TOP

Abagagga bazinzeeko akabuga ka Ndeeba

By Musasi Wa

Added 21st August 2013

Ekyali ekibuga ky'abasamize, Ndeeba abagagga bamuzinzeeko ne bamugugumulamu ebizimbe eby’amaanyi ebikyusizza endabika y’ekitundu kino.

2013 8largeimg221 aug 2013 103723023 703x422



Bya ERIA LUYIMBAZI
ABAGAGGA bazinzeeko ekitundu ky’a Ndeeba ne bagugumula ebizimbe eby’amaanyi ebikyusizza endabika y’ekitundu kino.

Ndeeba muluka ogusangibwa mu munisipaali y’e Lubaga nga gukolebwa zooni 15 okuli: Betania, Kidomoole, Kasumba, Nsiike I, Nsiike II, Wilson, Kajubi, Mpomba, Central, Mutaawe, Spire, Kayanja, Mutebi, Aggrey ne Tomusange.

Ibrahim Nsubuga akulira ebyokwerinda mu Ndeeba agamba nti ekitundu kino kyatandika okukyuka mu myaka gy’e 90 nga giggwaako, abagagga ab’enjawulo wamu n’abasuubuzi ne batandika okusitula ebizimbe eby’amaanyi.

Ekizimbe kya Viva Hardware mu Ndeeba.

Yategeezezza nti Ndeeba mu kusooka yali amanyiddwa ng’ekitundu omuli abasamize, wabula bano ne baggwaamu ate ne kuddako akatabanguko akaaliwo mu biseera ebyo olw’abasirikale abaavanga mu Lubiri ne babba abantu era bangi baakiddukamu okutuusa lwe waatereera abantu ne batandika okukomawo.

Nsubuga agamba nti abantu baatandika okukoleramu nga basuubula pikipiki ne sipeeya wa mmotoka era emirimu bwe gyatandika okutambula obulungi ne batandika okuzimba ebizimbe eby’amaanyi.

“Abagagga bano tebawamba ttaka lya muntu yenna wabula bannannyini lyo be batunda nga beeyagalidde ne babasasula ne basenguka,” bwe yategeezezza.

Okuva abagagga lwe bajja mu Ndeeba bazimbye ebizimbe eby’amaanyi nga kati okuva e Kibuye ku luguudo oludda e Nateete kuliko ebizimbe eby’amaanyi ebisoba mu 30 ebizimbiddwa abantu ab’enjawulo.


Ebimu ku bizimbe ebitunda sipeeya ebiri mu Ndeeba.

(Ku ddyo) ye BMK omu ku balina ebizimbe mu Ndeeba.

Abamu ku bagagga abasinze okukyusa Ndeeba n’atuuka waali kati kuliko, BMK, Musa Ssaku owa Masaku, Dodoviko Mwanje ng’ono agambibwa okuba nga yasinze okuzimba ebizimbe mu Mutaawe zooni, Ssaalongo James Mukasa owa Viva general Hard Ware, Mamba, Sam Kyalema, George Batte owa Martin Motel, Ali Ssenjala ow’omu Mpomba, Mansoor Matovu Yanga, Godfrey Kirumira, Moses Kalungi n’abalala bangi.

Okumanya Ndeeba akyuse nnyo ekitundu ekimu olwali olusaalu kati tokyasobola kululaba anti abantu bazimbyeyo.Abagagga bagunze ebitundu omuli Mutaawe Zooni mu Nsiike I ne Nsiike II.

Hajati Zamu Namakula akulira akakiiko k’ebyenkulaakulana mu Ndeeba ka Parish Development Committee agamba nti enkulaakulana ezze naye bakyabulamu ebintu bingi.


Godfrey Kirumira ne Moses Kalungi abamu ku
bagagga abalina ebizimbe mu Ndeeba.

Agamba nti Ndeeba yeetaaga ateekebwemu omudumu gwa kazambi omunene kuba ebizimbe ebisinga byazimba ttanka ez’omu ttaka nga bwe zijjula bakaluubirizibwa okufuna we bamuteeka. Omudumu munene bwe gufunibwa ebyobulamu bijja kuba bigonjoddwa.

Yagasseeko nti kyetaagisa KCCA okusitukiramu okuzimba emyala okusobozesa okutwala amazzi naddala omwala omunene okuguyiwa ku Mayanja ku lw’e Masaka n’okuzimba kaabuyonjo ez’olukale kuba omuwendo gw’abantu gususse.

Emisana Ndeeba abeeramu abantu abasoba mu mitwalo 2 abajja okukoleramu ate abasulamu basoba mu mutwalo ogumu.

 

 


 

Abagagga bazinzeeko akabuga ka Ndeeba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa