TOP

Bamalaaya bazze na nkuba mpya mu Kampala

By Musasi Wa

Added 3rd April 2013

BAMALAAYA mu Kampala balaze obwennyamivu eri poliisi gye balumiriza nti eyitirizza okubatulugunya.

2013 4largeimg203 apr 2013 114954310 703x422

 

 

 

 

Bya Eria Luyimbazi


BAMALAAYA mu Kampala balaze obwennyamivu eri poliisi gye balumiriza nti eyitirizza okubatulugunya.

Ssentebe w’ekibiina ekibagatta ekya Women’s Organization Network for Human Rights Advocacy, Daisy Nakato Namakula agamba nti abamu ku bapoliisi bateega bannaabwe ne babaggyako ssente ze bava okukola nga babatiisizza okubaggulako emisango.

“Tuli bennyamivu nti abapoliisi be bamu ku batulemesezza okukola omulimu gwaffe. Batuteega ne batuggyako ssente era nga bannaffe bangi abeemulugunyizza ku nsonga eno naye tewali kikolebwa,” Nakato bw’agamba.

Omukazi ku kkono yasangiddwa ku Katonga Road ku ssaawa 7:00 ogw’ekiro.

Mu ngeri y’emu Nakato agamba nti abapoliisi era basusse okubatiisatiisa ssaako n’okubakwata ne babaggulako emisango egitategeerekeka.

Ebizibu ebirala Nakato bye yanokoddeyo ebisinga okunyigiriza abamalaaya be basajja ababagula nga mu bano mulimu abemmundu ababakozesa ne bagaana okubasasula.

Agamba nti abantu bano oluusi bwalaba nga malaaya alina ssente, nazo azimutwalako.


Nakato agamba nti abasajja abamu bwe bakkaanya ne malaaya n’amutwala mu kasenge bwe batuukayo tebaagala kukozesa kondomu nga balina ebigendererwa eby’okubasiiga siriimu era nga tebalina we baloopa.

Waliwo abagula bamalaaya ne babatwala mu loogi oba wooteeri ate bwe batuuka eyo ne babakozesa bwe bamala ne beefuula ababagobamu emizimu.

 

AMATEEKA AGAFUGA BAMALAAYA
Ku mateeka agafuga bamalaaya Nakato agamba nti buli kitundu bamalaaaya we bakolera. Balina amateeka agabafuga.

Waliwo abatakkirizibwa kuwemula, okutamiirukuka, okutambula n’abantu abatategeerekeka n’okulwanagana.

Amalala mulimu okukwasisa empisa, obutabba kasitoma yenna kuba kasitoma bw’abbibwa y’abuulira abalala ku kifo awali bamalaaya ababbi.

Ono yasangiddwa ku Nile Avenue okuliraana Serena ng’akutte amazzi ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.

EMIRIMU EMIRALA BAMALAAYA GYE BAKOLA
“Ffe we twatuuka ekigambo malaaya twakiggyawo ne twetuuma ‘Nneekolera Gyange’ kye tusalako nti ‘NEKO’. Kino twakiraba nti omuntu tasobola kukola mulimu gumu,” Nakato bw’agamba.

Bamalaaya abasinga balina emirimu gye bakola okugeza waliwo abalina saluuni, ebbaala, ebirabo by’emmere, n’abakolera ebitongole ebyenjawulo.

“Nga ffe we tuli wano tukola emirimu gy’ekitongole emisana oluvannyuma ekiro ne tudda ku mulimu gwaffe”.

KU KY’EMYAKA;
Nakato agamba nti obwamalaaya tebuliiko myaka. Abamu bawala bato, abalala bafumbo abaagala okwongeza ku nnyingiza ya ssente okusobola okuyamba kunzirukanya y’amaka gaabwe era abaami baabwe abamu bakimanyi.

Nakato agamba nti obwamalaaya buzzeemu enkyukakyuka ng’abamu tebakyayimirira ku nguudo kulinda bakasitoma.

Agamba nti abamu bakolera ku ssimu nga ababeetaaga babakubira ssimu okubasisinkana mu kifo kye baba bakaanyizzaako.

Wabula ng’abali mu kiti kino ba bbeeyi ng’abamu bakasitoma baabwe bamanyi n’okubatwala mu bifo gye basula.

Bamalaaya abali mu kiti kino baava ku mulembe gw’okwambala obugoye obumpi era bambala za buvunaanyizibwa ne bakasitoma baabwe baabuvunaanyizibwa.

KU KY’ENNYAMBALA
Waliwo ba Neko abambala engoye empanvu ne ggomesi nga bano abasajja babettanira
nnyo kuba bakuuma ebbugumu.

Bano batera kubeera mu bifo eby’ebbeeyi era nga beeramulira ddala, bampale enywera miguwa tebabasobola.

EBBEEYI YA BAMALAAYA
Nakato agamba nti buli malaaya yeeramula okusinziira ku kifo mwali. Malaaya asangibwa mu bbaala oba wooteeri ey’ebbeeyi atera kutandikira ku mitwalo 5 n’okwambuka waggulu ate bano beeteekamu ssente okusinga ku bano abali mu bifo ebirala.

Ababeera ku luguudo batera kutandikira ku 10,000/- ate abakolera ku ssimu bali wagguluko kuba bbo bafuna bakasitoma ba bbeeyi ng’abamu baagala kubeera nabo ekiro kiramba.

Daisy Nakato Namakula akulira ekibiina kya bamalaaya mu Kampala, ebifaananyi byonna bya Eria Luyimbazi

Waliwo n’abeeramula mu doola wabula nga bo bazibu okumala gasangibwa.
Bakasitoma baabwe basing kubeera Bazungu .

Ebifo eby’olulango ebimanyiddwa nti bamalaaya mwe basangibwa kuliko; Kabalagala, Makindye, Nateete, Bwaise , ku Speke Top Pub n’awalala. Naye agattako nti bamalaaya bagenze bava mu Kampala wakati ne badda mu nkingizzi.

Nakato agamba nti ennaku ze basinga okukola lwe Lwokutaano n’Olwomukaaga kuba abacakaze babeera bangi bw’ogeraageranya n’ennaku endala.

Embeera bw’egenze ekyuka ne bamalaaya ne batandika okukyusa mu nkola yaabwe ey’emirimu ekyabaviirako okutandika ekibiina ekibagatta kye batuuma Women’s Organization Network for Human Rights Advocacy okusobola okufuna eddoboozi eryawamu.

Agamba nti bangi ku bamalaaya bafuna endwadde ne batya okugenda mu malwaliro nga balowooza nti bajja kusosolebwa n’abasawo okugaana okubakolako.

Wabula ekibiina kino kibasobozesa okuboogerera mu ddwaaliro ne bafuna obujjanjabi n’okubuulirirwa okuva mu basawo.
 

Bamalaaya bazze na nkuba mpya mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.