TOP

Laba obulamu bw’omuwala wa yunivasite mu Kampala !

By Musasi Wa

Added 5th August 2015

Olw’okuba nti tusoma ku makya, obudde we buwungeerera tuba tetulina kye tukola n’olwekyo tebaganya lunaku lwonna kubayitako nga tebalina kye beekoledde wo.

2015 8largeimg205 aug 2015 124100780 703x422


OMUSASI waffe amaze ebbanga ng’alondoola abawala ba yunivasite gye bacakalira era emboozi aginyumya bwati;

BULIJJO nneegomba okugenda mu ttendekero erya waggulu oba yunivasite nange neeyagaleko ng’abawala abalala. Era ntandise okunyumirwa obulamu bwe nneegombanga.

Omanyi ndi mu yunivaasite emu mu Kampala mu mwaka ogwokubiri.

Kyenkana buli kimu mu bulamu bwange kikyuse. Omanyi eno gye tuli amateeka tegatukwatako, hamba ag’abazadde mpozzi n’agamasomero ga siniya. Twekolera ebyaffe nga bwe tuba tusiimye awatali atukuba ku mukono.

Ebisulo oba ziyite hositeero abamu ku bayizi bannange bbo baabifuula dda eggulu lyabwe ery’oku nsi anti buli kye balina kyegombesa.

Omuwala wa yunivaasite nga yeeyambula afune tiketi n’omujoozi mu club Amnesia

Nange baasazeewo okuntwala gye baliira kaasi nneerabireko. Twasazeewo okugenda mu bifo eby’enjawulo abavubuka gye bacakalira ate ng’era n’abakuzeemu abalina ku kasimbi tebabigwa.

Batera kucakala mu nnaku ezo eziweebwa abavubuka nga ffe abali ku yunivasite (campus night) era ng’eno tuyingirira bwereere.

Abawala bano bakozesa boda okugenda mu bifo bino ate olwo mu kudda ne bakwatagana n'abasajja abalina ebidduka ababa babasiimye.

Olw’okuba nti tusoma ku makya, obudde we buwungeerera tuba tetulina kye tukola n’olwekyo tebaganya lunaku lwonna kubayitako nga tebalina kye beekoledde wo.

Ku Mmande bayitako mu bbaala ez’enjawulo ne banyumirwa ku nnyimba ez’edda. Eno wasinga kwettanirwa abasajja abakuliridde era ng’abamu babeera bafumbo.

Kampasa ng’azina ne Aziz mu kifo ekimu ekisanyukirwamu.

Eno nno beesibirayo ddala okutuusa nga bafunye ababagambako era wano we batandikira okuzimba enkolagana yaabwe.

Abasajja bano okwawukanako n’abavubuka ab’emyaka gyaffe babeera n’ensimbi eziwerako ate ng’era bazigaba anti gwe wamma ekintu kimu kye weetaaga okukola era nga kino kya kumuyita buyisi "bbebi oba swiiti" olwo ng’ofa omwenge n’ebikoko.

Kye nnazudde nti erinnya lino erya bbebi oba swiiti wattu balyagala nnyo oba lwakuba nti awaka babayita taata Naki!

Olunaku lwa Mmande luno terutera kubasala anti ng’oggyeeko okubagulira omwenge n'ebikoko ng’abali mu mpaka, babawaayo ne ku kasente. Kano tekatera kukka wansi wa 50,000/- kyokka n'oluusi babavuga ne babazza ku ‘hositeero’ gye basula.

Bano nno tebatera kubeesibako ng’abavubuka ab’emyaka gyaffe anti nabo babeera ne famire zaabwe. Eno y’ensonga lwaki babakuumira awo wadde nga tebaba na kirowoozo kya kubeera nabo lubeerera.

Ono omuwala ng’anywa sisha ku Hi Table

Ku Lwokubiri bayitako mu kiraabu era ng’eno omwenge guba gusaliddwa ebbeeyi anti bagiyita “bucket night”ng’era wamma eno osobola okufuna eccupa z'omwenge ttaano ku 14,000/- oba eccupa 10 ku 28,000/-.

Olw’okuba nti batambulira mu kibinja, beesondamu ensimbi olwo ne beegulirayo ‘bucket y'omwenge etandikirwako. Oluvannyuma oyo aba abeegombye atandikira okwo okubagulira omwenge omulala.
Olw’okuba nti baba beegulidde omwenge gwabwe, kibeera kizibu nnyo eri oyo abasanga okubayisaamu amaaso.

Ku Lwokusatu babeera mu kibaala ekimu e Ntinda era ng'eno ensi yaabwe eyokunywa ku ‘sisha’ gy’ebeera. Nga bulijjo bayitamu n'ensimbi entonotono era olutuuka nga beesabira ekika kye beesiimidde.

Sisha ono takka wansi wa 10,000/- era nga zino ze beetaaga zokka okutandika olunaku lwabwe mu sitayiro. Ng'oggyeeko ‘sisha’ okubamalamu empewo, abaleetera okucamuka ne baggwaamu ensonyi.

Mu nnaku nga zino bakwatagana n'abavubuka ab'emyaka gyabwe nabo abafuuyi ba sisha, sigala mpozzi n'abanywi b’omwenge era nga bano nabo babakamulamu ensimbi awatali kubasaasira.

Ono naye ng’azina mu ndongo y’abayizi ba yunivasite mu Kampala, Omuwala amanyiddwaako
erya Sarah ataggwa bbaala. Wano ng’afulumye mu bbaala anoonya erimuzza awaka. Asoma
mu ttendekero erimu e Wandegeya.

Buli muntu abeera ne bizinensi ye, era n’abawala bano okucakala baakufuula bizinensi era y’ensonga lwaki babeeramu ne ku kasimbi akatambuza bizinensi yaabwe era nga zino okusinga zibeera za ntambula.

Ku Lwokuna bayitako mu Club eyamaanyi emu. Eno baggyayo obwambalo bwabwe bwonna obwakabi anti eno esomboola buli kiramu olwo nno ne kifumba mutuku.

Wadde ng’ennaku endala abawala bano bambala ne basaaliza abasajja, lwe banaayitako eno kisukka anti luli luba lutalo lwa kwambala ng’asinga ayinza okwewangulira omu ku bavubuka oba abasajja abalabika obulungi.

Eno olumu babagamba bafuneyo omulenzi bamuku¬be kiisi baweebwe 10,000/- era ne bakikola awatali kwesikamu.

Wadde nga kyatondebwa nti omusajja y’atuukirira omukyala n’amukwana, bano ebyo tebabimanyi era tetusuula siteepu anti kasita omuvubuka aba ng'alabikako era nga n’ensimbi aziweza, abawala bano tebaba na buzibu bumutuukirira ne beeyogerako.

Ku Lwokutaano bagendako mu kiraabu endala ey’amaanyi. Eno wanyuma bya nsusso anti ng’oggyeeko okunywa omwenge ne guggwaayo mu masundiro,bakwatagaana n’abalenzi ab’emyaka gyabwe era ne batambuza obulamu bwabwe mu ngeri eya ‘dot com. Anti era abasinga kiggweera eyo olwo ne bannyuka na bunamba bw’amasimu.

Lwomukaaga baba mu ggandaalo era batuyitako ku Restaurant beeriire ku ‘pizza’ zaayo zikawoomera.

Eno tewabula Bazungu abatafaayo kubasaasanyirizaako nsimbi. Eno singa oba wanaaba olwe¬za osoboola okunnyukayo ne 15,000/- n’okudda waggulu. Okusinga eno banywerayo sooda.

Ku Ssande, bayitako mu masinzizo kyokka era nga bw’omanyi enkola yaabwe ekibatwalayo tekyawukana na kibatwala mu bbaala anti ekigendererwa kye kimu kyakusaba basajja ssente.

Poliisi ebalabudde

OLUVANNYUMA lw’okuttibwa kwa Desire Mirembe abadde asomera ku Makerere yunivasite, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti nga poliisi bagezezzaako okulaba nga buli muntu mu ggwanga akuumibwa n’ebintu bye.

Naye agamba nti abawala ba yunivasite ne bwe babagamba batya tebafaayo kugondera biragiro bibaweebwa ate nga kino kiyamba bulamu bwabwe.

Onyango agamba nti, bazze babalabula okwewala abantu abagwira naddala be basanga ku mikutu gya yintanenti okuli Facebook, n’emirala kyokka tebawulira.

EBIRAGIRO ABAYIZI BYE BALINA OKUGOBERERA
Abaana ba yunivasite naddala abawala balina okwewala ennyo okusisinkana abantu be batamanyi nga bali bokka.

Okwewala okubuulira omuntu yenna gwe batamanyi naddala be basanga ku mikutu gya yintanenti ebibakwatako, ebikwata ku bazadde baabwe n’ebyenfuna bya bazadde baabwe.

Okukoppa ennamba ya mmotoka y’omuntu yenna gwe baba basisinkanye nga tebannamwekakasa.
Bwe baba bagenda okusisinkana abantu be batamanyi omulundi ogusooka basaana bagende ne mikwano gyabwe.

BANNANNYINI BISULO:
Onyango yategeezezza nti ne bannyini bisulo balina amateeka ge babawa kyokka nabo tebagagondera.
Yagasseeko nti; 

Ebisulo biteekeddwa okuba n’abaserikale abakuuma buli kadde.

Okubeera n’ebitabo abagenyi bonna abakyala ku bisulo mwe bawandiika ebibakwatako.
Okuteekamu kkamera eziraba mu bufo obuziyivu okuwa abayizi obukuumi essaawa bina.

ERI ABAZADDE;
N’abazadde nabo baliko ensobi ze bakola ne batafa ku baana baabwe era wano Onyango yategeezezza nti abazadde nabo balina okufaayo ku baana baleme kukoma ku kubawa ssente za ssomero zokka.

Yagasseeko nti, balina okumanya emikwano abaana baabwe gye bakwana kubanga obukuumi bw’omwana butandikira ku muzadde.

Balina okubabuulira akabi akali mu kutaamiira okucakala ennyo, okunywa sigala, omwenge ne sisha eyawereddwa palamenti wamu n’okuganza abasajja abakulu oba abafumbo.

Laba obulamu bw’omuwala wa yunivasite mu Kampala !

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.