awutu ne kalonda omulala era bw’oyita mu kibuga oyanguwa okumanya nti bangi balutegedde.

Ekimuli kye kimu ku birabo ebisinga okuggyayo obulungi amakulu, ekifaananyi oba akabonero k’omukwano ku lunaku luno.

Era bangi ku lunaku luno bafaayo nnyo okulaba nti mu birabo ebingi bye batonera abaagalwa baabwe ekimuli tekibulamu.

Wadde nga kituufu ekimuli kabonero ka mukwano naye si buli kimuli ky’osanze nti oteekeddwa okukiwa munno ng’akabonero akalaga omukwano.

Waliwo ebimuli ebikolerere (Artifi cial fl owers) n’ebyo ebiviira ddala mu nnimiro era nga bino byombi birina omugaso gwabyo ogw’enjawulo ng’abaagalana bandibade bamanya enjawulo yaabyo n’emigaso gyabyo.

 

Ndelia Ned atunda ebimuli ku Game e Lugogo agamba nti ebimuli ebitali bya ‘nnaco’ bisobola okubeerawo okumala akabanga nga tebyonoonese era omuntu akirina omulimu gwe gubeera gwa kukikubako nfuufu n’addamu n’akitereka.

Ebimuli eby’ekikula kino ebimu biteekebwa ku mmeeza mu ddiiro, mu offi si, mu masinzizo, ku bisenge by’ennyumba mpozzi n’okutimbibwa ne ku mikolo ng’embaga n’okwanjula ssaako emikolo emirala egy’essanyu.

Ebimuli eby’ekika kino bikolebwa mu bintu nga pulasitiika, empapula, ‘rubber’, mu ngoye n’ebintu ebirala bingi.

Ndelia agamba nti omuntu ng’ayagala munne ku mutima ne mu musaayi olina kumuwa kimuli nga kiri ‘fresh’ kubanga kino kiraga obulamu bw’omuntu bwe bubeera nga si bukolerere.

Ekimuli ekiri ‘fresh’ kiraga nti omukwano gw’olina eri munno si mukolerere wabula gwa butonde era eyo y’ensonga lwaki n’abafi iriddwaako abaabwe bye bimuli bye bimu bye bakozesa nga balaga omukwano gwe babadde nagwo eri omuntu oyo abeera afudde.

Ayongerako nti ekimuli ekinogeddwa mu nnimiro kibeera n’akawoowo kaakyo ak’obutonde ekiraga omuntu oyo nti akuwulikikira ng’akawoowo k’ekimuli ekyo akatali kapange.

Ndelia agamba nti olina okwegendereza ng’ogula ekimuli kino kubanga bya njawulo, okugeza ekimuli ky’akasero wandibadde okigulira oyo omuntu gw’oludde naye mu mukwano, ate ku basajja bw’oba olina omuwala gw’okyakwana kinyuma nnyo n’omutonera akamuli ka looza ne bwe kaba kamu.

 kirabo ekisibiddwa obulungi Ekirabo ekisibiddwa obulungi.

 

OSOBOLA OKUTONA EKIRABO EKIRALA Ndelia ayongerezaako nti ng’oggyeeko ekimuli, waliwo ebintu ebirala by’osobola okuwerekerezaako munno n’ayongera okusanyuka wabula kyandibadde kirungi n’osooka weebuuza kw’ebyo ebiraga omukwano okugeza, omuntu toyinza kutonera munno bikopo, amasowaani oba esseffuliya ku lunaku nga luno wadde ng’ebimu bibeera bya bbeeyi, naye ate aguzeemu waakiri kacokuleeti, kasswiiti oba kkeeki ku 20,000/- n’agattako n’akamuli yandikusigira wala.

Ndelia agamba nti ngoggyeeko ebyokulya n’ekimuli, kyandibade kirungi munno n’omutonerayo n’akalabo k’anaasigala ng’alabako era ng’akujjuukirirako okugeza, munno oyinza okumugulira olugoye, engatto, ensawo, essaawa, omusipi ne kalonda omulala agwa mu ttuluba eryo.

Waliwo n’abagula obugoye obwomunda, naye buno kiba kirungi n’otonera oyo gw’oludde naye. Bw’obugulira gw’okyakwana ayinza okukitwala obulala. Ate ku muntu gw’oteekakasa bulungi by’ayagala, oyinza okumugulira essimu, wayini, kalifuuwa n’ebintu ebirala ebitatera kuboola era ng’omuntu alina okukimanya nti ekikulu mu kutona oluusi si bbeeyi yeekyo ky’otona wabula amakulu agali mwekyo ky’otonye n’okwongera okulaga munno nti ddala omulowoozaako era omufaako.

Waliwo obulabo abantu bwe balaba ng’obutono naye nga bulina amakulu mangi nga sswiiti w’akati, cokuleeti, bisikwiti, ayisikuliimu, apo, akatambaala n’obulabo obulala obugwa mu ttuluba eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu