TOP

Ekivvulu kya KCCA kya October 4

By Musasi Wa

Added 7th August 2015

DAYIREKITA wa KCCA, Jennifer Musisi Ssemakula ayanjudde ensimbi ezaava mu kivvulu kya Kampala City Festival eky’omwaka oguwedde ng’awamu kyakola 806,200,000/-. Ku zino, ezaali mu mpeke zaali 262,823,923/-.

2015 8largeimg207 aug 2015 121417873 703x422

Bya DICKSON KULUMBA

DAYIREKITA wa KCCA, Jennifer Musisi Ssemakula ayanjudde ensimbi ezaava mu kivvulu kya Kampala City Festival eky’omwaka oguwedde ng’awamu kyakola 806,200,000/-. Ku zino, ezaali mu mpeke zaali 262,823,923/-.

Musisi yagambye nti, “Abaatunda ebintu eby’enjawulo twabaggyamu ensimbi 16,202,500/- ne tusaasaanya 583,055,930/- ne tubeera nga twasigazaawo 223,144,170/-.”

Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okutongoza ekivvulu ky’mwaka guno; Kampala City Festival 2015, ku City Hall mu Kampala eggulo ku Lwokuna n’ategeeza nti amagoba ga kukozesebwa okutumbula eby’enjigiriza mu KCCA.

Ekivvulu kino, eky’omulundi ogwokuna, kya kubeerawo nga October 4, 2015. Kizze kyeyongera amaanyi ng’omwaka oguwedde abantu 2,000,000 be baakyetabamu.

Omuyimbi Eddie Kenzo yasanyusizza abantu era bwe yasuddeemu Stamina n’ayita, Musisi bazine bombi ate oluvannyuma ab’ekibiina ky’amazina Amaganda aba Twekembe baataddemu ennyimba olwo akulira Vision Group, Robert Kabushenga ne battunka ne Musisi mu mazina nga beesibye ebisenso.

Kabushenga yagambye nti Visison Group (efulumya ne Bukedde) ng’abamu ku bawagidde ekivvulu kino, egenda kubunyisa amawulire ku kivvulu kino era n’asaba abanaakijjamu okweyisa obulungi.

Kampala City Festival 2015 kitegekeddwa wansi w’omulamwa gw’okukuuma obutonde bw’ensi mu kibuga n’okutaasa ekyeya ekigenda kimaamira ensi mu nkyukakyuka y’embeera y’obudde.

Musisi yategeezezza nti beetaaga obukadde 875 okutegeka ekivvulu omwaka guno. Kkampuni ez’enjawulo zikiwagidde okuli; Bell (obukadde 150), Total (obukadde 100), Airtel (obukadde 100), Mandela Group (obukadde 100) ne Coca Cola (obukadde 25).

Abalala kuliko; Mohammad Ssebuufu owa Pine (obukadde 40), Harunah Kiggundu, Hamis Kiggundu, Huawei,
Movit, Uganda Wildlife Authority, Imperial Group n’abalala.

BATADDEWO EBIRABO:

Ku mulundi guno abanaaleeta ebigaali ebiwundiddwa (floats) ba kuwangula ssente ng’anaasinga wa kuweebwa 3,000,000/-, 

owooku-biri 2,000,000/- ate owookusatu 1,000,000/-. Anaawunda Musisi ky’anaatambuliramu waakusasulwa 1,000,000

 

 

 

 

Ekivvulu kya KCCA kya October 4

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...