AMYUKA loodi meeya wa Kampala, Sulaiman Kidandala Sserwadda alangidde mukamaawe Ssaalongo Elias Lukwago effitina n’obutaagaliza balala nga ye yamulemesa ekifo ky’obumyuka oluvannyuma lwa bakansala okumukakasa n’agaana okuteeka omukono ku kiwandiiko ekimukakasa.
Kidandala avuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North mu palamenti ku tikiti ya DP, bwe yabadde mu lukuηηaana lwe yakubye mu Kisota zooni e Kikaaya ku Lwokutaano, yagambye nti omutima gw’obutaagaliza gwe gwavaako n’okugobwa mu ofi isi.
“Nze ng’omuteesiteesi wa DP mu ggwanga mbategeeza nti ekigendererwa kya Lukwago n’akakundi ke aka T.J kya kusaanyaawo DP kubanga buli kifo ekibiina we kisimbye omuntu nabo basimbyewo abaabwe nga batwogerera amafuukule,’’ Kidandala bwe yagambye.
Ate avuganya ku bwameeya bw’e Kawempe, Hajji Nasser Kibirige Takuba asuubizza okumaliriza ekizimbe ky’eggombolola kye yaleka atandise okuzimba afunireko n’abaami b’eggombolola ya Ssaabasajja ofi isi n’okuzimba ettendekero ly’ebyemikono okukendeeza ebbula ly’emirimu mu bavubuka.