TOP

Ettamiiro limalawo amaka e Mukono

By Musasi Wa

Added 9th July 2015

Alipoota y’ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna (WHO) eraga Bannayuganda nga bwe banywa liita z’omwenge ezisoba mu bukadde 432 omwaka.

2015 7largeimg209 jul 2015 093058487 703x422

Bya PADDY NSOBYA

GYE buvuddeko, abakazi e Kandara mu kibuga Nairobi e Kenya, beekalakaasizza ne balumba n’ekitebe kya poliisi nga baagala ewere ebinywero, babbaabwe mwe beepiikira omwenge ogubafudde bassekibotte ne balemwa Okubamatiza mu kaboozi, okubafunyisa embuto ssaako okusuulirira Obuvunaanyizibwa mu maka gaabwe.

Kino kye kiri ne mu bitundu bingi ebya Uganda, egambibwa okukwata ekisooka mu bantu abasinga okwekamirira enguuli ku lukalu lwa Afrika.

Alipoota y’ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna (WHO) eraga Bannayuganda nga bwe banywa liita z’omwenge ezisoba mu bukadde 432 omwaka.

Omwenge guvuddeko obutabanguko mu maka, obwenzi, entalo, obubenje n’emisango egitali gimu nga bwe kiri e Mukono.

E Mukono, abatuuze baatadde abakulembeze baabwe ku nninga babannyonnyole lwaki balemeddwa okutaasa obufumbo n’amaka g’abantu mu kitundu agasusse okusasika olw’ebizibu ebisibuka ku ttamiiro, ne bivaako n’enkulaakulana okwesiba.

Olaba n’abatamiivu e Wandegeya mu Mukono baalonda n’omukulembeze waabwe (amanyiddwa nga Ssempagala)!!

Mu lukiiko olwatudde ku kitawuluzi e Namayuba mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono ku Mmande, abatuuze baasabye ekisoboka kikolebwe okutaasa embeera.

Olukiiko luno lwategekeddwa aba Uganda Environmental Education Foundation (UEEF) okukubaganya ebirowoozo ku mpeereza za Gavumenti mu byalo, engeri abakulembeze gye baweerezaamu n’okumanya ebizibu by’abatuuze.

Akulira UEEF, Stephen Ssemakula yannyonnyodde abatuuze Gavumenti by’erina okubakolera ate nabo bye balina okukola.

Olwabawadde omukisa okwogera, bangi baayambalidde poliisi, ekitongole kya disitulikiti ekivunanyizibwa ku mbeera z’abantu omuli n’amaka n’enkiiko za LC olw’okusuulirira ensonga z’amaka ekivuddeko obufumbo obungi okusasika, n’ebizibu okweyongera mu byalo okugeza; obwenzi, obugwenyufu mu baana, okusobya ku bakazi (naddala ababeera batamidde), obutasoma, obubbi, obwavu n’ebirala.

Ssentebe wa LC1 e Namayiba, Joseph Ssebugulu yagambye nti emisango gy’abafumbo egiva ku ttamiiro, tegiggwa mu LC ne ku poliisi era enkola za Gavumenti nga UPE, USE ne NAADS nnungi naye abantu tebasobodde kuziganyulwamu lwakuba basula mu ntalo mu maka gaabwe ng’ezisinga ziva ku ttamiiro mu bakyala n’abaami.

Wano abatuuze we basabidde aboobuyinza basitukiremu kuba kisusse!

Ettamiiro limalawo amaka e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...