TOP

Gwe nnalonda ekkubo yankolako effujjo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2020

NZE Ronald Nejjo. Siyinza kwerabira omuwala gwe nnalonda ekkubo ne mutwala ewange. Yankolako effujjo katono linzite.

Muwala 703x422

NZE Ronald Nejjo. Siyinza kwerabira omuwala gwe nnalonda ekkubo ne mutwala ewange. Yankolako effujjo katono linzite.

Ndi mugoba wa bboodabbooda ku Kalerwe ng’omuwala gwe nategeerako erya Nakalema namwegomba bwe nali muvuga ku bbooda nga muggya ku Kaleerwe okumutwala e Bwaise gye yahhamba nti yali agenda wa mukulu we .

Namusaba nsuleko naye kye yakkiriza nga bbooda eyali etunudde e Bwaise nga ngiweta ngizza wange Kanyanya twesanyuse.

Yasooka kunsaba 20,000/- zaanaakozesa ng’akomawo okugenda ewa mukulu we.

Namusaba agumiikirize kuba ssente nnali sizirina era bwetyo ne tutuuka awaka naye ng’antadde ku nninga ayagala ssente.

Nasooka ne mbiyita eby’olusaago nga ndowooza nti osanga yali asaaga kumbe yali ategeeza ky’ayagala.

Namusaba asigaleko mu nnyumba hhende mmufunire ekyokulya ne ssente ze yali agambye.

Naye olwokuba nnali simwesiga bulungi nga ntya okunziba, nnasalawo okumusibira mu nnyumba.

Namalayo eddakiika nga 30 kyokka nagenda okudda ng’omuwala aswakidde ng’ambuuza akyamunsibisizza mu nnyumba.

Yantegeeza nga bwanyiize era agenda olwo ng’akutte ensawo ye mu ngalo n’ayagala okufuluma nga tayagala nkwate na ku nsawo ye.

Nayita munnange annyambeko ne tumuggyako ensawo era tugenda okukebera nga mulimu empale zange ssatu ng’ayagala kugenda nazo mu nsawo y’omu ngalo.

Kye saamanya nti yali yeesabise dda ebintu ebirala omuli kkamera ya mukwano gwange ne 5,000/- ezaali wansi wa ttivvi era bino twabijjukira luvannyuma ng’amaze okugenda.

Wabula nagenda okuwulira ng’ennyumba ewunya bulala era tugenda okukebera ng’omuwala ono yalese ayonoonye mu ttawulo yange ne mpulira nga nzigwerera.

N’okutuusa kati omuwala ono nkyamutenda era siyinza kumwerabira. Bwetyo ne ndayira obutaddamu kulonda kkubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi