TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Yeewuunya abasigula bannaabwe okuzira okulonda nga bo bamaze okulya emmere ne batigimbuka

Yeewuunya abasigula bannaabwe okuzira okulonda nga bo bamaze okulya emmere ne batigimbuka

By Musasi Wa

Added 2nd June 2012

TERI kibiina kisinga DP kumanya kuzannya byabufuzi eby’okukuba “bbusu”. Era kati aba FDC kye bava batunula empwangali, lwakuba Mukasa Mbidde owa DP yabakubye bbusu mu kulonda ababaka abanaakiikirira Uganda mu lukiiko olugatta amawanga g’Afrika ey’ebuvanjuba.

TERI kibiina kisinga DP kumanya kuzannya byabufuzi eby’okukuba “bbusu”. Era kati aba FDC kye bava batunula empwangali, lwakuba Mukasa Mbidde owa DP yabakubye bbusu mu kulonda ababaka abanaakiikirira Uganda mu lukiiko olugatta amawanga g’Afrika ey’ebuvanjuba.

Bukya lukiiko olwo luzzibwaawo, NRM ne FDC be babadde beerondamu ababaka abakiika, olwo no aba DP, UPC n’abalala ne
basigala mu bbanga nga banjala ngalo.

Okukuba “bbusu” kye ki? Anti olaba munno ng’akutte ekyokulya, n’omusoonookereza, n’omukuba emikono, n’okimusuuza.

Kino kyennyini Mukasa Mbidde kye yakoze aba FDC. Yabalese bakyali mu by’okuzira okulonda kubanga “NRM etulyazaamaanya” ye n’abasoonookereza n’abakuba bbusu, n’agenda yeewandiisa ku luno afunire DP nayo k’eryako.

Sso nno aba DP bamanyi bbusu oyo n’okumwekuba bokka na bokka. Be baakuba akalulu akaaweekula polofeesa Yusuf
Lule (eyali Munna DP kakuzzi) ku bwapulezidenti bwa Uganda mu 1979.

Ate era polofeesa Lule Banna DP banne baamuddamu envuunulabibya ne beegatta ne Paulo Muwanga ne bamukuba bbusu ne bamulemesa e Nairobi, n’atasobola kukomawo kulondebwa nate ku bwapulezidenti bwa DP n’obwa Uganda.

Bw’olaba ng’embwa erumye ow’ekiwempe ate ggwe eyeetisse eddiba togeza kusigala mu maaso. Obanga aba DP bennyini
basobola okwekuba bbusu, ate bayinza batya okuleka aba FDC nga bayinaayina?

Mukasa Mbidde ng’amaze okugenda mu Arusha e Tanzania, n’awaaba era n’asinga omusango ogwa NRM ne FDC okukola
ekkweenyo ne beefunza ebifo byonna omwenda eby’ababaka abakiikirira Uganda.

Mbidde yeebuuza ky’afuna mu kkweenyo ly’okuzira okulonda, ng’ate akimanyi nti omuzizi azimba mutwe kyokka nga bo abatazize beeriira?

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku. Kale teebereza bw’ozira n’ozimba omutwe kyokka bo aba NRM ne basigala nga beeriira!

Ye ate omuzizi azira ddi? Azira ng’amaze kwegatta ne NRM ne beeriira ebisanja bibiri kyokka ng’ate ebintu bimwonoonekedde
olwo ate n’ayita aba DP bamwegatteko azire?

Tokimanyi nti ono alya n’oli alya y’emmere ewooma? Olwo yo DP erirya ddi ku mmere ewooma bweneesigulira ku ba FDC abalidde ne batiginduka?

Bagundi mukomye omuze ogw’okumala okulyangako bannammwe emmere ne mutiginduka, ate ne muva awo ne muyita
ba Mukasa Mbidde abafa enjala ne mubagamba babeegatteko mu kuzira emmere.

Eryo liba ttima lyennyini ery’eggingirizi. Sibalimba.

Yeewuunya abasigula bannaabwe okuzira okulonda nga bo bamaze okulya emmere ne batigimbuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi

Fish0webuse 220x290

Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde...

Abavubi batabukidde ababaka baabwe abataddayo kubategeeza nsonga zibaluma eziteesebwako mu Palamneti ng'ate tebakkaanya...

Rab2 220x290

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura...

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura ku mmundu za Kitatta