TOP

Museveni asiimye Jennifer Musisi okuddukanya Kampala

By Kizito Musoke

Added 1st March 2016

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ategeezezza nti ekyamulonza Jennifer Musisi ku bwa Nnankulu bwe kibuga Kampala, yayagala kuwonya kibuga bukyafu, ebinnya mu nguudo n’ensowera.

Siima1 703x422

Pulezidenti Museveni (ku kkono). Ku ddyo ye Nnankulu wa KCCA eyasiimiddwa

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ategeezezza nti ekyamulonza Jennifer Musisi ku bwa Nnankulu bwe kibuga Kampala, yayagala kuwonya kibuga bukyafu, ebinnya mu nguudo n’ensowera.

Museveni bino yabyogedde asisinkanye abasuubuzi banneekoleragyange mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe ku Ssande akawungeezi.

Yagambye nti ebizibu bya Kampala, byali biremye gavumenti z'e bitundu okukolako mu bbanga ery’emyaka 25.

Yagambye nti wadde nga Muky. Musisi ayinza okuba alina ensobi mu kutuukiriza emirimu gye, kyokka akimanyi nti si muli wa nguzi, nga bwe kiri ku bakulembeze abazze bakulembera ekibuga.

Obuzibu bwa Kampala, yabutadde ku bakulembeze abaali mu kibuga, nga bano baalemwa okukitegeka obulungi ne kiviirako ebyobulamu okwonooneka era abantu ne balumbibwa endwadde z’obucaafu nga kkolera, kuba n’emyala gyali tegigogolwa.

“Mukubirize abakulembeze bammwe ab’ebyobufuzi okuyonja ekibuga, eggwanga lireme kufiirwa bamusigansimbi awamu n’abalambuzi abatayinza kujja mu mbeera y’okufuula Kampala eddwaaniro.”Museveni bwe yakubirizza.

Pulezidenti yagasseeko nti singa abakulembeze baali bakoze bulungi emirimu gyabwe, tewandibaddewo bwetaavu bwa kuleetawo Musisi.

Wano we yanenyerezza n’abantu b'e Kampala, okubeera nga balonda ba ludda luvuganya gavumenti, kyokka n’ategeeza nti wadde tebaamulonze ajja kulwanyisa ebikolwa by’obuli bw’enguzi mu Kampala.

Yagambye nti enteekateeka ya gavumenti okuva emabega ku butale ne lufula kwe kulaba nga bamufunampola batandikiramu okukola, oluvannyuma nga bafunye ssente ne bagenda mu bifo ebirala.

Yagambye nti ebintu gye byajja bitambula, abasuubuzi abatono abaludde mu butale baamala ne beefuula bannanyini butale.

Yasuubizza nti obutale obupya obuli mu kuzimbibwa bulina kuddukanyizibwa ku nkola y’okubeera nga tewali nnannyini, nga buli muntu ajja n’akoleramu okutuusa lwafuna ssente n’avaamu.

Yasuubizza okulaba nga mu mateeka bwe kiba kisobola okununula obutale obwatwalibwa kikolebwe.

Yawakanyizza enkola ya KCCA okubeera nga y’eddukanya obutale n’ategeeza nti abasuubuzi abakoleramu be balina okukikola, nga beerondera n’obukulembeze.

“Ebya KCCA okwefuga okuddukanya obutale, tebiriimu magezi, wabula omulimu gwa KCCA ne Town Council balina kutegekera basuubuzi abatandika okukola”. Pulezidenti bwe yagambye.

Yagasseeko nti yali tawagira kya muntu omu kufuna bwannannyini ku katale oba lufula, kuba kiyinza okuleetawo obukuubagano ne kireka bamufunampola nga tebalina mirimu.

Yagambye nti eno y’ensonga lwaki yawakanya ekya Basajjabalaba eyali ayagala okugula lufula efuuke yiye bw’omu. “Siyinza kweguza maka ga bwapulezidenti, olw’okuba nti nze ndi mu ntebe.

Bwe nvaawo pulezidenti omulala azzeewo, alina okubeera wano.” bwe yannyonnyodde. Bwe yabadde ayanukula abasuubuzi b’ebyuma ebisa obuwunga abaamutegeezezza nti ebisale by’amasanyalaze biri waggulu, yabagumizza nti ebbeeyi ejja kukka.

Yagambye nti ekimu ku kibadde kiviiriddeko emiwendo okupaaluuka kwe kubeera ng’aba kkampuni ye bbibiro lye Bujagaali baali bakozesezza ssente eneewole okuva mu bbanka nga ziriko amagoba mangi.

Yayatudde ekyama nga gavumenti bw’eri mu kaweefube w’okulaba ng’egula ebbibiro ly’e Bujagaali, olwo Gavumenti ebeere ng’esobola okulyeddukanyiza kikendeeze emiwendo gy’ebisale.

Yasuubizza nti mu kiseera ekitali ky’ewala, eddagala ly’emiwendo gy’amasannyalaze egiri waggulu lijja kuba lifunise.

Museveni yategeezezza nti gavumenti ejja kugenda mu maaso n’okuyamba abantu abeetegese okukolera awamu emirimu.

Kino waakukikola nga bwe yakola ku bavubuka be Najjeera be yagulira ekyuma ekiweta n’okwokya ebyuma.

Bano yabawa obukadde 400, era ng’ebibiina by’abavubuka 25 bikozesa ebyuma bye bimu Omukulembeze w’eggwanga, yategeezezza nga bwe yaleeta Abasiisita okuva e Kalongo mu Acholi, nga mu kiseera kino babeera Namugongo gye bayigiririza abawala okuluka n’okutunga.

Yalabudde nga bwe watali muntu ayinza kusuula gavumenti ng’ayita mu kwekalakaasa, n’ategeeza nti abantu babeere bagumu kuba kino tekijja kubeerawo ng’ali mu ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa