TOP

Poliisi etaddewo amateeka amakakali ku bakuba obucup

By Josephat Sseguya

Added 11th March 2020

ABADIGIZE ababadde bagufudde omuze okukuba abayimbi obucupa mu bivvulu ebyammwe bibi.

Cidy2 703x422

Cindy Ssanyu ng’akubira abadigize omuziki ku Cricket Oval e Lugogo.

Poliisi egenda kukozesa embwa, abaserikale b’ebitongole by’obwannakyewa, abaserikale ba poliisi aba leeya n’aba yunifoomu, bakanyama n’engeri endala okumalawo omuze guno.

Amateeka gano amapya gagenda kwetaagisa abategesi b’ebivvulu okulaga poliisi omuwendo gw’abacakaze be basuubira mu kivvulu n’obukuumi obubwe ng’omutegesi omuli bakanyama, abakuumi b’obwannannyini n’ebirala balyoke bamanye omuwendo gw’abaserikale be bamuwa okumuyambako.

Kino kiddiridde abadigize okukuba Bebe Cool obucupa mu kivvulu kya Cindy Sanyu ku Lwomukaaga mu kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo era waliwo abantu abaalumiziddwa.

 bamu ku badigize abaabadde mu kivvulu kya indy e ugogo Abamu ku badigize abaabadde mu kivvulu kya Cindy e Lugogo.

 

POLIISI EKUTTE 11

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga eyabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Mmande yategeezezza nti ku baakubye Bebe Cool baakakwatako 11 nga bali ku poliisi ya Jinja Road nga n’abalala bakyabanoonya.

Poliisi okuvaayo kiddiridde Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okugenda ku mukutu gwe ogwa Twitter n’abuuza bakanyama ne poliisi gye baabadde ng’abacakaze bakuba omuyimbi oyo n’okulumya abantu abalala.

Yasuubizza nti omuntu yenna anaakubanga omuntu mu kivvulu wakuggulibwangako omusango omunene ogumugyamu kubanga kikolwa kya butemu.

Ye Bebe Cool yasabye wabeewo ne kkamera mu bivvulu nga zirondoola ba bucupa.

Yagasseeko nti agenda kulabirira abaana b’abafu abattiddwa ku lw’abawakanya Gavumenti naddala Bobi Wine, Bajjo ne Abtex abaalagira abadigize okutandika eby’okukuba abayimbi obucupa mu bivvulu n’agamba nti abafi ira mu buvuyo buno bakozesebwa bukozesebwa.

Yasazeewo agende abiyitiremu Pulezidenti Museveni aweeyo ky’alina batandikire awo. Ritah Nabukenya ne Yasin Kawuma be bamanyiddwa ennyo mu ba People power abafi iridde mu kwekalakaasa okuzze kubaawo.

Mu bazze bakubwa obucupa abalala mulimu Catherine Kusasira, Big Eye, Full Figure n’abalala.

Ekivvulu kya Cindy kyakutteyo nnyo nga nakyo kyasooka kuvumirirwa bawagizi ba People Power naddala Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo ekiwaga Bebe okugamba nti be baakubye mu bantu omuliro okumukuba obucupa.

Bebe y’omu ku baayita abantu okwetaba mu kivvulu kya Cindy era yamusaasidde olw’ebyamuguddeko.

 ebe ool ngayogera ku baamukubye obucupa e ugogo Bebe Cool ng’ayogera ku baamukubye obucupa e Lugogo.

 

ABTEX AMWANUKUDDE Abtex yategeezezza Bukedde nti ebya Bebe Cool tebibakwatako kubanga tewali bujulizi bulaga nti be bassa ssente mu babakuba obucupa. Yasabye poliisi okuyimbula abaakwatiddwa ng’agamba nti baabakwatidde bwereere ebya Bebe Cool bya bulimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo