TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ensonga za Full Figure ne Bajjo ziwanvuye: Kkooti eragidde Full Figure yeewozeeko mu nnaku 15

Ensonga za Full Figure ne Bajjo ziwanvuye: Kkooti eragidde Full Figure yeewozeeko mu nnaku 15

By Martin Ndijjo

Added 21st April 2020

Ensonga za Ful-figure ne Bajjo ziwanvuye, kkooti ewadde Ful-figure ennaku 15 okuwaayo okwewoozaako kwe mu musango Bajjo gwe yamuwawaabidde ogw'okumwonoonera erinnya bw'atakikola kkooti egamba ejja kugenda mu maaso n'okutuula emuwe ekibonerezo.

8c4cbdf45dd64a4d897488b775e56884 703x422

 
Bino okubawo kidiridde Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo omutegesi w'ebivvulu okugenda mu kkooti enkulu mu Kampala gye yaloope Jennifer  Nakangubi amannyiddwa Full-Figure omusango gw’okumwonoonera erinnya ng’amwogerako kalebule.
 
Bajjo agamba nti Full-Figure asusse okumwogerako kalebule nga yeeyambisa emikutu gy’amawulire ng’amulumba ng’omuntu.
 
Gye buvuddeko Bajjo ng’ayita mu bannamateeka be, aba Balikuddembe & company, bawandiikidde Full Ffigure ebbaluwa nga bamulabula nga bw’agenda okumutwala mu kkooti ssinga takomya bikolwa bya kumulumba n’okumwogerera amafuukuule.
 
Mu bbaaluwa eno bannamateeka ba Bajjo balaga nti ng’ennaku z’omwezi April 1,2020, Full-Figure ng’asinziira ku ttivi emu, yayogera ebigambo eby’obulimba ku linnya lya Bajjo ng’omuntu omuli okugamba nti "Bajjo yanzaalamu omwana n’agaana okumulabirira ate nga mulwadde enjala bwetamutta obulwadde bugenda ku mutta.
 
Ayongerako nti Bajjo y'omu ku bapulomoota abeetaga okuweebwa obuyambi era akubirizza gavumenti emutwale emugezesezeeko eddagala lya coronavirus kubanga talina makulu. Akwanakwana nnyo obuwala, abadde asula mu loogi naye kati baazigadde talina wa kusula."
 
Bagamba nti ebigambo bya Full-Figure tebyakoma ku kya kutattana n’okunafuya omuntu waabwe amanyiddwa ng’omutegesi w’ebivvulu ow’amaanyi mu ggwanga, 
 
Yamusiga n’ekifaananyi ky’omuntu atalina ky’asobola kukola n’ekigendererwa ky’okumwonoona mu bantu abasobola okumuwa bizinensi.
 
Bagattako nti Full-Figure aswazizza nnyo omuntu waabwe n’okumwonoonera erinnya nga kati abantu bamulabira mu kifaananyi kikyamu.
 
Bano balagira Full-Figure yeetondere Bajjo mu lujjudde ne ku Ttivvi kwe yasinziira okumulumba amuliyirire obukadde 500 olw’okumwonoonera erinnya n’eza bannamateeka obukadde bubiri.
 
Bajjo agamba nti wadde baali bawadde Ful-figure omukisa okwetonda okulaba nga ensonga bazimalirizza mu mbeera ey'abantu abakulu, 
 
Ful-figure akyagenda mu maaso n'okumwogerako kalebule kwe kusalawo okwongerayo ensonga mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...