TOP

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500

By Martin Ndijjo

Added 3rd April 2020

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Whatsappimage20200402at65210pm 703x422

Full Figure

By Martin Ndijjo

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Olutalo wakati wa Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo omutegesi w'ebivvulu owa Bajjo Events ne Jennifer  Nakangubi amannyiddwa Full-Figure lusituse buto.

Bajjo ayagala Full-Figure  amuliyirire obukadde 500 olw’okumwonoonera erinnya ng’amwogerako kalebule.

 

Bajjo agamba nti Full-Figure asusse okumwogerako kalebule nga yeeyambisa emikutu gy’amawulire ng’amulumba ng’omuntu.

Ng’ayita mu bannamateeka be, aba Balikuddembe & company, ku Lwokuna nga  April 2, 2020, Bajjo yawandiikidde Full Ffigure ebbaluwa emulabula nga bw’agenda okumutwala mu kkooti ssinga takomya bikolwa bya kumulumba n’okumwogerera amafuukuule.

Mu bbaaluwa eno bannamateeka ba Bajjo bagamba nti ng’ennaku z’omwezi April 1,2020, Full-Figure ng’asinziira ku ttivi emu, yayogedde ebigambo eby’obulimba ku linnya lya Bajjo ng’omuntu omuli okugamba nti "Bajjo yanzaalamu omwana n’agaana okumulabirira ate nga mulwadde enjala bwetamutta obulwadde bugenda ku mutta.

Ayongerako nti Bajjo y'omu ku bapulomoota abeetaga okuweebwa obuyambi era akubirizza gavumenti emutwale emugezesezeeko eddagala lya coronavirus kubanga talina makulu. Akwanakwana nnyo obuwala, abadde asula mu loogi naye kati baazigadde talina wa kusula."

Bagamba nti ebigambo bya Full-Figure tebyakoma ku kya kutattana n’okunafuya omuntu waabwe amanyiddwa ng’omutegesi w’ebivvulu ow’amaanyi mu ggwanga, yamusiize n’ekifaananyi ky’omuntu atalina ky’asobola kukola n’ekigendererwa ky’okumwonoona mu bantu abasobola okumuwa bizinensi.

Bannamateeka bano bagamba nti Full-Figure aswazizza nnyo omuntu waabwe n’okumwonoonera erinnya nga kati abantu bamulabira mu kifaananyi kikyamu.

Kati baagala Full-Figure yeetondere Bajjo mu lujjudde ne ku Ttivvi kwe yasinziira okumulumba era baagala amuliyirire obukadde 500 olw’okumwonoonera erinnya n’eza bannamateeka obukadde bubiri.

Baamuwadde ennaku musanvu okuddamu ebbaluwa ya bannamateeka bwatakikola baakweyongerayo mu mbuga z’amateeka..

Ful-figure ayanukudde

Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno Full-Figure yagambye nti Bajjo bwaba ng’asazaawo kugenda mu kkooti kamulinde mu kkooti battunke kubanga byamwogerako abikakasa era tabyegaana.

"Oyo Bajjo ensonyi azifudde busungu. Nkimanyi amazima galuma naddala mu nsonga ezimu nga zino naye nange sitidde kkooti kamulinde tujja kuttunka ate nja muswalizaayo"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono