TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yiga obukodyo obuyamba omukazi okutuuka ku ntikko

Yiga obukodyo obuyamba omukazi okutuuka ku ntikko

By Musasi Wa

Added 7th October 2014

NAYE mukimanyi nti sitayiro ezo ze mwesibako oluusi zibamenyera bwereere kuba tezituusa mukazi ku ntikko?

 NAYE mukimanyi nti sitayiro ezo ze mwesibako oluusi zibamenyera bwereere kuba tezituusa mukazi ku ntikko?

Ye muliyo mutya batabani? Mwebale kufuba kutuukiriza buvunaanyizibwa bwammwe mu maka.

Naye bangi ku mmwe mulemwa okusanyusa abakyala bammwe ne mutabatuusa ku ntikko olw’obutamanya bukodyo butuufu.

Bangi ku mmwe olw’amaddu ge muba nago nga muyingira ekisaawe, mutuuka mangu ku ntikko nga bakazi bammwe tebannabaako na we baabadde. 

Ate mmwe olutuuka ku ntikko nga mubivaako nga mukuba bulatti kuba mubeera mukkuse. Kino nno kikyamu. Abalala mufa ku mirundi gye mwegasse. N’obala nga bwe mwegasse emirundi munaana mu kiro ekimu, olwo n’olowooza nti oli musajja nnyo. Kyokka ng‘egyo emirundi omunaana, obala ggwe (omusajja) gye wamazeemu akagoba. Naye nga ye munno omukazi tofuddeeyo kubala oba naye yabadde abala munaana oba zeero!

 Wano we wali obuzibu. Abasajja kye mulina okumanya kiri nti, sitayiro zonna n’emirundi gye mwegasse gyonna giba gikumenyedde busa singa toyamba munno kutuuka ku ntikko.

Era omukazi bw’atuuka ku ntikko olwo naye lw’akubalamu omuzinzi, nti oli musajja owera, n’asobola okukkakkana.

Obubonero kw’oyinza okulabira munno nti omutuuse w’ayagala kwe kwebaka otulo nga yenna alebedde.

 Era bw’azuukuka n’anaabako, abeerera ddala ng’omuntu ali ‘fuleeshi’, kubanga omubiri guba gufunye kye gwagala. Naye bino bye mumala okwegatta omukazi n’adda wali ku mirimu gye n’akola, omanya nti tamazeemu kagoba era oba tolina ky’okoze. 

Ago amazzi agajja nga muli mu kwegatta tegabayinula. Muyige we mukwata bannamwe nabo bafune ku ssanyu.

Yiga obukodyo obuyamba omukazi okutuuka ku ntikko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.