TOP

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime biki

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2020

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz bw’aba ayagala kumusiima amunoonyeko wabula agenda akimanyi nti ye (Kenzo) bwe yali akyabeera ewa Aziz yakola emirimu mingi nga kumpi alinga mupakasi.

Kenzo 703x422

Byatandise wiiki ewedde, Kenzo bwe yabadde e Kololo n’ategeeza nti bwe yali akyabeera ewa Aziz, yamugoba mu nnyumba mwe yali amusuza nga talina ky’amukoze kati yeewuunya eby’okumusasula by’ayogerako.

Kenzo eyabadde ku Happy Boys e Busega ku Ssande yategeezezza nti talina buzibu na Aziz wabula amwewuunya mu kifo ky’okumutuukirira mu buntu ate agenda amwogerera amafuukuule.

Yamujjukizza nti nga bwe yamwegobera bwe baali bakyayimba bombi mu ngeri y’emu yamulinda dda olunaku lw’alimuyita amwetondere olw’okumugobera obwereere baddemu bakolagane wabula takikolanga.

Aziz agamba nti Kenzo y’alina okumwetondera olw’obutasiima bye yamukolera bwe yali atandika okuyimba nga Aziz amukubira ebidongo n’okumusuza wabula n’amuwaayiriza nga bwe yamugoba ng’ate tamugobangako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...