TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani asaagira ku Bataka ayagala okuleeta akabaate!

Ani asaagira ku Bataka ayagala okuleeta akabaate!

By Musasi Wa

Added 11th November 2012

AMAWULIRE gabyanise nga e Mmengo bweguddeyo akagugulano ak'okulwanira obuyinza wakati wa Gavumenti ekulirwa Katikkiro ate n'Abataka aboobusolya.

2012 11largeimg211 nov 2012 133120200 703x422

Bya Mzee Zedde

AMAWULIRE gabyanise nga e Mmengo bweguddeyo akagugulano ak'okulwanira obuyinza wakati wa Gavumenti ekulirwa Katikkiro ate n'Abataka aboobusolya.


Akagugulano kano kaatandikibwa Pulezidenti Museveni ne Mulwanyammuli Ssemwogerere eyali Katikkiro, bwe baali bateesa ku nsonga za Buganda.


Museveni yayagala e Mmengo ebeereyo enkiiko bbiri, olukiiko olukulu olwa Buganda, ate n'olwokubiri nga lwe lukiiko ow'Abataka abakulu b'Ebika bya Buganda.


Ssemwogerere yagamba ntie Mmengo eteekwa okubaayo plukiiko lumu lwokka sso si bbiri. Baalemaganwa ku nsonga eyo era n'okuteesa ne kusasika.

Kyokka oluvannyuma Museveni eby'enkiiko ebbiri yabivaako enteeseganya ne ziddamu okukwajja. Wabula ate Ssemwogerere olwava ku bwakatikkiro, abaamuddira mu bigere ne baddayo ku kya Museveni eky'enkiiko ebbiri.
Abataka baggyibwa mu lukiiko olukulu olwa Buganda, ne bazzibwayo bakulaakulanye olwabwe olw'Abataka.

Bwekityo ne kiba nga Katikkiro y'akulira olukiiko lwa Buganda ate omukubiriza w'Abataka y'akulira olw'Abataka era bombi nga batuuka butereevu ku Kabaka.


Ebyobufuzi bwe bicamuse n'abakungu ba Kabaka bacamukiddemu n'ekiddiridde kwe kutandika okusika omuguwa wakati wa Katikkiro J.B Walusimbi n'omukubiriza w'Abataka Allan Waliggo Nakirembeka.


Nakirembeka yeemulugunya nti kati kati asibirwa ekikookolo n'atayogera ku mikolo gya Kabaka okutuusa eby'Abataka. Sso nga n'aboolukiiko lwa Buganda nabo beemulugunya nti Nakirembeka alekerera okwogera eby'Abataka ate n'ayogera ebyobufuzi ebireka Katittiro ng'ayenjebukidde mu maaso ga Kabaka.


Naye ddala Abataka ebyobufuzi tebabiriimu ? Awo oba weerimbye. Mu byobufuzi ebizimba Abataka mwebali nnyo, wabula ebyo eby'okukontana bye bataliimu.


Buli ebyobufuzi lwe bidobonkanye, Abataka be babadde abasaale okuvaayo okubitereeza. Era ne ku luno Abataka be baali abasaale okuteesa ne Museveni okuzzaawo Ssaabataka era Kabaka eyeetoololerwako ebyobuwangwa n'ebyobufuzi mu Buganda.


Tekijja kusoboka Abataka okubasiba emimwa baleme kwogera mbu olw'okuba tebali mu byabufuzi, sso nga bwe byonooneka, oba bwe birema okutereeza ate olwo ne bajjukirwa nti weebali.

Wo ayi Mzee Zedde ng'alabye ennaku! Kale lwaki Nakirembeka azibikirwa buzibikirwa, mu kifo ky'okutuula n'okulambika obulungi entambula n'enkolagana ey'enkiiko ebbiri wamu n'abo abazikulembera nga bwe basaanye okuba?


Musaagire ku birala eby'Abataka temubisaagirako, biyinza okutuleetera emineene oba akabaate.
Bwe nkulimbanga be ppo ng'ensenke y'enkoko ly'ejjanga.

Ani asaagira ku Bataka ayagala okuleeta akabaate!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.