TOP
  • Home
  • Masaka
  • Bankubakyeyo bazze kunoonyeza Museveni kalulu

Bankubakyeyo bazze kunoonyeza Museveni kalulu

By Ssennabulya Baagalayina

Added 5th January 2016

TTIIMU ya bannakibiina kya NRM abakolera mu mawanga g’ebweru, bazze kuno ne babakana n’ogwokusaggulira Pulezidenti Museveni obululu obunaamuzza ku ntebe.

Kyeyo 703x422

Walusimbi ku kkono ng'asabira Ssentongo wakati obululu

TTIIMU ya bannakibiina kya NRM abakolera mu mawanga g’ebweru, bazze kuno ne babakana n’ogwokusaggulira Pulezidenti Museveni obululu obunaamuzza ku ntebe.

Bamuvabulaaya bano abaakulembeddwa, Abbey Walusimbi, ssentebe w’ekibiina ekibagatta ekya NRM Diaspora League, okusaggulira Museveni obululu baakutandikidde mu Masaka n’emiriraano nga baakwetooloola eggwanga lyonna.

Ssentebe Walusimbi ne banne bannyonnyodde nti beekuhhaanyizza okuva mu mawanga agatali gamu gye bakakkalabiza emirimu gy’ekyeyo ng’ekyabaleese kuno kwe kunnyonnyola

Bannayuganda ebirungi by’obukulembeze bwa Museveni.

Agamba nti ekibiina kyabwe kirimu Bannayuganda abakolera mu mawanga nga South Afrika, Amerika, Bungereza n’awalala gye bakubira ekyeyo naye nga bawagizi ba NRM.

Walusimbi ne banne okuli Keith Kitungulu Bbosa, Hajji Ahmad Ssempijja, Moses Mpanga, Proscovia Mbabazi Ssennyonga, Baker Ssekamatte, Fred Opolot, Dr. Josephine Ssenkungu n’abalala baanokoddeyo ensonga mwe basinziira okuwagira Museveni omuli;

1 Okussaawo enkolagana n’amawanga amalala mu by’obusuubuzi ekiwa Bannayuganda eddembe okukuba ebyeyo mu mawanga ago n’abaayo ne bajja kuno nga tebataataaganyiziddwa mu bya ssente.

2 Bagasseeko, eddembe NRM lye yawa Uganda naddala okufuga amagye gattako NRM okussaawo enkola ya Bonnabasome mu pulayimale ne siniya.

3 Okukola enguudo ng’olwa Kampala, Masaka - Mbarara n’endala okuli n’ezidda mu masoso g’ebyalo ze bagamba nti zikoleddwa nga n’ezitannakolebwa ziri mu ntegeka ng’ekyetaagisa kwe kunywereza Museveni mu ntebe.

4 Baggyeeyo eby’obujjanjabi nti NRM esoosowazza eky’okuzimba amalwaliro mu buli kitundu n’okugaddaabiriza nti wadde eddagala likyabulamu naye ekyo Museveni yekka y’ajja okukinogera eddagala.

Baasabye Bannayuganda naddala abavubuka obutabuzaabuzibwa beesimbyewo balala okuli Amama Mbabazi ne Dr. Kiiza Beesigye nti abo mpaawo kye bagenda kukyusa mu ggwanga.

Baakunze Bannamasaka n’emiriraano obululu bwonna babuyiire Museveni n’abakwatidde NRM bendera ku bifo by’obukulembeze eby’enjawulo.

Baatalaaze obubuga bwa Masaka bwonna n’oluvannyuma ne boogerera mu lukuhhaana lwe baakubye mu kibangirizi kya Golf Course nga lwetabiddwaamu RDC Capt. Kigozi Kaweesi n’amyuka RDC e Kalangala, Teopista Lule Ssenkungo.

Basabye abantu bawagire Herman Ssentongo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti ow’ekibuga Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta