TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abantu mwetabangula mutya ne mutuuka n’okwekolamu eggye lirwanyise Gavumenti!

Abantu mwetabangula mutya ne mutuuka n’okwekolamu eggye lirwanyise Gavumenti!

By Musasi Wa

Added 16th June 2012

Newankubadde bajeti ya Gavumenti ey’omwaka omuggya, omuwanika Maria Kiwanuka gye yayanjudde mu Palamenti, ng’erimu ebintu bingi, naye osanga naawe amaaso go gasinze kuginoonyaamu ssente mmeka ezinaasaasaanyizibwa ku kugula omukka ogwa ttiyagaasi, poliisi gw’eneeyambisa mu kulwanyisa obwegugungo.

Newankubadde bajeti ya Gavumenti ey’omwaka omuggya, omuwanika Maria Kiwanuka gye yayanjudde mu Palamenti, ng’erimu ebintu bingi, naye osanga naawe amaaso go gasinze kuginoonyaamu ssente mmeka ezinaasaasaanyizibwa ku kugula omukka ogwa ttiyagaasi, poliisi gw’eneeyambisa mu kulwanyisa obwegugungo.

Ekyo kiri bwekityo kubanga bajeti za gavumenti ezizze zibaawo emyaka 50 bukya twefuga, zibaddemu ensaasaanya y’ensimbi nnyingi nnyo ku ludda lw’okulwana entalo eziyitibwa ez’okuleetawo obutebenkevu.

Gavumenti za Obote ne Okello Lutwa zaatuleka sseke nga tuli baavu be yavuyavu ng’ensimbi ziggweeredde mu kulwanyisa bayeekera ba Museveni mbu olw’okuleetawo obutebenkevu.

Ate ne gavumenti ya Museveni nayo esaasaanyizza ensimbi nnyingi nnyo ng’erwanyisa abayeekera ba Yozefu Kony era ng’erwanyisa n’abeekalakaasi ba Besigye.

Ekyewuunyisa tetulina nsi z’ebweru zitulumbye, ne zijja zitabangula obutebenkevu bwaffe, nedda. Abantu baffe bennyini be beetabangudde, ne beekolamu amagye agalwanyisa Gavumenti gagiggye mu buyinza, ate ne Gavumenti n’esaasaanya ssente z’eggwanga nga yeerwanako esigale mu buyinza.

Bw’eneefuuka empisa ey’enkalakkalira nti gavumenti zaffe zirina kuyeekerwa ziggyibwe mu buyinza ku mpaka, ate n’abaggyiddwaako nabo bayeekere ababaggyeeko, ekyo kitegeeza nti bajeti zaffe zijja kusinganga kukola ku kulwana ntalo za kuleetawo butebenkevu, sso si kukola ku byankulaakulana.

Ate eky’okusaalirwa okunene oluusi Gavumenti ekola bajeti kyokka n’esuulirira ebintu ebiyinza okuleetawo obutabanguko n’okwonoona obutebenkevu.

Gamba ng’ebintu bya Buganda omuli n’amabanja ag’obuwumbi bw’ensimbi z’ebanja Gavumenti.
Gamba ng’ensonga z’amafuta g’e Bunyoro ezitandise okwogeza Abanyoro nga bakaayukana nga baagala wakolebwewo endagaano eraga ensasulagana nga bw’eneebanga ku mafuta ago.

Gamba ng’okwerumaaluma okuwulirwa e Karamoja, e Teso, Acholi n’awalala ku by’ettaka lyabwe.

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku! Kale teebereza entalo n’obugulumbo biriggwaawo ddi, Gavumenti ng’egayaaliridde okumalawo okwemulugunya kw’abo abagibanja era n’okugonjoola eby’abo abakukkuluma?

Nedda bannaffe muve ku by’okuliisa ebijanjaalo empiso. Leka Gavumenti esasule amabanja agagibanjibwa era egonjoole n’eby’abo abakukkuluma.

Ekyo kijja kukendeeza ku ntalo eziguzisa ttiyagaasi era kisobozese bajeti yaayo okussa amaanyi ku byenkulaakulana. Sikulimba.

Abantu mwetabangula mutya ne mutuuka n’okwekolamu eggye lirwanyise Gavumenti!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...