TOP

Loodi Meeya alonze Nakuya owa NRM okuba omuyambi we

By Hannington Nkalubo

Added 15th June 2016

LOODI Meeya Erias Lukwago alonze owa NRM era eyali kansala mu lukiiko lwe Idah Nakuya abeere omuyambi we era akulire eby’emirimu mu ofiisi yonna.

Kwago 703x422

Loodi Meeya Erias Lukwago

LOODI Meeya Erias Lukwago alonze owa NRM era eyali kansala mu lukiiko lwe Idah Nakuya abeere omuyambi we era akulire eby’emirimu mu ofi isi yonna.

Agenda kumyukibwa, Deo Mbabazi alondeddwa okukola ku nsonga z’ebyobufuzi.

Lukwago okulonda Nakuya yamukolera nnyo ku lutalo lwe yaliko ng’agobwa mu Palamenti bwe yalemera ku ludda lwe ate nga wa NRM.

Katikkiro Peter Mayiga bwe yali asolooza ettofaali ku City Hall, Nakuya yayimirira n’amutegeeza nti Loodi Meeya bamuggalidde wabweru era ayambe okukkakkanya embeera enzibu ku City Hall.

Yeesimbawo mu kifo ky’omubaka omukazi ow’e Kampala ne Shifrah Lukwago, Florence Nakiwala Kiyingi owa DP bonna Nabirah Naggayi Ssempala n’abawangula.

Yatandise okukola era yaweereddwa ofi isi eyeetongodde. Nakuya yasangiddwa ng’abaga ebbaluwa eziyita bakansala n’ababaka ba Palamenti mu lukiiko olugenda okutuula ku Lwokuna ku City Hall, yategeezezza nga bw’agenda okuweereza Bannakampala nga tafudde ku kibiina.

Deo Mbabazi yagambye nti buli omu alina emirimu gy’agenda okukola okusobozesa ofi isi ya Loodi Meeya okutambula obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...