TOP

KCCA eragidde ebipande by’abeesimbyewo bitimbululwe

By Hannington Nkalubo

Added 5th January 2016

BANNABYABUFUZI abanene omuli abavuganya ku Bwapulezidenti, obukiise bwa Palamenti n’obwakkansala bali mu kattu

Lukwago 703x422

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago. Ekif: Benjamin Ssebaggala

BANNABYABUFUZI abanene omuli abavuganya ku Bwapulezidenti, obukiise bwa Palamenti n’obwakkansala bali mu kattu olw’ekitongole kya KCCA okulaalika nga bwe kigenda okutimbulula ebipande byabwe byonna mu kibuga ng’entabwe eva ku kugaana kubisasulira.

................................................................................

Abaluguddemu kuliko; Col. Dr. Kiiza Besigye, Dr. Abedi Bwanika, Venancius Baryamureeba, Doreen Faith Kyalya ne Joseph Mabiriizi, abavuganya ku Bwapulezidenti ssaako abeesimbye ku Bwameeya okuli Erias Lukwago, Daniel Kazibwe ‘Ragga Dee’ ne Issa Kikungwe.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju, yategeezezza abaamawulire eggulo nti baalagidde ekibinja ky’abaserikale baabwe batimbulule luguudo ku luguudo nga bayigga buli kipande kya munnabyafuzi atannakisasulira. Buli kipande kya 500/-.

Ku lukalala olwafulumiziddwa, Amama Mbabazi yekka ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ye yasasulira ebipande bye 7000 kyokka gye buvuddeko, Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi yategeeza nti ne Pulezidenti Museveni ebibye yabisasulira.

Abalala KCCA be yalagidde ebipande byabwe bitimbululwe kuliko, Moses Kasibante (Lubaga North) , John Ken Lukyamuzi ne Kato Lubwama (Lubaga South), Ssebuliba Mutumba (Kawempe South), Latif Ssebaggala ne Sulaiman Kidandala (Kawempe North) ne Kenneth Paul Kakande (Nakawa).

Abalala be baagala obwameeya bwa Munisipaali okuli; Joyce Ssebuggwawo (Lubaga), Paul Mugambe ne Ronald Balimwezo (Nakawa) ssaako Charles Musoke Sserunjogi ne Mohamed Kyambadde (Central).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda