TOP
  • Home
  • Amawulire
  • WILLIBROD NAMAGEMBE: Omukazi eyasooka okufuna diguli y’okubala mu Uganda

WILLIBROD NAMAGEMBE: Omukazi eyasooka okufuna diguli y’okubala mu Uganda

By Musasi Wa

Added 7th July 2012

NGA emyaka 50 egy’ameefuga, Bannayuganda bangi abayambyeko ku nkulaakulana y’eggwanga mu bintu ebitali bimu omuli ebyenjigiriza n’ebirala okuva mu 1962.

2012 7largeimg207 jul 2012 121908523 703x422

Bya MUWANDIISI WAFFE

NGA emyaka 50 egy’ameefuga, Bannayuganda bangi abayambyeko ku nkulaakulana y’eggwanga mu bintu ebitali bimu omuli ebyenjigiriza n’ebirala okuva mu 1962.

Kyewuunyisa nti gavumenti y’Abazungu teyassa nnyo maanyi ku kusomesa mwana omuwala, amaanyi gassibwamu gavumenti ya Buganda n’ebibiina bya bannaddiini eby’enjawulo.

Ate n’abawala abaasomanga nga tebayingirira byassaayansi. Abatono nga Dr. Nambooze abaasoma ebyassaayansi baabanga batono nnyo, era ne beegombesa nnyo mu Uganda n’ensi ezitwetoolodde.

Abalenzi abaasoma baali bangi, era amasomero g’Ekkanisa ne Klezia nga St. mary’s Kisubi, St. Peter’s College Tororo, Namilyango, Buddo, Nyakasura n’amalala gaafuba nnyo okwagazisa abalenzi okukola ebyassaayansi omuli okusoma obwayinginiya, obusawo n’amasomo amalala.

Mu mbeera eno eggwanga lyafunanga bapolofeesa nga bonna basajja nga Polof. Sebastian Ssebunnya Kyalwazi eyali kakensa mu kulongoosa, Polof. Kityo, Polof. Bulwa, Polof. Odonga, Polof. Kanyerezi n’abalala.

Mu kiseera ekyo Uganda yalina abasomye okubala batono ddala okutuusa Willibrold Namagembe lwe yafuna diguli mu byokubala okuva mu St. Elizabeth College e New Jersey mu Amerika mu 1965.

Namagembe ye mukulu w’omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, era muka Mw. Robert Ssebunnya, omuwabuzi omukulu owa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda. Namagembe ye yasooka okufuna diguli y’okubala mu Uganda.

Diguli ya Muky. Namagembe teyakoma kwemweyagaza yekka ng’akolera mu bitongole eby’amaanyi okuli n’ekibiina ky’amawanga amagatte, wabula yasikiriza nnyo abaana abawala abaamwegombanga nabo ne basomerera okufuna ku diguli bamufaanane.

Muky. Namagembe agamba nti, okusoma kwe kwasikiriza abawala bangi, wabula nti teyandisobodde kufuna diguli wadde emu mu kubala singa teyayambibwako Ssaabasumba eyasooka mu Afrika Joseph Kiwanuka kuba yamuyamba nnyo okumuyunga ku yunivasite z’Abakatuliki mu Amerika.

Ekintu kye kimu eky’okuyunga abaana abawala ebweru okusoma ne kkanisa ya Uganda kye yakolanga. Muky. Ernest Ssempebwa eyali omukungu mu minisitule y’ebyenjigiriza mu biseera ebyo, Namagembe amwogerako nga omuwala kagezimunnyo atasangika.

Era bwe yakomawo kuno mu 1967, Mw. Ssempebwa yamuwa amagezi okusoma dipuloma mu byenjigiriza e Makerere olwo basobole okumuwa essomero gy’anaasomesa okubala. Bwe baatandikawo enkola ya kompyuta mu minisitule za gavumenti ez’enjawulo, Muky. Namagembe yaweebwa obwa ‘Chief Systems Analyst’ mu minisitule y’ebyenfuna.

Ng’ali eno yatandikawo pulogulaamu ez’enjawulo mu kompyuta gamba nga esasula emisaala gy’abakozi mu bitongole bya Gavumenti eby’enjawulo.

Omugenzi Tereza N. Mukasa Bukenya ye mukazi eyali owookubiri mu Uganda okufuna diguli mu kubala, wabula ono yatemulwa ku mulembe gwa Amin era we yatemulirwa ng’asomesa okubala ku yunivasite e Makerere.

Muky. Tereza Mukasa mukulu w’omwogezi wa Buganda oweek. Charles Peter Mayiga. Muky. Namagembe yeennyumiriza mw’ebyo byonna by’akoze okutumbula ensoma y’abaana abawala naddala mu ssomo ly’okubala.

Akoleddeko mu bitongole eby’enjawulo omuli minisitule y’ebyenfuna, mu kitongole kya Uganda ekya kompyuta (Uganda Computer Service), mu kitongole kya kompyuta ekya yunivasite y’e Nairobi ng’eno yakolako n’omugenzi George Saitoti, Minisita wa Kenya ow’ebyensimbi eyafi iridde mu kabenje k’ennyonyi omwezi oguwedde.

WILLIBROD NAMAGEMBE: Omukazi eyasooka okufuna diguli y’okubala mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...