TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukomye okwekwatakwata nga muli mu kisenge

Mukomye okwekwatakwata nga muli mu kisenge

By Musasi Wa

Added 24th June 2014

MULI mutya batabani? Mwebale kulabirira baana bannammwe. Leero mmwe batabani abeekwata omusoobooza mwe mundeese okubalabula.

2014 6largeimg224 jun 2014 092644693 703x422



MULI mutya batabani? Mwebale kulabirira baana bannammwe.

Leero mmwe batabani abeekwata omusoobooza mwe mundeese okubalabula. 

Mmanyi ab’ekika kino ensonyi zino muzitwala ne mu buliri. Teebereza bwe weesogga obuliri n’omwagalwa wa ate n’odda mu kunaanya! N’otandika ate n’okumusaba mbu “...mpaako...!” 

Kati olwo ne weebuuza nti singa omuwala abadde si ky’ajjiridde, ate olwo lwaki yandibadde yeesogga obuliri?! 

Abamu ne bwe mutuuka mu buliri ate ne musooka okweyisaako.

 Ne musooka okwebaka ng’omwagalwawo omukubye omugongo! Ate nga ojja kukyuka. Abalala ne 

mwebaka nga mwevuunise, abalala mwefuula abalowooza ennyo ne mwebaka nga mwegalise. 

Sso nga wandibadde weebaka otunudde eri ‘emmere’ gye bakuleetedde. 

Mukimanye nti omusajja oluba okuyingira obuliri, ateekwa okussa omukazi mu kifuba kye.

 Era oluba okubwesogga ng’ayisa amagulu; nga galippagana ng’akayindiyindi ku kitooke.

Era omusajja asula n’omwagalwa we tasula mu pajama kisobozese munne okumukwata buli w’ayagala. 

Mujjukire nti anaazina tasooka kukumba. N’olwekyo nammwe oluyingira mu kitanda emikolo girina kutandikirawo. Abaagalwa bammwe abo bava eka ng’emmere gye balya gyeri n’olwekyo temubassa nnyonta ya laavu ng’ate mwekwata omusoobooza.

 

Mukomye okwekwatakwata nga muli mu kisenge

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.