TOP

Abakungubazi bakoze effujjo mu lumbe lwa Angume

By Musasi Wa

Added 8th May 2013

ABAKUNGUBAZI balwanidde omulambo gwa Martin Angume nga balemesa ab’ekitongole ekyapangisiddwa okukola ku by’okumuziika okugutwala mu kizimbe ng’ekuba etonnya, okukkakkana ng’abakungubazi bagusuuzizza abaapangisiddwa.

2013 5largeimg208 may 2013 120719970 703x422

 

 

 

 

 

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE STEVEN MUSOKE

ABAKUNGUBAZI balwanidde omulambo gwa Martin Angume nga balemesa ab’ekitongole ekyapangisiddwa okukola ku by’okumuziika okugutwala mu kizimbe ng’ekuba etonnya, okukkakkana ng’abakungubazi bagusuuzizza abaapangisiddwa.

Katemba ono yabadde ku National Theatre awaakumiddwa olumbe ku Mmande ekiro namungi w’omuntu we yakung’anidde.

Abakungubazi bano ng’abasinga baabadde batamidde olw’okunywa buli kika kya mwenge, okufuuwa ebintu ebivaamu erikka n’okwegaayagaaya nga bakira baleekaana nga bwe bayimba ennyimba z’abafu n’ez’ebivvulu nga n’abamu bwe beewaana nti, ‘‘ffe tuli mu kulya kaawwsi’’.

Angume ng’ali ne Betty Mpologoma gwe baali naye mu bbandi y’emu.


Waliwo akabiina k’abayaaye akaasazeeko ekifo ne katandika okusala ensawo mu ngeri ey’ekyewuunyo kyokka kano bakira abantu gwe bakwatako gwe bakuba nga bamuwa poliisi ng’emwongerayo. Bino byonna byalemesezza n’abaabadde bagenda okusoma pulogulaamu y’okuziika.

Angume ne banne (waggulu) nga bayimba mu Diamonds Production mu 2004.

Bbo bannamwandu okuli Julie Ssemugga ne Hadijah baasazeewo kutuula mu bibinja n’abawagizi baabwe era nga buli omu yeenyumyako nga bba gw’abadde asinga okwagala.

Baatuuse n’okwetuuma amannya g’ennyimba za Angume. Hadijah yeeyise ‘Gundi mu Ggiya nnene’ ate Julie nti ye ‘Swiiki’ Angume gye yawaana.

Nnamwandu Julie Ssemuga ng’ali ne mikwano gye mu lumbe. Ku kkono emabgea ye Kusaasira.

Obulamu bwa Angume

OMUYIMBI Martin Angume okuyimba yakutandikira mu kkanisa y’Abadiventi e Kawaala. Olwo yali avudde mu kyalo e Kitwe mu Ggombolola y’e Kayonza mu Bugerere gy’azaalibwa Mw. John Akulu ne Muky. Yira.

Abakazi nga batema emiranga mu lumbe.

Mu 2000, Angume yeegatta ku kibiina kya Kato Lubwama ekya Diamonds Production oluvannyuma lwa Betty Mpologoma okumuzuulamu ekitone. Mpologoma aludde nga bayimba bonna yategeezezza nti mu kiseera kino, Dr. Tee ye yali amuyiiyiza ennyimba era bwe yamuwa oluyimba lwa ‘Kiri mu ddungu’ n’amusaba afune omuntu alina eddoboozi eddene.

Mu 2004, Mpologoma, Mariam Mulinde, Getrude Nalule n’abalala baatandikawo ekibiina kya KATS Production nga bavudde mu Diamonds era waayitawo akaseera katono ne Angume n’abeegattako.

Mu 2007 ekibiina kino kyagwa olwo Angume n’atandika Mable’s Productions ne Nalule. Nakyo bwe kyagwa n’atandika okuyimba yekka. Wafiiridde nga yaakava mu kibiina kya Comprehensive Band ekirimu mukyala we Julie Ssemugga, Billy Katumba Kasodde n’abalala.

Angume ng'attunka n'omuwagizi we mu mazina ku lonki ya 'Swiki" ku Satelite Beach e Mukono.


Yayimba ennyimba okuli ‘Ekkadde, Wacha waseme, Sseberesebere abamu lwe baatuuma ‘Eno mu Kampala tusula tubaala, Ggiya ne Swiiki’ ezisinze okumussa ku maapu.

Y’omu ku bayimbi abaayimbira Omutanda oluyimba lw’Amazaalibwa ag’omwaka guno wadde nga teyasobola kugeetabako olw’obulwadde. Angume w’afiiridde ng’aliko oluyimba olupya lw’aleeta oluyitibwa ‘Beera kumpi’.

Abakungubazi bw’anywamu. nga bayombera omulambo, Ebifaananyi byonna bya Josephat Sseguya



<<

Abakungubazi bakoze effujjo mu lumbe lwa Angume

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...