TOP

Kaabuyonjo z’amasomero e Nakawa ziri mu mbeera mbi!

By Musasi Wa

Added 30th July 2015

KAABUYONJO kye kimu ku bizibu ebisinga okutawaanya amasomero ga Gavumenti naddala aga pulayimale mu munisipaali ya Nakawa olw’abaana abangi.

2015 7largeimg230 jul 2015 093042513 703x422

Bya MAYI NABAYUNGA

KAABUYONJO kye kimu ku bizibu ebisinga okutawaanya amasomero ga Gavumenti naddala aga pulayimale mu munisipaali ya Nakawa olw’abaana abangi.

Amasomero agasinga galina kaabuyonjo emu ate ng’ezimu ziri mu mbeera mbi. Bw’otuuka ku ssomero lya Naggulu-Katale P/S, kaabuyonjo emu gye balina, enkozesebwa abayizi abasoba mu 600 kyokka nga n’abatuuze abaliranyeewo gye beeyambisa.

Munisipaali y’e Nakawa erimu amasomero ga Gavumenti agalabirirwa KCCA asatu kyokka nga gonna galina ekizibu kya kaabuyonjo ezitamala. 

Naggulu Katale Primary School yagambye nti kaabuyonjo ziyitirira obucaafu ate nga ntono bw’ogeraageranya n’omuwendo gw’abayizi abazikozesa.

Amyuka omukulu w’essomero lya St Jude, David Alworong agamba nti embeera y’essomero lyabwe mbi kuba abayizi bangi kyokka kaabuyonjo ntono ate nga ziri mu mbeeera mbi .

KCCA BY’EYOGERA

Meeya w’e Nakawa, Benjamin Kalumba yagambye nti embeera y’amasomero mu Nakawa erongooseddwa era nga bazimbye ebikomera ku masomero agamu okutangira ab’ebweru okukozesa ebintu by’amasomero nga kaabuyonjo.

Kaabuyonjo z’amasomero e Nakawa ziri mu mbeera mbi!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...