TOP

Abeebibiina balumbye Kamya ne Nakiwala

By Benjamin Ssebaggala

Added 8th June 2016

EBIBIINA ebivuganya Gavumenti birumbye bammemba baabyo abaaweereddwa ebifo mu kabinenti empya nti baluvu.

Ssebo 703x422

Nakiwala ne Kamya

EBIBIINA ebivuganya Gavumenti birumbye bammemba baabyo abaaweereddwa ebifo mu kabinenti empya nti baluvu.

Ssaabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi yagambye nti: Pulezidenti Museveni yalonze kabinenti y’abakoowu ate abalala banoonya kyakulya.

Basabye Beti Kamya alekulire Frank Matovu omumyuka wa Pulezidenti wa UFA: Tugenda kutuuza olukiiko ng’abakulembeze b’ekibiina tusalewo ekiddako.

Beti Kamya yagenze yekka ng’omuntu teyatutte kibiina. Wabula Kamya alaze nga bw’asuddewo ekibiina.

DP egugumbudde Nakiwala Ekibiina kya DP kyafulumizza ekiwandiiko ne bategeeza nti Nakiwala Kiyingi (ku ddyo) okuweebwa obwaminisita takiikirira kibiina kya DP mu gavumenti wabula yagenzeeyo ng’omuntu.

Bba Deogratius Kiyingi y’omu ku bakulembeze mu DP. Pulezidenti wa DP Nobert Mao yategeezezza nti olugambo olubadde lubungeesebwa nti Gavumenti yasaba Eklezia amannya g’abantu be baagala okufuuka Baminisita ne bakwatagana ne DP ne bawaayo Nakiwala nti bifu.

Yagambye nti oyo yenna asazeewo okuweerereza mu Gavumenti ebiddako ebimutuukako bibeera bibye ng’omuntu.

Nakiwala ayogedde Yagambye nti obuweereza bwa Gavumenti bwawukana n’obw’ekibiina era bangi abaweerereza mu gavumenti eno naye nga ba DP.

Ab’oludda oluvuganya Gavumenti nga bali mu Palamenti, Bameeya ne Bakansala bonna bakolera wansi wa Gavumenti.

Okugamba nti ndidde mu ludda oluvuganya gavumenti olukwe kubeera kuggya bantu ku mulamwa kubanga ffenna tukolera ggwanga.

Yategeezezza nti ekifo kye bamuwadde ekya Minisita w’abavubuka n’abaana kya buweereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...