TOP

KAPEKE: Zooni y’e Makindye ewuniikiriza !

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2016

Kapeke abakulembeze balinga kye beerabira kuba buli mbeera mbi mw’ogisanga.

Kapeke1 703x422

Abamu ku batuuze abakeera okufuuwa mmindi nga batandise ogwabwe.

Bya RONALD MUBIRU

OKUTUUKA mu Kapeke Zooni otambula kiromiita bbiri zokka okuva mu kibuga ekikulu Kampala naye by’osangayo weewuunya oba ddala zooni eno eri mu Kampala.

Zooni eno esangibwa mu muluka gwa Kibuye 1 Makindye West ekiikirirwa omubaka omuggya, Allan Ssewanyana mu palamenti.

Bw’otuuka mu kitundu kino ekivundu ekiva mu kazambi kye kikwaniriza n’obuyumba obukutte mu mbinabina.

Mu kitundu kino abatuuze abamu beeyambira mu buveera, kazambi ne bamusuula mu myala oba okumukuηηaanyiza ku kifugi ky’ennyumba olw’obutabeera na kaabuyonjo zimala ate nga n’ezo eziriyo za kalina, olwo abaana abato ne basanga obuzibu okuzigendamu.

 aabuyonjo ya sentebe wa apeke ooni eya kalina Kaabuyonjo ya Ssentebe wa Kapeke Zooni eya kalina.

 

 alia aliwango ngalaga kasasiro abatuuze gwe baasalawo okukuaanyiza mu luggya lwe oluvannyuma lwa  okugaana okumuyoola Jalia Galiwango ng’alaga kasasiro abatuuze gwe baasalawo okukuηηaanyiza mu luggya lwe oluvannyuma lwa KCCA okugaana okumuyoola.

 

Mu kitundu kino abamu ku batuuze bakeera kufuuwa mmindi basobole okufuna emikisa.

Ekitundu kino abakulembeze balinga kye beerabira kuba buli mbeera mbi mw’ogisanga.

Abaana omuli n’amabujje bakeera kutaayaaya ku kyalo, abamu basiiba mu bibanda bya fi rimu gye balabira fi rimu z’obuseegu.

Mu kitundu kino era mulimu ebyuma bya zzaala, nga kino kireetera abaana okubba ssente ku bakadde baabwe ate ng’abalala bazadde baabwe be bazibawa ate n’abamu bakeera kukuba matatu.

 azambi abatuuze gwe bayiwa mu myala Kazambi abatuuze gwe bayiwa mu myala.

 

kimu ku binaabiro ebisangibwa mu zooni eno Ekimu ku binaabiro ebisangibwa mu zooni eno.

 

Kapeke Zooni y’emu ku zooni 12 ezikola omuluka gwa Kibuye 1. Yeetooloddwa Zooni endala okuli, Nsuwa, Nkere, Nabisalu, St. Bendicto, Wasswa, Kanakulya, Wanyana ne Barracks Zooni.

Zooni eno esulamu abantu abasoba mu 25,000 kyokka kaabuyonjo ezirimu ozibalira ku ngalo.

Amaka 10 gagabana kaabuyonjo emu era zino zassibwako emidumu, nga kazambi akukulukutira mu myala.

Kaabuyonjo zino ziri mu mbeera mbi era endwadde eziva ku bucaafu zeeriisa nkuuli ate ng’abalina obusobozi okufuna obujjanjabi nabo obabalira ku ngalo.

nnyumba eyebiwempe abantu abasukka mu kkumi omuli nabo abafuuwa emmindi mwe basula mu apeke zooni e akindye Ennyumba ey’ebiwempe abantu abasukka mu kkumi omuli n’abo abafuuwa emmindi mwe basula mu Kapeke zooni e Makindye.

 

 Abatuuze nga beebase mu muzigo ogwo waggulu

Okufuna ekkubo w’oyita okutuuka ewa munno kizibu kubanga olina kubuuka mwala oba okutambulira ku kabalaza ka munno, olw’omugotteko gw’amayumba.

Amayumba agamu gazimbisibwa na mmuli n’ettaka ate agamu ga biwempe, era nga gano oli w’asanga akataka ng’azimba nju nga yeebaka.

Eno ennyumba etandikirwako ya 40,000/- ng’eno ya mmuli ate nga temuli masannyalaze.

Ennyumba erina amasannyalaze eri wakati wa 70,000/- ne 100,000/- omuzigo gumu. Muno muba musulamu abantu abasoba mu 10 ate nga temuli bitanda basula ku ttaka.

Waliwo ennyumba eri mu kitundu kino eyazimbibwa n’ebiwempe esuza abakazi n’abasajja nga bano obudde obw’emisana basiiba bafuuweeta mmindi.

 

Ekitundu kino kirina oluzzi lumu olw’omudumu ate nga nalwo lujjudde obucaafu. Luno terulina myala gitwala mazzi era abaana balinnya mu mazzi amacaafu nga bagasena.

Abatuuze bagamba nti tebajjukira lwe baasemba kulaba bimotoka bya KCCA nga biyoola ebisaaniiko era baasalawo omugugu okugitikka Ssentebe waabwe, Jalia Galiwango bwe basalawo ebisaniiko okubikuηηaanyiza mu luggya lwe.

Abatuuze baategeezezza nti ng’oggyeko emyala ne kazambi balina ekizibu ky’ebiku ebibasuza nga tebeebase n’ensiri ezizaalira mu myala.

Bayongeddeko nti abaana baabwe basiiba bagwa mu myala, endwadde zaabafuukira ekizibu kyokka nga mu kitundu temuli malwaliro ga kumpi we bayinza kuddukira.

Abatunda n’okusiika ebyokulya babisiikira ku myala kwe bassa ebibaawo kwe batuuza essigiri ate olumala ebisaaniiko ne babisuula mu myala olwo ensowera ne ziryoka zibembera ku mandaazi ne capati.

Abatuuze abamu balunzi era engeri abatuuze gye batalina ttaka ddene ebisolo olina kubirundira mu luggya lwo.

 

Jalia Galiwango, Ssentebe wa Kapeke Zooni agamba nti embeera eno bagimazeemu emyaka egisoba mu 20 era talina ofiisi gy’atatuuseemu ng’asaba obuyambi wabula n’okutuusa kati tewali kyali kikoleddwa.

Agamba nti abatuuze baasalawo okukuηηaanyiza kasasiro mu luggya lwe nga bw’awerawo amukumako omuliro, wabula kati entuumu etuuse okumulemerera kuba abantu abamu baleeteramu obuveera mwe batadde empitambi ekintu ekitadde obulamu bwe mu katyabaga.

Ayongerako nti egimu ku misango gy’asinga okufuna gya kuwemula, obubbi, okukaayanira abasajja, okunywa enjaga era ng’olunaku afuna emisango egisoba mu 10.

Kamiyati Namayanja yaakakwatibwa poliisi mu bikwekweto byayo emirundi egisoba mu esatu nga kiteeberezebwa nti ono y’asuza abamenyi b’amateeka.

Abaana bano abafumbira ekyemisana n’okubasuza olwo bo ne basigaza obuvunaanyizibwa bw’okumuleetera ebibbe. Kamiyati mu kwewozaako yategeezezza nti kituufu akozesa abaana bano wabula ye yabatuma kumuleetera byuma bikadde wabula tabalagirangako kumenya mayumba g’abatuuze.

 

Galiwango ayongerako nti beekubidde enduulu emirundi mingi mi kitongole kya KCCA bayambibwe ku nsonga z’akasasiro ne kaabuyonjo wabula tebafunanga kuyambibwa kwonna.

Ate Godfrey Mayinja, ssentebe wa Nsuwa Zooni era nga y’akulira ebyokwerinda mu ofiisi ya RCC e Makindye agamba nti Kapeke Zooni y’esibuka buli muze era nga bisinga kwenyigiramu baana abali wakati w’emyaka 7-18.

Eno ku 2000/- osobola okulya essowaani y’emmere. Chapati zo ziri wakati wa 500/ ne 1000/-. Allan Ssewanyana omubaka w’ekitundu kino mu palamenti yategezezza nga bw’agenda okuzimbira abantu bano kaabuyonjo n’okubawa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...

Kasubibwafanana2 220x290

'Abaganda temuggwaamu ssuubi, omulimu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Abaganda obutaggwaamu ssuubi, omulimu gw’okumaliriza Muzibwazaalampanga mu...

Nalwoga2 220x290

Bbebi w'omwaka 1 agudde mu kinnya...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Lweza A, omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu bw’asangiddwa ng’afiiridde mu kinnya...

Sheikhnuhumuzaatangabuulira 220x290

Muzaata alumirizza abakulembeze...

Muzaata yakuutidde Abasiraamu okwewala abantu abaagala okubeeyambisa okuggusa ebyabwe era bakomye n’emize egy’okwekutulamu...