TOP

Aba Owino bagaanye KCCA okubalongooseza akatale

By Moses Kigongo

Added 10th May 2016

Kino kidiridde okusaba okwakolebwa KCCA gye buvudeko ng’eyagala kufunira abasuubuzi abegattira ku kampuni ya SLOA kampuni gye banakwatagana nayo bagisasulenga okusobola okubayonjezanga akatale.

Owino1 703x422

Abasuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe akayitibwanga Owino

 

ABASUUBUZI mu katale ka St.Balikudembe bongede amanyi mu  kuyonja akatale kabwe oluvanyuma lwokugoba okusaba kw’e kitongole kya KCCA okubayonjeza akatale.

Kino kidiridde okusaba okwakolebwa KCCA gye buvudeko ng’eyagala kufunira abasuubuzi abegattira ku kampuni ya SLOA kampuni gye banakwatagana nayo bagisasulenga okusobola okubayonjezanga akatale.

Wabula oluvanyuma olw’enkiiko ez’enjawulo ezatuuzidwa mu biyumba okwebuuza ku basuubuuzi ku nsonga eno bakkaanyiza ne bagogoba okusaba kwa KCCA nga bagamba nti beekengede ekigendererwa kyayo mu ku bayonjeza akatale.

 “Wadde nga twagulawo enkolagana ne KCCA gye buvudeko naddala ku kusolooza omusolo ku maduuka ng’abasuubuzi ssekinoomu agali mu katale kaffe,wabula  twekengede  ebigendererwa byayo ebiri emabega w’okutufunira kampuni gye tunasasulanga okusobola okutuyongyeza akatale kubanga okuviira dala emabega tubade tukeroongoseza awatali kulemererwa”,bwatyo  Francis Ssentubwe omu ku bakulembeze ba zooni ya Produce bwe yategeezeza.

 Yawagiddwa Ronald Kamya eyakatirizza nti bazze berongooseza emidaala gyabwe wamu n’ebifo ebibaliranye kubanga bakimanyi bulungi nti obuyonjo tebwetaaga kulinda muntu mulala kulongozesa wabula  buvunanyizibwa obukakata ku buli musuubuzi  awatali kwekwasa.  

Abasuubuzi era bayongedde amannyi mu nkola y’okulongoosa nga akatale kaabwe buli Lwakusatu eyawamu gye babade batandika okuviira dala emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....