TOP

MANIFESITO Y’ABANTU: Ab’e Lubaga balaze ensonga kwe basibidde

By Vivien Nakitende

Added 5th January 2016

Abakulembeze n’abaagala ebifo by’obukulembeze abasukka mu 40, baalaze entegeka gye balina okukola ku nsonga eziruma abantu ba Lubaga nga bayita mu pulogulaamu eno ewagirwa aba Uganda Youth Network (ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanirira okutumbula embeera z’abavubuka).

Ganda1 703x422

Abamu ku batuuze b’e Lubaga abeetabye mu lukuhhaana olwategekeddwa Bukedde ku Lwomukaaga mu ‘Manifesito y’Abantu’.

MANIFESTO y’Abantu mu Lubaga yetoolooledde ku mwala gw’e Nalukolongo oguvaako amazzi okwanjaala mu mayumba g’abantu, kasasiro alwawo okuyoolebwa, ebbula ly’emirimu n’obumenyi bw’amateeka obusuza abatuuze naddala ab’e Nakulabye ne Ndeeba ku bunkenke.

Ensonga endala abatuuze ze baagala abakulembeze bakoleko kuliko okutereeza eby’obujjanjabi omuli okwongera eddagala mu malwaliro n’okulondoola abasawo abalagajjavu ne banokolayo ab’eddwaaliro ly’e Mutundwe be baayogeddeko nti batuuka kikeerezi ate olumu ne bannyuka nga n’essaawa 11:00 ez’akawungeezi tezinnaweza.

Baagasseeko eby’enjigiriza ne bategeeza nti amasomero ga Bonnabasome matono nnyo mu Lubaga naddala mu Kasubi ekiwaliriza abazadde okutwala abaana baabwe mu masomero g’obwannannyini kyokka nago gaseera nnyo!

Mu pulogulaamu ya Manifesto y’Abantu etegekebwa emikutu gya Bukedde okuli TV, Leediyo, Olupapula ne yintaneti eyategekeddwa ku St. Elizabeth ku Kabakanjagala Road ku Lwomukaaga, abantu baalambise bye baagala abakulembeze babakolere omuli okutereeza obuyonjo mu butale, okukendeeza ssente za layisinsi n’empooza, okussaawo pulojekiti ku baana abawanduka mu masomero, ab akulembeze okulambulanga amasomero n’amalwaliro, okuyamba abasengulwa ku nguudo babategekere ebifo ebirala mwe bakolera, okulwanyisa obwavu n’okuzzaawo ebibiina by’obwegassi ebituukana n’omutindo.

 

ABAKULEMBEZE BALAZE BYE BATEGESE OKUKOLA

Abakulembeze n’abaagala ebifo by’obukulembeze abasukka mu 40, baalaze entegeka gye balina okukola ku nsonga eziruma abantu ba Lubaga nga bayita mu pulogulaamu eno ewagirwa aba Uganda Youth Network (ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanirira okutumbula embeera z’abavubuka).

Ku kifo kya Meeya wa Lubaga abeesimbyewo bonna musanvu baabaddewo era Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo (FDC) aliko kati n’alaga by’akozeeko omuli enguudo n’asuubiza okussa amaanyi ku mwala gw’e Nalukolongo.

Abalala okuli Wilson Kabugo (NRM), Andrew Sserubiri (DP), John Kikonyogo, Suleiman Ssendikwanawa, Henry Lubowa ne Peter Zzaake baawadde obweyamu okukola ku nsonga y’omwala gw’e Nalukolongo n’okukakasa nti bakendeeza ssente za layisinsi nga bayingidde mu ofiisi.

Bannabyabufuzi 13 abaagala ebifo bya Palamenti mu Lubaga North ne Lubaga South nabo baalaze we bagenda okussa amaanyi abalonzi ne bamanya buli omu w’ayimiridde ku nsonga enkulu ezibaluma.

 

Lubaga North:

Beti Kamya yagambye nti waakussa amaanyi ku ky’okwongera obungi bw’amasomero ga Bonnabasome mu kitundu, okulwanyisa omusolo ku masomero g’obwannannyini kikendeeze ku bisale by’amasomero n’okulwanirira Federo.

Moses Kasibante akiikirira ekitundu kino , yagambye nti amaanyi agenda kugateeka ku kulwanirira buyinza kudda mu mikono gy’abantu n’okukyusa etteeka lya Kampala liwe Loodi Meeya obuyinza.

Brian Tindyebwa (NRM) yagambye nti waakukolagana bulungi ne gavumenti kubanga ebiruma abantu ba Lubaga omuli obwavu n’ebbula ly’emirimu biri mu Manifesto ya NRM nga kye beetaaga ye mubaka asobola okukolagana ne gavumenti okubiggyayo abibatuuseeko.
Humphrey Mutebi yagambye nti wa kussa amaanyi ku misomo egy’omu mutwe.

Lubaga South:

Faridah Mayanja (NRM) yagambye nti amaanyi waakugateeka ku kukulaakulanya bantu ng’ayita mu pulojekiti z’abakyala, abavubuka ne bamufunampola; F.X Katabalwa (DP) yagambye nti waakukolagana n’abakulembeze abalala okukola omwala gw’e Nalukolongo ogukaabya abantu mu kitundu, ate Kato Lubwama n’agamba nti azze kulwanirira buyinza bwa bantu okwesalirawo ku nsonga ezibaluma n’okubeebuuzangako.

 

Abalala abaagala ebifo:

Abaagala ekifo ky’omubaka omukyala owa Kampala okuli Florence Nakiwala Kiyingi (DP) ne Asia Nabisere (NRM) nabo baayogedde eri abalonzi. Nabisere yagambye nti amaanyi waakugassa ku kussaawo pulojekiti ezigaggawaza abantu nga NAADS nga mu kifo ky’okugaba ebintu ebikalu, Bannakampala babawaamu ssente ne baziteeka mu mirimu gyabwe ssekinnoomu ate Nakiwala n’agamba nti waakussa amaanyi ku nteekateeka ezifunira abantu emirimu n’okutumbula eby’obujjanjabi n’eby’enjigiriza.

Jackson Boogere omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo yalabudde abazadde ku nkuza y’abaana n’obutabawa ddembe lisusse kubanga ky’ekivuddeko obubinja bw’abamenyi bw’amateeka okuli Kifeesi, Kasolo Boys n’obulala okumerukawo ate nga bulimu baana bato.

 

Bannabyabufuzi abasukka mu 25 abaagala ebifo by’Obwakkansala ku lukiiko lwa KCCA n’olukiiko lw’eggombolola nabo beetabye mu pulogulaamu eno eragibwa ku Bukedde TV 1 buli Lwakusatu okuva ku ssaawa 5:00 ez’ekiro okutuuka ku 6:00; n’eweerezebwa ku Bukedde FM buli Lwamukaaga okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuuka ku 2:00 ne mu lupapula lwa Bukedde owa buli Lwakubiri ne ku mukutu gwa yintaneti ogwa Bukedde.

Ku Lwokutaano tuli Kayunga ku ssaawa 6:00 ez’emisana ate ku Lwomukaaga tusooke e Mukono ku Satellite Beach ku ssaawa 4:00 ez’oku makya tuzzeeko Nakawa ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Duka1 220x290

Eyabbye omwana bamusanze ne bba...

OMUKAZI eyabbye bbebi wa munne ow’emyezi esatu n’amutwalira omulenzi gwe yalimba olubuto, Poliisi yamulinnye akagere...

Mote 220x290

Abayizi 30 aba S6 babagaanyi okukola...

ABAYIZI ba S6 eggulo baatandise okukola ebigezo ebibatwala mu yunivasite n’amatendekero aga waggulu amalala kyokka...

Yagayo 220x290

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa...

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya...

Wangi 220x290

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka...

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...