TOP

Okwegatta ekirindi kuzinzeeko Kampala!

By Moses Lemisa

Added 27th April 2016

“Nze lumu mba ndi bbaala emu ku Lubaga Road ne ndaba abasajja bana nga basimbidde omukazi omu layini ono bw’avaayo ono bw’addayo."

Kirindib 703x422

Ono baamukwatira mu loogi n’abavubuka basatu naye bo ne badduka.

 

BWE bakunyumiza obugwenyufu obwongedde okusaasaanira Kampala n’emiriraano tolemwa kukwata ku ttama olw’ebikolwa bya sodoma ne gomola bye tusoma mu bayibuli!

Bannakampala banaabye ensonyi ku maaso nga kati omuze gw’okwesa empiki ekirindi bbo kye bayita akajegere n’abakazi okusimbya abasajja be banyumya nabo akaboozi ennyiriri gusaasaana nga luyiira.

Embeera eno ewalirizza abakulembeze mu bitundu okuli Bwaise, Kaleerwe, Makindye, Kisenyi, Nakulabye, Nateete , Lubaga n’awalala okuggula olutalo ku baseegu bano olw’engeri omuze guno gye gutandise n’okuyingira amasomero n’amatendekero naddala mu bisulo by’abayizi.

 

 Nambooze ne Namutebi  baakwatibwa basula ne Kayemba (mu katono) nga basula ku kitanda kimu mu loogi.

ABAMU BAKAKIBWA

Omusajja aperereza omuwala n’amutwala mu kazigo okunyuma akaboozi naye gye biggwera ng’abasajja abasukka mu basatu bamukozesezza.

Ebiseera ebimu abawala bano bagenda ku poliisi ne baloopa ate abalala olw’okutya okuswala ne bakigumira wabula abamu bafunirayo endwadde z’ekikaba, siriimu ssaako embuto ze bateeyagalidde.

Yadde nga waliwo abawala abakozesebwa ekirindi nga tebeeyagalidde ate waliwo ebibinja by’abawala ebyagufuula omulimu okukozesebwa abasajja abasukka mu bana ne babawa ssente.

Abawala abasinga bazinnyi ba kaliyoki era basinga Bwaise, Makindye, Nakulabye , Nateete, Kawempe ku Ttaano n'awalaal.

Tom Ssekandi ow’e Kawempe ku Ttaano yategeezezza nti abawala abasinga abakola ebimansulo babakozesa kajegere nga beeyagalidde.

Yagasseeko nti ensonyi baaziteeka ku bbali era ebiseera ebisinga akaboozi bakanyumiza ku siteegi n’abasajja abagwenyufu naye nga bamala kukkaanya ku muwendo gwa ssente.

“Nze nali mmanyi bannimba naye lumu nagendako ku bbaala emu e Kyebando nga bw’oba oyingira bamala kukukebera oba tolina kkamera naye kye nalaba kyamala okukakasa nti baanabawala balina ennaku!

Baggyamu engoye zonna ne basigala bute olwo abasajja abamaddu ne babalumba siteegi ne bakkaanya ssente ne batandika okunyuma akaboozi mu lujjudde. Omusajja omu bw’amaliriza ng’omulala ayingirawo,” Ssekandi bwe yategeezezza.

 u kkono yomu ku bawala be baakozesa ekirindi nga yeesiimidde  Omu ku bawala be baakozesa ekirindi nga yeesiimidde.

 

Poliisi mu bikwekweto by'ezze ekola, yagudde ku bimu ku bibinja bino mu bitundu bya Kisenyi n'ebaako beekwata kyokka abakulembeze b'ekitundu baategeezezza nti poliisi yagenze okugwa ku bano nga ekiwundu kyasamba dda eddagala!

Francis Lugo atuula ku kakiiko k'ebyokwerinda mu muluka gwa Kisenyi II yannyonnyodde abantu bano enkola gye bakolamu;

Waliwo abavubuka oba abasajja abamu ng'amaanyi agafunira ku munne ng'alina kumala kuwulira ng'atandise okwesa empiki olwo naye n’awaga.

Gye buvuddeko poliisi y’oku Kaleerwe yakwata Sulaiman Kayemba 30 n’abawala ababiri okwali Christine Nambooze 18 ne Sumayiya Namutebi 19 nga kigambibwa yali yapangisa omuzigo gwa loogi esangibwa mu Dobi Zooni ku Kaleerwe ng’abakozesa kajegere.

Abawala bano Kayemba yali asula nabo ku kitanda kimu era omu kyazuulibwa nga yali amaze okumufunyisa olubuto.

Bannanyini loogi okutegeera nti Kayemba yali asula n’abawala babiri yamala kubba bulangiti za loogi bwe baamukwata ne bamutwala ku poliisi ne bakizuula nti yali asula nabo ku kitanda kim.

Kyokka Nambooze yategeezezza nti Kayemba yamusanga mu kkubo n’amusaba amufunire omulimu. Agamba nti yamutwala awaka ye w’atategeererawo nti yali loogi. Kayemba yaggulwako omusango ku fayiro nnamba SD REF:12/16/03/2016.

 ino kye kitanda kye baali basulako mu loogi emu ku aleerwe Kino kye kitanda kye baali basulako mu loogi emu ku Kaleerwe. 

Ate Daniel Karangwa akulira ebyokwerinda mu Muzaana zooni mu muluka gwa Kisenyi I yategeezezza nti; Kya buswavu eri abasajja n’abakazi abakola ebintu ebyo kubanga tosobola kuddira kasenge kamu n’okassaamu emigogo esatu oba ena ne gitandika okunyumya akaboozi.

“Nze lumu mba ndi bbaala emu ku Lubaga Road ne ndaba abasajja bana nga basimbidde omukazi omu layini ono bw’avaayo ono bw’addayo. Nze ng’omukulembeze kino nalabira ddala nga kigenda kusaasaanya endwadde mu bantu kubanga omuntu atanaabye nako gwe n’oddayo n’omulala bwatyo n’omulala.

Twakwataganye ne poliisi okulwanyisa ebikolwa bino. Nkubira gavumenti omulanga na bulimu muntu yenna akwatibwako batuyambe ku mbeera eno kubanga tugenda kufa endwadde n’okwonoona abaana abato.

Ate Ssande Nkoyoyo Ssentebe wa Kakajjo Zooni mu muluka gwa Kisenyi II yagambye nti abantu bakulu balina eddembe ly’okukola kye baagala nti kyokka bwe kituuka ku ky’okunyumya akaboozi mu kirindi baba basusse ku ddembe lye balina era babeera balityobodde.

“Ffe tubeera mu Ghetto era muno mwe musibuka ebintu ebyo naye ffe ng’abakulembeze abantu baffe batunyooma kye nva nsaba gavumenti eyanguyeeko okulondesa abakulembeze ba LC tulwanyise omuze guno” Nkoyooyo bwe yategeezezza.

OMU KU BAWALA ABAALI BAFUNYE OBUZIBU BUNO ANNYONNYODDE

Mu November 2015, omuvubuka gwe mmanyiiko erya Mukiibi abeera Bwaise yankwana okumala omwezi mulamba ne nsooka ηηaana naye oluvannyuma nakkiriza.

Mu December nga 12 yantwala mu muzigo gwe e Bwaise ne tunyumya akaboozi kuba nali mmaze okuzuula nti kirabika anjagala.

Mu nju waaliwo abavubuka abalala babiri nga beekwese mu kitanda naye saakimanyirawo. Olwamalirizza n’aηηamba nti kaagende ku dduuka agule sooda n’ansaba nzigalewo ekinnyolo munda.

Bwe nadda ku buliri abavubuka ababiri baava wansi w’ekitanda omu n’asooka ankonzesa ng’omulala ankutte emimwa ono olwamala ne munne nanzikakkanako. Wadde nga baali bambadde kondomu naye kyampisa bubi nnyo.

Bwe baamala baggulawo ne badduka olw’okuba bwali kiro sirina gwe nneetegereza. Nali sisobola kutambula era waayita eddaakika 20 Mukiibi n’akomawo n’ebyokulya nga yeefudde atalina ky’amanyi ku kituuseewo.

Bwe namubuulira nti waliwo abavubuka abavudde wansi w’ekitanda yaηηamba nti kirabika mizimu kuba talina mikwano gye.

Namugamba antwale mu ddwaaliro n’agaana nneekakaba ne nfuluma ne nfuna bodaboda ne ηηenda mu ddwaaliro.

Nagenda ku poliisi y’e Kawempe abasirikale be nasangawo ne bansekerera ne baηηamba nti kasita nsigadde ndi mulamu ηηende nejjanjabe kuba abavubuka abo si bangu kukwata kubanga tebakikoze ku nze nzeka , nagenda okuddayo ku kazigo kano nasanga omuzigo mukalu, okukuba ku ssimu ya Mukiibi nga teriiko n’okutuusa kati.

Oluvannyuma nakola okunoonyereza ne nkizuula ng’abavubuka bano bangi mu Kampala abakozesa abawala ekirindi .

 

OBUKODYO OBULALA ABASAJJA BWE BAKOZESA

Abavubuka abakola obuseegu buno bafuna nnyo abawala abanoonya emirimu ne beefuula abagenda okugibafunira era babasuubiza okubafuula bamaneja b’ebbaala oba omulimu omulala gwonna, omuvubuka omu olumala okukozesa omuwala ng'amugamba nti waliyo maneja ow'oku ntikko naye alina okusooka okwogera naye. Omuwala agenda okukizuula nti teri mulimu nga bamukozesezza mukaaga!

Mu Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Kyebando, Makerere III, Wandegeya waliyo ebibinja by'abavubuka abeefuula abanoonya abawala abamodolinga nga bano balina obusenge gye babatwala okubagezesa ng'eno babeeyambuza engoye zonna okulaba mbu ffiga zaabwe, gye biggweera nga babakozesezza.

Akakodyo akalala abasajja mwe bayita okukozesa abawala ekirindi waliwo abatendeka amazina ag'okwefukula, olwo bagenda okutuuka ku mutindo nga bakozeseddwa abatendesi abawerako.

 amalaaya nga beerenze ku luguudo  Bamalaaya nga beerenze ku luguudo.

OMUZE GUNO GYE GUVUDDE;

Abakulembeze baategeezezza nti bino bisinga mu Kisenyi nti kyokka kino kivudde ku kintabuli ky’amawanga agali mu kitundu kino.

Francis Lugo yategeezezza nti mu kusooka ekisenyi kyali kimanyiddwa okubeeramu Abaziba abaavanga mu Tanzania n’Abasomaali mpozzi n’Abacongo nti kyokka amawanga bwe gagenze gawera mu kitundu, buli ggwanga lijja n’ebyalyo ne bayigiriza n’abalala.

Nkoyooyo yategeezezza nti obuzibu bwonna buvudde ku nkozesa embi ey’amasimu omuli WhatsApp, Facebook, Twitter, ne TV kwe balabira obutambi bw’obuseegu ng’ate abazadde tebasobola kuziyiza baana kulaba bintu nga bino nga n’olumu bebbirira mu matumbi budde ne babiraba.

OBUZIBU OBUKIRIMU;

Lugo agamba nti, mu Kisenyi akawuka akaleeta siriimu keegiriisa nti kyokka kavudde ku bikolwa nga bino.

Agattako nti abaana abamu okunyumya akaboozi mu kirindi baakitandika bakyali bato ekibaleetera endwadde okwongera okusaasaana.

Yagambye nti kino kiremesezza bangi okufuna ezzadde bwe babeera batuuse okulyetaaga n’abavubuka olw’okuba baamanyiira okugula obuguzi abakazi ate ng’asobola okubafuna mu bungi w’abeera abeetaagidde, bangi beesanze nga kizibu nnyo okufuna obuvunaanyizibwa n’amaka agateredde.

Yagambye nti ekisinga okukwasa ennaku, abamu ku bakazi abanyumya akaboozi n’abasajja mu kirindi bafumbo ng’abamu baleka bannaabwe awaka ne babategeeza nga bwe bagenze okukola. Abamu amaka gafudde nga bamaze n’okusiiga babbaabwe akawuka.

LC TEZIFUDDEEYO;

Guno gwandibadde mulimu gw’abakulembeze ba LC okuziyiza ebikolwa eby’engeri eno kyokka tebasobodde kugulwanyisa nga bagamba nti tebalina buyinza. Karangwa yategeezezza nti baali bakola ebikwekweto ku bantu bano nti kyokka bwe babatwala ku poliisi, yabalyangamu ssente n’ebata nga kati balya butaala.

“Abantu be wakutte n’obatwala ku poliisi ng’obalinako n’obujulizi obeera oli awo nga tewannayita na ssaawa emu nga bakuyitako bakusekerera, naffe ne tulaba nga kirabika tumala budde,”Karangwa bwe yategeezezza.

EKITEEKEDDWA OKUKOLEBWA OKULWANYISA OMUZE GUNO;

Lugo agamba nti gavumenti n’abakulembeze balina okuvaayo basomese abantu okuviira ddala ku baana b’amasomero kubanga kino tekiri mu bantu ba Kisenyi bokka wabula kiri ne mu bayizi b’amasomero.

Yagambye nti ku ssaawa eno tewali nkola ntuufu kulwanyisa muze guno kubanga ne bw’okola ebikwekweto n’obakwata kizibu okukakasa nti babadde beerigomba mu kirindi.

Obeera olina okutwala abajulizi ate nga be wanditutte ng’abajulizi bonna babadde mu kikolwa.

Nkoyooyo yagambye nti nabo baaliko abavubuka naye ekintu ekyabakuuma nga ba mpisa byabuwangwa era wano we yasinzidde n’asaba abavubuka okukuuma empisa ey’obuwangwa nga y’engeri yokka gye bayinza okwetangira emize nga gino.

POLIISI EBADDE ERINDA TTEEKA;

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abantu abeenyigira mu kunyumya akaboozi mu kirindi, abazina ekimansulo ne bamalaaya bulijjo babawa obuzibu okubafunako obujulizi obubalumika mu kkooti olw’etteeka eribadde libulamu.

Yagambye nti wiiki ewedde, Minisita w’ebyamawulire, Jim Muhwezi yatongozza akakiiko akagenda okuyamba mu kuteeka etteeka erikugira obuseegu n’agamba nti basanyufu nga poliisi olw’akakiiko kano.

Onyango yagambye nti omuntu akwatibwa ng’anyumya akaboozi mu kirindi, azina ekimansulo, eyeetunda, alaga obwereere bwe mu lujjudde, alaba obuseegu, atunda obutambi bw’obuseegu, awuliriza amaloboozi g’obuseegu n’engeri yonna ekwatagana n’obwereere bw’omuntu bamuvunaana mu kawayiro nnamba 13 ak’etteeka erikugira obuseegu erya 2014.

Yagambye nti omuntu yenna asingisibwa omusango mu kkooti, aweebwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 10 oba okusasula engassi ya bukadde 10.

Yagasseeko nti akakiiko okuva lwe kaatongozeddwa bagenda kwongera amaanyi mu bikwekweto n’okusomesa abantu ku bibi ebiri mu bikolwa ebifanaanako bityo n’okubataputira etteeka lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”