TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’ beesunga kulya bulamu e Kalangala

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’ beesunga kulya bulamu e Kalangala

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba mu kalulu nga n’abaayiseemu bali mu keetalo nga beetegekera olugendo.

Muhabati 703x422

Akazanyo kayitibwa ‘‘Omuhabati ku Kizinga’’.

Buli mwaka Bukedde TV eddiza bakasitoma baayo ng’etwala emigogo gy’abaagalana ku bizinga by’e Kalangala gye bamala ebiro 2 nga balya obulamu.

Ku luno abawanguzi bagenda ku Brovad Sands Louge.

Dorah Nyangoma Hazzel kitunzi wa Brovad yategeezezza nti bategekedde abantu bano ebinyuma.

Abawanguzi nga tebannaba kusimbula, baakuyooyootebwa aba Beats By Deryk era Derrick Ssekamatte yakakasizza nti baakuleeta abakugu abagenda okubakolako mu ngeri ey’enjawulo ate aba Delihgt Decors be bagenda okutimba ekifo.

Conrad Kaheeru Bukonyezi kitunzi wa Vision group yategeezezza nga enteekateeka zonna bwe ziwedde ng’era omukisa gw’abantu okuwangula gukyaliwo.

Okuwangula olina kwekuumira ku Bukedde TV nga bw’olaba oluyimba lwa Clear olwa Rema Namakula ng’osindika obubaka omuli: erinnya, gy’obeera, obudde kw’owuliridde oluyimba n’obugambo obusuuta omwagalwa wo n’obusindika ku peegi ya Bukedde TV era asinga okuwaana munne y’awangula.

Oyinza okukuba essimu mu pulogulaamu y’Akayisannyo n’owaana omwagalwa wo. Abawanguzi baakusimbula okuva ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde nga February 28.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....