TOP

Aba KCCA bazinze ba malaaya ku ku luguudo lwa Mawanda

By Musasi Wa

Added 11th January 2013

BAMALAAYA basatidde ekizimbe mwe babadde bakolera bwe kizingiddwako ekitongole kya KCCA n’ebakiggala lwa bucaafu.

2013 1largeimg211 jan 2013 185044787 703x422

BYA MOSES LEMISA


BAMALAAYA basatidde ekizimbe mwe babadde bakolera bwe kizingiddwako ekitongole kya KCCA n’ebakiggala lwa bucaafu.


Zabadde ssaawa 12 ez’okumakya ku lw’okutaano ng’ekitongole kya KCCA ekibadde kikulembeddwamu Dirsa Kiwalabye akulira ebikwekweto mu Kampala nga bamaze okutuuka ku Kizimbe kya Aloysius ekisangibwa ku Luguudo lwa Mawanda ku Kaleerwe.


Ekizimbe kino kirudde ng’abatuuze n’abasuubuzi bakyemulugunyako olw’obucaafu obukivaamu ne bukulukutira mu batuuze, ku lw’okuna abatuuze n’abasuubuzi abakolera okumpi n’ekizimbe kino basoose kwagala kwekalakaasa nga bawakanya nanyinni kyo Aloysius Mugumya okugaana okusima ekinnya omugenda kazambi ava mu kizimbe kye.

Ba malaaya abasangiddwa nga bakkakalabya egyabwe nga bagobwa omukungu wa KCCA abafulumya.


Ekizimbe kiriko bizinensi ez’enjawulo ng’ebbaala, ekkanisa, loogi emanyiddwa nga Big Brother ng’eno abasajja b’oku ku Kaleerwe gye baggwera okwegulira ku bamalaaya abalayisi n’emizigo gy’abapangisa.


Wabula KCCA bwetusewo ku makya basookedde ku Loogi ya Big Brother gye basanze bamalaaya nga basinda omukwano n’abasajja era bamalaaya olulabye abasirikale ba KCCA ne bakuba enduulu nga bwe bafuluma ekizimbe era abamu obwedda bagamba nti tebabaswaza balina abaana, abalala abasajja era eno baba bazze kuyiiya ku ssente.


“Banange mwe aba KCCA temulina gye musula mutuleke oba mwagala mujje tubawereko bwerere naye mutuleke twekolere emaali” bwe batyo abamu ku bamalaaya bwe bagamye aba KCCA.


Ku loogi eya Big Brother omusajja aba ayagala okunyumya akoboozi ne Malaaya asasula 5000 nga ku kwekuli n’ezakasenge era ng’abasajja bangi abeyunirayo kyokka nga ne Poliisi egamba nti emisango gyebalina egivudde mu kifo kino giwerako.


Omu ku bamalaaya eyazinduukiriziddwa nga baggala ekizimbe kino ng'akuttemu obubwe naye afuluma. Ebifaananyi byonna bya Moses Lemisa.

Dirisa Kiwalabye akulira ebikwekweto bya KCCA mu Kampala yategeezezza nti okusinziira ku bucaafu obuli ku Zimbe kino babadde balina ku kiggala wabula okugigula nti kinasinziira ku Mugumya nanyini zimbe obwangu bwanakola ng’akola ebimulagiddwa.


Maneja w’ebbaala ya Big Brother eyasoose okuyomba n’abasirikale ba KCCA nti tebaabalabudde nga bajja okuggala ekizimbe kyokka nga bbo bapangisa ssi bebalina okusima kaabuyonjo.


Nanyini Kizimbe kino Aloysius Mugumya yagumizza abapangisa be nti buli kimu kigenda kudda mu nteeko .

Aba KCCA bazinze ba malaaya ku ku luguudo lwa Mawanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.