TOP

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali ye’

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2020

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga.

Kcca2 703x422

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga.

Abaserikale ba KCCA baabadde balawuna ekibuga ne bamugwako ku Jinja Road ng’asalaasala ennanaansi ng’aguza abantu.

Engalo yabadde tazisabise nga n’omumwa tagubisseeko ate nga talinaawo mazzi bakasitoma we banaabira mu ngalo.

Mmotoka ya KCCA yamusimbye mu maaso n’atunula ebikalu. Yalabye babuukako ne yeesikamu.

Bwe baamusemberedde n’ateekako kakokola tondeka nnyuma. Abasatu baagezezzaako okumugoba kyokka ng’alinga muto wa Cheptegei mu kudduka.

Yadduse adda ku luguudo lw’eggaali y’omukka era basajja battu baakomyewo bawejjawejja ne babaako bye bannyonnyola mukama waabwe.

Ekyaddiridde kusitula ekigaali n’emmaali ye ne babitikka ku kabangaali ne babitwala nga bamulanga kubeera na mputtu n’okujeemera Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono