TOP

Obadde okimanyi nti Mukwano asinga Sudir Ruparelia obugagga ?

By Musasi Wa

Added 18th March 2015

WADDE Uganda ly’erimu ku mawanga agasinga obunkuseere wansi w’enjuba, bannansi baayo babiri be bamu ku bagagga baffuge abasingayo mu nsi yonna.

2015 3largeimg218 mar 2015 124452050 703x422

Bya AHMED MUKIIBI

WADDE Uganda ly’erimu ku mawanga agasinga obunkuseere wansi w’enjuba, bannansi baayo babiri be bamu
ku bagagga baffuge abasingayo mu nsi yonna.

Bannayuganda; Amirali Karmali eyakazibwako erya ‘Mukwano’ ne Sudhir Ruparelia eyakazibwako erya ‘Nnannyini Kampala’ be bamu ku bagagga abali ku nsi kuno Katonda be yaweesa emikono ebiri Karmali ne Sudhir bali
ku lukalala lw’abantu 55 bokka abasingayo obugagga mu Afrika yonna ate nga mu nsi yonna omuli amawanga
ag’oku Ssemazinga wa Amerika, Asia, Bulaaya, ne Afrika, Karmali ne Sudhir bali ku lukalala lw’abagagga ffugge 2,000 (billionaires) abasingayo mu nsi yonna.

Mu Afrika, Karmali (Mukwano) akwata kifo kya 34 ku bagagga 55 abasingayo ate nga Sudhir akwata kifo kya 39 mu Afrika yonna.
Okusinziira ku katabo akayitibwa ‘Ventures’ akafumira mu South Afrika akaafulumizza olukalala lw’abagagga abasinga
mu Afrika, ebyobugagga bya Karmali, ow’emyaka 82 bibalirirwamu ddoola akawumbi kamu n’obukadde 500. 

Ebyobugagga bya Sudhir ow’emyaka 59 okusinziira ku “Venture” bibalirirwamu ddoola akawumbi kamu n’obukadde 300 era ng’akwata ekifo kya 39 Ku lukalala lwa Afrika, omusajja enzaalwa ya Nigeria Aliko Dangote y’asinga obugagga mu Afrika yonna ng’ebyobugagga bye bibalirirwamu ddoola obuwumbi 25 n’obukadde
700.

Ku lukalala luno omukazi ayitibwa Folorunsho Alakija enzaalwa ya Nigeria ye wookuna mu Afrika. Ono alina ebyobugagga ebibarirwamu doola obuwumbi musanvu n’obukadde 300. 

Ebyobugagga bya Mukwano Mukwano alina ebizimbe, amakolero, kkampuni , amasamba , ffaamu ne bizinensi ez’enjawulo mu Uganda, Kenya, Tanzania, ne mu Buyindi.

Mukwano Industries Limited ekola ; Amazzi ga Aqua Sipi, Kyekyo energy drinks, butto afumba ow'ebika eby’enjawulo, Marina margarine, Ssabbuuni anaaba, ayoza n’owobuwoowo n’ebintu ebya pulasitiki. 

Mukwano Agro Project Limited – Ennimiro eya Yiika ezisoba mu 17,000 acres (Mayiro z’ettaka 27) e Masindi ne Fortportal okuli amasamba g’amajaani, kasooli, soya, n’entungo. Lira Oil Mill Limited –

Ekkolero lya butto ava mu sunfl ower, entungo n’ensigo za ppamba. Nationwide Properties Limited – Kkampuni eddukanya mebizimbe bya Mukwano ebisangibwa mu Kampala n’ebitundu bya Uganda ebirala.

Gulf Stream Investments Limited – Kkampuni eno eri Mombasa mu Kenya ekola ku by’amafuta. Cargo Logistics Services
Limited – Eno kkampuni ekola ku kutambuza eby’amaguzi ku ggaali ey’omukka, mu nnyanja ne ku ttaka ng’erimu tuleera
esisoba mu 200 n’ebiyumba by’eggaali ey’omukka.

ukwano AK Plastics Ekola ku bya pulasitiiki Riley Packaging Limited – Ye kkampuni enkola ebintu mu mpapula ezinga obunene mu Uganda ng’esangibwa Mukono.

Mukwano Dar-es- Salaam Factory – Kkolero lisangibwa Dar-es-Salaam, mu Tanzania nga likola ebyamaguzi okuli ssaabbuuni , butto n’ebirala.

Lira Maize Factory Limited – Lisangibwa mu disitulikiti y’e Lira. Imperial Bank Uganda - Bbanka eno erina amatabi mu Kenya ne Uganda Mukwano Sugar Factory – Kkolero lya ssukaali likyali mpya nga lisangibwa mu disitulikiti y’e Masindi.

Ebimu ku by’obugagga bya Sudhir Bino bye bimu ku by’obugagga bya Sudhir Crane Bank - Kampala, Crane Forex Bureau 1 - Crane Chambers, 20 Kampala Road Crane Forex Bureau 2 - Kampala Speke Hotel, 7-9 Nile Avenue, Kampala Goldstar Insurance Company Limited - Kampala Speke Resort and Conference Centre - Munyonyo, Munyonyo Commonwealth Resort - Munyonyo Kampala Speke Hotel - Kampala Kabira Country Club - Bukoto, Kampala Tourist Hotel - Kampala, Uganda Speke Apartments Limited - Kampala Sanyu FM 88.2 - Kampala Kampala International School Kampala Parents' School New Delhi International School, Crane Management Services Limited - Kampala Meera Investments Limited - Kampala Rosebud Limited - Entebbe Victoria University Uganda Ebizimbe e Rwanda, South Suda

 

Obadde okimanyi nti Mukwano asinga Sudir Ruparelia obugagga ?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa