TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Akawumbi Museveni ke yawa aba Park Yard kabalakidde!

Akawumbi Museveni ke yawa aba Park Yard kabalakidde!

By Hannington Nkalubo

Added 24th May 2016

AKAWUMBI ka ssente Pulezidenti Museveni ke yawa aba Park Yard ng'omuliro gusaanyizzaawo akatale kaabwe kabalakidde kkooti bw'ebalagidde buli eyakeewolako asasule nga tebannatandika kuyigibwa.

Yaadi1 703x422

Abamu ku basuubuzi nga bakakkalabye egyaabwe ku katale ka Park Yard mu Kampala. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

AKAWUMBI ka ssente Pulezidenti Museveni ke yawa aba Park Yard ng'omuliro gusaanyizzaawo akatale kaabwe kabalakidde kkooti bw'ebalagidde buli eyakeewolako asasule nga tebannatandika kuyigibwa.

Omusango gwamezze aba Park Yard ne babalagira buli omu asasule ssente .

Gwawawaabirwa ekibiina kya Micro Finance Support Centre, Gavumenti mwe yayisa ssente ezaabasuubizibwa Pulezidenti Museveni.

Omusango ogumaze emyaka esatu nga guwulirwa gwasaliddwa nga 05/ May/ 2016 omulamuzi David Wangutsi n’agusingisa abasuubuzi.

Yabalagidde nti ssente ezaabaweebwa lyali bbanja wadde temwalimu magoba kubanga baayambibwa oluvannyuma lw’emmaali yaabwe okukwata omuliro.

Pulezidenti yawa aba Park Yard akawumbi mu mwaka gwa 2009 naye n'okutuusa kati babadde tebasasulanga.

Bino olugudde mu matu g'abasuubuzi ne basattira n’okutya nti bayinza okufiirwa emmaali yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...