TOP

Kiki ekitabudde Nadia Tania ne Daddy Andre

By Musasi wa Bukedde

Added 26th March 2020

MWANAMUWALA omupya mu nsiike y’okuyimba, Nadia Tania (ku ddyo) ayogedde ebyama! Alumirizza pulodyusa w’ennyimba ate nga muyimbi, Daddy Andre (mu katono) okugaana okumaliriza oluyimba lwe kubanga agaanyi okumuloza ku luwombo lwe.

Andrefinal 703x422

MWANAMUWALA omupya mu nsiike y’okuyimba, Nadia Tania (ku ddyo) ayogedde ebyama! Alumirizza pulodyusa w’ennyimba ate nga muyimbi, Daddy Andre (mu katono) okugaana okumaliriza oluyimba lwe kubanga agaanyi okumuloza ku luwombo lwe.

Ono agamba baakola oluyimba bonna kyokka bwe baatuuka mu kaseera k’okukwata vidiyo, Daddy Andre n’amusaba bagendeko e Namboole wabula omuwala n’agaana.

Nadia yalaze emboozi ye eya WhatsApp gye yali anyumya ne Daddy Andre nga buli lw’amugamba bakole oluyimba amujuliza kimu “Baby jangu ondabeko”. “Daddy Andre simusabangako collabo wabula nagenda okuggyayo oluyimba gye nnali ndukoledde nga mulimu eddoboozi lye.

Kino kyansanyusa ng’omuyimbi omuto kubanga Daddy Andre muyimbi munene,” Nadia bw’annyonnyola.

Nadia agamba nti yasasula buli kimu nga Daddy Andre bwe yamugamba naye yagaana okugenda bakwate vidiyo.

Daddy Andre yategeezezza nti teyeewuunya omuwala oyo okwogera bwatyo kubanga muyimbi muto ng’anoonya bw’amanyika mu bantu.

Yasuubizza okumuwa ennamba ya maneja we gw’aba ayogera naye alabe nga bakola oluyimba luggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’