TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ENNYANJA NALUBAALE: Yandisaanawo olw’emirimu egikolebwako egyonoonye obutonde

ENNYANJA NALUBAALE: Yandisaanawo olw’emirimu egikolebwako egyonoonye obutonde

By Musasi Wa

Added 15th May 2012

ENNYANJA Nalubaale kimu ku bintu ebisikiriza abalambuzi okujja mu Uganda. Naye ekikwasa ennaku nti ffe Bannayuganda tugenda kugisaanyaawo olw’emirimun gye tugikolerako!

2012 5largeimg215 may 2012 121014840 703x422

Bya EDWARD SSERINNYA NE ALICE NAMUTEBI

ENNYANJA Nalubaale kimu ku bintu ebisikiriza abalambuzi okujja mu Uganda. Naye ekikwasa ennaku nti ffe Bannayuganda tugenda kugisaanyaawo olw’emirimun gye tugikolerako!

Bangi bwe baba bakolera ku Nalubaale balowooza mu nsimbi ez’amangu ne batamanya nti batema muti kwe balimnnye kuba batattana obutonde bw’egganga ate nga nabo mwebabeera!

Era bwekutaabe kuwonga, emirimu gye bakolera ku mbalama y’ennyanja Nalubaale, mu myaka 50 egijja twandigifuma.
Minisita w’ebyamazzi n’obutonde Muky. Maria Mutagamba, wiiki ewedde yategeezezza nti kyetaagisa okuddamu okwekeneenya ebyapa ebiri ku ttaka eriraanye ennyanja bwe kiba nga twagala okutaasa Nalubaale.

Nga tujaguza emyaka 50 bukya twefuga abantu bangi omulaka bagutadde ku byabufuzi naye ggwe asoma bino, weebuuze nti ennyanja Nalubaale eneebaawo mu myaka 50?

Ennyanja Nalubaale eriko obugazi bwa sikweya kiromita 68,800 n’obuwanvu okukka wansi mu mazzi bwa ffuuti 276 ng’ekitundu ekiri mu Uganda kiriko obugazi bwa 12,000.

Ekwata kifo kyakusatu mu nsi yonna okuba n’amazzi amayonjo, ng’ekulembeddwa ennyanja Michigan ne Superior eziri mu Amerika.

Ennyanja Nalubaale eriikizibwa okuva ntobazi ez’enjawulo okwo kw’ossa okufuna amazzi okuva mu migga okuli Kagera ogw’e Tanzania, Kiyira ne Katonga mu Uganda.

ENNYANJA BAGISENZE
Okusinziira ku kitongole kya NEMA, okuzimba ku nnyanja oba okukolerako emirimu emirala olina okuba nga weesudde mita 200 (ebisaawe by’omupiira bibiri).

Okusinziira ku kunoonyereza ku nnyanja eno, ebitundu ebimu amazzi gaakyusa langi ne gafuuka maddugavu oba kiragala naye ng’entabwe eva ku kazambi ava mu makolero ageetoloodde ennyanja Nalubaale.

Abamanyi eby’ekikugu bagamba nti, ekitongole ky’amakomera kisaanidde okugaziya ku ssengejjero lya kazambi kuba abasibe beeyongedde obungi, olumu kazambi ayitira n’agenda mu nnyanja, naddala ku ludda lw’ekkomera lya Luzira.

E Luzira ne mu bizinga bingi abagagga basenze amazzi ne bazimba kumpi mu nnyanja wakati! Minisita w’ebyobuvubi Muky. Ruth Nankabirwa Ssentamu yagamb ye nti, abantu abalimira ku mabbali g’ennyanja ennaku zino beeyongedde obungi nga kati mu biseera by’enkuba mukoka akulukuta n’agenda mu nnyanja.

Kino kivuddemu amazzi okukyusa langi ne gafuuka ga kitaka. Tekikomye awo, mukoka ono ayonoona ebyennyanja we bizaalira ate jjukira nti eby’ennyanja mmere ate ddagala kino kiiba kikosa obutonde.

Disitulikiti eziri ku nnyanja, zonna zirimu emyalo egitamanyiddwa mu mateeka wabula waliwo abagiteekawo okulyamu ssente nga bakoleramu ebintu ebitakkirizibwa mu kuvuba, okugeza okukozesa amalobo, obutimba bwa kokota, amaato amakyamu ate ng’emyalo gino aba Beach Management Unit (BMU) abakola ku nvuba embi ate be bagiryamu ensimbi!

Minisita ayongerako nti obuzibu obulala buli ku makolero agali ku mabbali g’ennyanja weekanga nti tegalina massengejjero ga kasasiro gali ku mutindo ne kiba ng’olumu kazambi awaba n’ayingira mu mazzi ekintu ekikyamu era ekitattana obutonde bwensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...