TOP

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2020

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

Wet1 703x422

MANEJA Eddy Muwonge ye yasooka okuba maneja w’omuyimbi Ziza Bafana nga tannakola linnya. Agamba nti we yakolera naye nga muyimbi mulungi era nga talina kitamiiza kyakozesa.

Oluvannyuma Ziza Bafana yeegatta ku maneja Roger Lubega n’afuuka w’akabi era erinnya ne livuga.

Kyokka agamba gye yakoma okuba ow’amaanyi n’okufuna amalala n’atandika n’okukozesa ebiragalalagala ebyamuwa amaanyi agaamulimba nti y’asinga nga ne maneja we takyamulabawo.

Ono agamba nti okugwa kwa Ziza wano we kwava ng’era okudda engulu yeetaaga maneja amutegeera nga Lubega bwe yali amutegedde. Kyokka ye Ziza Bafana takkirizangako nti yaggwaamu wadde abantu bazze bakimugamba. Gye buvuddeko bwe yali mu lukiiko lwa bannamawulire, yategeeza nga bw’akomyewo ku ffoomu.

Wano we baamubuuliza nti awo ffoomu gy’ayogerako y’eriwa bw’aba agamba nti tagwangako. Yali aleese oluyimba ‘‘Ndiisa mpola’’ n’ategeeza ng’omwaka 2020 bwe guli ogugwe kyokka ate coronavirus aguyingiddemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....