TOP

Abawala b’e Kigali bawambye siteegi za bamalaaya mu Kampala

By Musasi Wa

Added 29th August 2012

ABAWALA n’abakazi okuva mu mawanga ag’omuliraano naddala Rwanda bawambye akatale k’okutunda akaboozi k’ekikulu mu Kampala.

  • Mu Kampala bayingirawo kiro n’ebbaasi eziva e Rwanda
  • Ku kukuba obwamalaaya bagasseeko okuzina ebimansulo
  • Beerimbika mu bayizi ba yunivasite

Bya Martin Ndijjo

ABAWALA n’abakazi okuva mu mawanga ag’omuliraano naddala Rwanda bawambye akatale k’okutunda akaboozi k’ekikulu mu Kampala.

W’osomera bino ng’abawala Bannakampala abali mu bizinensi eno basattira kyokka nga tebalina gye bayinza kuloopa kubanga bizinensi yaabwe ey’okulejjesa emibiri teri mu mateeka.

Ekireeta ebiwala Ebinyarwanda lwakubanga abasajja ba kuno bwe bituuka ku kuta akaja tebeekwata ng’abewaabwe. Ate n’amasanyu agali mu Kampala mangi ekitegeeza nti akatale ka bamalaaya kagazi okusinga e Kigali.

Abakazi nga bali ku luguudo ekiro.

Abawala bano obwa malaaya babututte ku mutindo omulala ogwa ‘kiraasi’ (Corporate prostitution). Bamalaaya ba kuno obudde bwe bamala ku nguudo nga basiiya abasajja abayitawo n’okubawemula, bano abava e Rwanda obasanga mu bifo eby’ebbeeyi ebisanyukirwamu ne ‘bamusibattaayi’ bayite abakozi b’omu ofiisi n’abakungu ba gavumenti ababagula n’okubacakaza. Nga wabasanze, oyinza okulowooza nti nabo badigize sso nga bali ku bizinensi.

Bayingira batya mu ggwanga?
Okunoonyereza okukoleddwa kulaga ng’abawala abasoma ku yunivasite n’amatendekero amalala aga waggulu bakwata kisooka mu ba ‘market seller’ (nga Bad Black bw’ayita obwamalaaya) abali mu Kampala.

Mu mbeera eno, n’abawala abava e Rwanda n’amawanga amalala ageetoolodde Uganda bangi bava ewaabwe nga balimbye nti bayizi ba yunivasite. Abamu bagamba bazze kuno kukola kunoonyereza (oba babeera bategeeza kunoonyereza ku nneeyisa z’abasajja ba kuno mu buliri? Nze naawe).

Bangi bayingirawo ku Lwakuna ekiro nga beetegekera wiikendi.

Batuukira mu saluuni okubayooyoota olwo ku Lwokutaano ne beeyiwa mu bifo ebisanyukirwamu eby’ebbeeyi abasajja abalina ssente gye bacakalira.

Okuva e Kigali bajjira mu bbaasi. Solomon Twesigye, omu ku baddereeva ba bbaasi ezigenda e Rwanda (erinnya lya kkampuni mw’akolera lisirikiddwa) agamba nti Olwokuna ekiro ne Mmande ze zimu ku nnaku ze basinga okukola olw’abawala abangi ababa bajja e Kampala ate ku Mmande nga baddayo.

Olw’abawala bano okuba nti bali ku katale, waliwo n’abantu abagezigezi abakola obwabbulooka ne babaleeta okwetunda mu Kampala. Bano bakolagana n’abaddukanya ebifo ebimu ebisanyukirwamu.

Babatendeka n’obukodyo obwenjawulo bwe bakozesa okusikiriza abasajja n’okubakuula.

Bamalaaya boogedde
Wiiki ewedde nnagimazeeko ntambula mu bifo ebisanyukirwamu.

Mu kifo ekimu okumpi n’ekibangirizi ky’eggaali y’omukka nasanzeemu abawala babiri abanyirira ng’ebinya.

Nnabeeyanjulidde nga Michael nabo ne bang’amba nti bayizi mu yunivasite emu. Omu yeeyise Anita, omulala Martha.

Mu kifaananyi ku ddyo, ekyana nga kisazeeko omusajja mu kifo ekimu mu Kampala.

Oluvannyuma lw’essaawa nga bbiri Anita yang’ambye mmuwerekereko ebweru kwe kunkuba akaama nti si muyizi nga bwe yasoose okwogera wabula muwala mucakaze era bwemba njagala okwesanyusaamu naye takirinaako buzibu kasita muwaayo ku ssente.

Nnamubuuzizza ssente mmeka kwe kunziramu nti  doola 40 (gy’emitwalo nga 10 eza kuno) ne nneesika. Nnamugambye nti nsaaga nze siri muguzi. Gye byaggweeredde ng’ambuulidde engeri gye bajjamu muno era nti waliwo omugagga abaleeta kuno okukuba obwamalaaya.

Yannyonnyodde nti basooka kubatendeka. Yagambye nti ssente eziri mu Kampala ye tazirabangako kubanga wiikendi emu asobola okuddayo n’emitwalo 50.

Kati be bazina n’ekimansulo
Ng’oggyeeko okuwamba akatale k’obwamalaaya, abawala bano era bawambye n’emirimu emirala Bannakampala gye babadde bakola omuli okuzina ekimansulo.

Yadde nga gavumenti evuddeyo okuvumirira amazina g’ekimansulo kubanga ga buseegu, amazina gano gakyakolebwa mu bifo ebimu mu nkukutu.

Omuwala ng’azina yeekulukuunya ku musajja mu Kampala

Olwa bannannyini bifo bino awamu n’abategesi okwagala okutega ssente, kati bettanidde nnyo okuleeta ebiwala bino ebyamyuka entumbwe olw’abasajja ababyesunga okulaba obwereere bwabyo.

Kigambibwa nti ebyana by’e Rwanda byo tebyekwata musoobooza ng’ebya kuno.

Abawala b’e Kigali bawambye siteegi za bamalaaya mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...