TOP

Tuzudde ebibinja ebyambula abakazi emisana ttuku

By Musasi Wa

Added 18th December 2013

Omuwala nga bamuzingirizza wakati wa takisi bamwambula.

2013 12largeimg218 dec 2013 103635480 703x422Bya MARTIN NDIJJO NE KIZITO MUSOKE

OLUVANNYUMA lw’agavubuka ag’effujjo okugwa ekiyiifuyiifu ku muwala eyabadde atambula mu kibuga ku Ssande emisana ttuku ne bamwambulamu engoye, abakazi mu Kampala emitima gitandise okubeewanika. Basabye poliisi esitukiremu ebataase ku gasajja agabakolako effujjo.

Ebikolwa by’okwambula abakazi bimaze ebbanga naddala mu Kampala ng’abamu babalanga kwambala nkunamyo, bubbi, ttamiiro, obwamalaaya ate abalala babapangira n’ekigendererwa ky’okubaswaza.

Okwambula abakazi kubadde kukendedde naddala ayambadde mmini. Effujjo eryakoleddwa ku Ssande ku muwala ataategeerekese mannya ku luguudo lwa Burton Street waggulu wa ppaaka enkadde, nakati ekyali mboozi mu kibuga.

Kyokka Bannakampala abamu kano bakayise kamu ku bukodyo bw’ababbi ke baagala okukozesa okweyiiya mu kiseera kino nga tusemberedde ennaku enkulu.POLIISI EVUDDEYO KU BAMBULA ABAKAZI

Poliisi evumiridde ebikolwa by’okwambula abakazi ng’egamba nti abakikola bamenya mateeka olw’okutwalira amateeka mu ngalo.

Ibin Ssenkumbi, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano agamba nti wadde waliwo abakola effujjo, kyokka era kano ke kamu ku bukodyo ababbi bwe bakozesa okunyaga abantu.

“Okwambula abantu mu Kampala kubadde kukendedde oluvannyuma lwa poliisi okusitukiramu naye kirabika waliwo abaagala okukozesa embeera eno mu nnaku zino okuyiiya eza Ssekukkulu nga bayita mu kugumaaza abantu nti be bambula beesittaza ensi n’okuba abamenyi b’amateeka kyokka nga si kituufu.

Eno y’ensonga lwaki be bambula tebasigaza kantu, ng’ebintu byabwe bitwalibwa abo abatwalidde amateeka mu ngalo.” Ssenkumbi bwe yannyonnyodde.

Ssenkumbi agamba nti wadde mu Uganda tewali tteeka lirambika ngeri muntu gy’alina kwambalamu kyokka okwambula omuntu oba okumukwatako nga takukkirizza obeera olinnyirira ddembe lye.

Yayongedde nti ayambula omuntu bw’akwatibwa, poliisi esobola okumuvunaana emisango egy’enjawulo omuli okutwalira amateeka mu ngalo, okuweebuula omuntu, okulumya n’emirala.

Kyokka yalaze okwennyamira olw’abawala abamu naddala abo ababeera mu bivvulu ne ku bbiici abateeka abasajja mu mbeera ebaleetera okubambula ne babakolako effujjo ne basigala nga banyumirwa n’asaba Palamenti eveeyo n’etteeka ku nnyambala n’ebikolwa ebyesittaza.

Bwe yabuuziddwa oba nga balina abantu be bakutte ku ffujjo eryakoleddwa ku muwala ku Ssande, yategeezezza nti poliisi ebadde tennafuna kwemulugunya kwonna kyokka omuwala ono bw’anaaloopa bajja kusitukiramu abo abakoze effujjo bakwatibwe era bavunaanibwe.Omuwala eyayambuddwa mu ppaaka ng’agezaako okwetatakkuluza ku basajja ayingire takisi Eno nayo baamusanzeeyo ne bamwambula ate ne bamubamba buli omu ne yeerolera.

ABAMBULA ABAKAZI BEEKOZEEMU EBIBINJA

Wadde waliwo abantu ssekinnoomu abeenyigira mu bikolwa bino, ensonda mu poliisi zaategeezezza nga bwe waliwo n’ebibinja by’abavubuka abakola effujjo lino era bano be bamu ku batigomya Bannakampala nga bababba.

Mu bibinja ebinokoddwaayo mulimu;
Kiffeesi mu kiseera kino kiduumirwa omusajja eyeeyita ‘Timo’ era ono ne banne banoonyezebwa. Kigambibwa nti be baakuliddemu effujjo eryakoleddwa ku bantu abaagenze mu kivvulu kya Busy Signal ekyabadde ku bbiici e Ntebe.

Ekibinja kino kisinziira mu bitundu by’e Katwe n’e Kibuye okutigomya abantu era bano beezira kuwulira wali masanyu naddala ebivvulu ebibeera ku bbiici ne mu bisaawe nga ‘balumba’ Tebakoma ku kwambula, bakubbako buli kamu k’olina.

Ekibinja ekirala kimanyiddwa nga Ibanda Crew nga kino kisinziira mu bitundu by’oku Kaleerwe ne Mulago.

Poliisi etabukidde aba takisi ne boda

ABA TAKISI BOOGEDDE

ISA Tebyasa akulira siteegi y’e Ntebe mu ppaaka ya takisi enkadde yayogeddeko ne Bukedde bwati; “Ekizibu kye tulina ppaaka, mu kiseera kino tewali muntu agirinako buvunaanyizibwa mu bujjuvu.

Wadde baali bataddewo olukiiko olw’ekiseera kyokka teruweereddwa bulungi maanyi kukola ku nsonga nga zino.

Mu ppaaka mulimu abantu ba bika bingi abakola effujjo ly’okwambula abakazi. Mulimu; abayaaye, abatembeeyi, ne baddereeva abamu abasiiwuufu b’empisa abeenyigira obutereevu mu kwambula abantu.

Ekikolwa kino tukivumirira nnyo, kuba kimenya mateeka.

Buli wiiki owulira abantu nga bagoba abakazi nti ayambadde bubi nga bwe bamuwereekereza ebigambo nti eno Buganda tebambala nkunamyo n’ebirala ebigamba nti okunamira Ssaabasajja nnyabo.

Nze ng’omukulu wa siteegi mbeera sirina kinene kye nsobola kukolawo kuba bwe mbiyingiramu basobola n’okunkuba.

Nze kye ndaba ekitongole kya KCCA ng’abafuga ekibuga bavunaanyizibwa ku kulwanyisa ekizibu kino.

Agamba nti KCCA kirungi eveeyo n’amateeka amakakali agakwasisa empisa era nga gano galina okukkira ddala wansi mu bukiiko bwa siteegi mu ppaaka.

ABA BODABODA N’ABATAKISI BALABUDDWA

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti bano be bamu ku bantu abeenyigira mu bikolwa bino.

“Olw’okucamuukira ennyo, aba boda n’aba takisi bayamba abamenyi b’amateeka mu kwambula abakazi.

Bano mu kifo ky’okunoonyereza okuzuula oba ddala gwe bayita omumenyi w’amateeka okugeza omubbi alina kyabbye, omuntu bamugwako kiyiifuyiifu nga bamukuba ne bagattako n’okumwambula kubanga abamu banyumirwa effujjo.

Naye tubalabula nti anaakwatibwako ajja kuvunaanibwa,” bwe yabalabudde.

Minisita yeeweredde abambala obubi
ABAMU ku bantu abeenyigira mu bikolwa by’okwambula abakazi babalanga kubeesittaza.

Wadde poliisi egamba nti tewali tteeka ddambulukufu mw’eyinza kuyita kuvunaana abambala mmini oba okwesittaza abalala, Simon Lokodo minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa agamba nti bano basobola okuvunaanibwa nga bayita mu kawaayiro akali mu Ssemateeka akoogera ku nnyambala ne nneeyisa y’omuntu.

“Waliwo ebbago ly’etteeka lye nteekateeka okwanjulira Palamenti erikugira ebikolwa ebyesittaza. Lino bwe linajja poliisi esobola okuyita mu kawaayiro akoogera ku nnyambala ne n’enneeyisa y’omuntu okulwanyisa ebikolwa bino.

Singa omuntu ayambala mu mbeera eyeesittaza abalala, poliisi esobola okunoonyereza n’ezuula ekigendererwa kye era singa kizuulibwa nti akikoze mu bugenderevu okwesittaza abalala avunaanibwa.

Naye singa omuntu aba ayambadde ng’ennyambala egenda ku kifo oba omulimu gw’agenda okukola okugeza okuzannya omuzannyo nga okuwuga taba na musango,” bwe yagambye.

Abamu ku bakazi abazze bambulwa
EBIMU ku bifo ebinokoddwaayo mulimu; ppaaka za takisi, ku luguudo lwa Burton Street, Ben Kiwanuka, Namirembe Road, ebitundu bya Kisenyi, obutale, siteegi za boda boda n’awalala.


ABAMU KU BAKAZI ABAZZE BAMBULWA.

Nga March 4, 2012 abasajja mukaaga baakwatibwa ku Imperial Resort Beach e Ntebe nga kigambibwa nti baali beenyigidde mu kukola effujjo omwali n’okwambula abakazi.

Oluvannyuma lw’omukyala eyategeerekeka nga Annet Nantale okuloopa ku poliisi abavubuka basatu baasimbibwa mu kkooti y’omulamuzi Michael Nasimolo ne bavunaanibwa omusango gw’okutigiinya omukazi.

Omuwala eyayambuddwa ng’agezaako okwekweka wakati mu takisi.

Nga June 29, 2010, Bukedde yafulumya eggulire ly’omukazi, Sarah Naluwooza omutuuze w’e Makindye gwe baayambulira wakati mu kibuga nga bamulanga okuyingira mu dduuka erimu ku Wilson Road eritunda obusimu ne kkamera n’apakula kkamera.

Ku Paasika ya 2009 mu kivvulu ekyali mu kisaawe e Nakivubo abamu ku bavubuka abaaliyo baakola effujjo ne bambula n’abakazi abamu.

Mu September w’omwaka oguwedde omukazi munnansi wa Congo , Fula Zane yakigwako abantu bwe bamukuba n’okumwambula ku kizimbe kya Galiraaya mu Kampala nga bamuteebereza okubba mu dduuka eritunda obuviiri bw’abakyala n'ebizigo.

Mu December wa 2011, omuwala eyategeerekekako erya Kaliisa nga mutuuze w’e Makindye yasimattusse okuttibwa, abasajja be yali acakadde nabo bwe bamwefuulira mu kiro ne bamukolako effujjo n’okumwambula nga kiteeberezebwa nti baali baagala kumukozesa era bano baamusuula ku luguudo lw’e Ntebe.
 

Tuzudde ebibinja ebyambula abakazi emisana ttuku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...