TOP

Katanga alimu kaabuyonjo 6 zokka !

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2016

EMBEERA y’obuyonjo mu Katanga e Wandegeya yeeyongera kusajjuka buli olukya olw’emidumu gya kazambi egyabika buli kiseera.

Katanga1 703x422

Kansala w’e Wandegeya Ssaalongo Badru Lubwama bwe yabadde atongoza kampeyini y’okugogola emyala mu Kimwanyi zooni mu Katanga e Wandegeya gye buvuddeko. Wano ng’agogola ogumu ku myala oguli ku nju.

EMBEERA y’obuyonjo mu Katanga e Wandegeya yeeyongera kusajjuka buli olukya olw’emidumu gya kazambi egyabika buli kiseera.

Empitambi ekulukutira mu batuuze, emyala egizibikira olwa kasasiro asuulibwamu, kaabuyonjo ez’olukale tezimala ekivuddeko abatuuze okweyamba mu buveera, ne kiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.

Akatundu akayitibwa Katanga kasangibwa mu muluka gw'e Wandegeya mu kikko ekyawula eddwaaliro ly'e Mulago n'oluguudo lwa Nkinzi nga kalimu zooni ssatu okuli; Soweto, Kimwanyi ne Busia. Kalimu abantu abakunukkiriza mu 20,000.

Sarah Nsangi, amyuka ssentebe wa Kimwanyi Zooni agamba nti okusomoozebwa kwe basanga ye kasasiro alwawo okutwalibwa ebimotoka bya KCCA olwo abatuuze ne bamuyiwa mu myala ne gizibikira, amazzi ne gatatambula bulungi ekivaako omusujja gw'ensiri ogutawaanya abatuuze.

Nsangi agamba nti amaka g'abatuuze agasinga gasulamu abantu bangi kyokka nga tebalina butimba bwa nsiri kubanga Gavumenti bwe yabagabira bwakaddiwa dda ate tebalina busobozi bwegulira butimba.

Avunaanyizibwa ku by’obuyonjo mu kitundu kino, Francis Tumusiime agamba nti emidumu gya kazambi gyabika buli kiseera empitambi n’ekulukutira mu batuuze ekyongedde obulwadde obuva mu bucaafu okutawaanya abatuuze nga tebalina busobozi bwejjanjabisa.

mukazi bwe yabadde ategeka emitwe gyembuzi okugifumbira abantu Omukazi bwe yabadde ategeka emitwe gy’embuzi okugifumbira abantu.

 

“Ekizibu ekirala kye tulina kya kaabuyonjo z’olukale ntono nnyo bw’ozigeraageranya n’omuwendo gw’abatuuze.

Abantu batindigga eηηendo okutuuka ku kaabuyonjo ate nga nazo zaakusasulira. Ekiro tebatawaana kutindigga okutuuka ku kaabuyonjo olwo ne beeyamba mu bulobo ne bayiwa mu myala,” Tumusiime bwe yategeezezza.

Omutuuze omulala Milly Namubiru yagambye nti KCCA ekoze kinene okwongera obucaafu kubanga ebimotoka byayo birwawo okutwala kasasiro ng’ate abatuuze tebalina bifo mwe bamukuumira kumala bbanga ddene.

Bangi bamukuηηaanyiza ku mbalaza za mayumba ate nga kwe bafumbira n’emmere. Namubiru agamba nti newankubadde kasasiro bamukuumira mu bukutiya nga bwe balindirira mmottoka za kasasiro okumutwala nti naye mu kiseera ky'enkuba batendewalirwa ne bamuyiwa mu mwala kubanga bw’atonnyamu amazzi afuuka ekizibu n'atandika okuwunya n'okuvaamu amazzi amacaafu.

"Teebereza abantu abasinga obungi bapangisa mizigo nga ku kabalaza kw’afumbira kw’ateeka ekikutiya kya kasasiro, kw’ayoleza amasowaani, n’engoye ate nga tetusobola kukuuma kkutiya za kasasiro zino obutatonnyaamu nkuba," Namubiru bwe yategeezezza.

Ssentebe wa Kimwanyi zooni, Hassan Wasswa Ssempala agamba nti kituufu omusujja gw'ensiri n’obulwadde obuva ku bucaafu bungi mu kitundu nti naye abatuuze bettanira bulwaliro bwa bwannanyini obuli mu kitundu kubanga tebalina malwaliro ga Gavumenti.

Ssempala agamba nti balina okusomoozebwa kwa maanyi ku Katanga okugeza emmotoka za kasasiro ezirwawo okumutwala okuva mu batuuze kye yagambye nti kye kisinze okusajjula embeera.

 zimu ku nnyumba eziri mu atanga Ezimu ku nnyumba eziri mu Katanga.

 

Wabula yagambye nti KCCA ebayambyeko okugogola omwala omunene oguyita mu kitundu ng’amazzi tegakyayanjaalira nnyo mu mayumba g’abatuuze.

Ssempala agamba nti batera okufuna abasawo okuva mu ddwaaliro ly'e Mulago, e Mengo n’abalotale abagenda ku bitundu ne bakebera n’okujjanjabira abatuuze ku bwereere nti kyokka era waliwo n’abagaana okufuna obujjanjabi obw’obwereere.

Omu ku basawo mu bulwaliro mu kitundu, Alisia Kanobe agamba nti abalwadde b’asinga okufuna ba musujja gwa mu byenda nga guva mu kunywa mazzi majama, ab’omusujja gw’ensiri be baddirira n’abalina obulwadde bw’ekikaba.

“Omusujja gw'ensiri ddoozi esookerwako ey'empeke ya 6,000/-, ey'empiso ya 20,000/- ate ey'eccupa ya 50,000/- kyokka abantu abasinga bakaluubirirwa n'okusasula doozi ya 6,000/- ne tubajjanjabira ku bbanja okutaasa obulamu bwabwe," Kanobe bwe yategeezezza.

Kansala omulonde ku munisipaali y'e Kawempe Ssaalongo Badru Lubwama agamba nti essira alitadde ku kugogola obwala obutono obuyiwa ku munene kubanga bwe businga okubeera obw'omutawaana n'agamba nti abavubuka ababugogola amalirizza okubagulira ebikozesebwa.

Lubwama yagambye nti KCCA ebakwasizaako ku mwala omunene ng'abakozi baayo bagusimye n'okuguyoolamu kasasiro.

Ebyalo bisatu (3) ebirimu abantu abasukka mu 20,000 okusinziira ku ssentebe wa LC 2 Wasswa Ntogo, balina kaabuyonjo z'olukale mukaaga zokka, balina oluzzi lw'omudumu lumu lwe basimbira ennyiriri okusena amazzi kubanga abasinga tebalina busobozi bugula kidomola kya 100/-.

Kaabuyonjo bazisasulira 100/- buli agendayo, okufuka kwa bwereere okunaaba basasula 200/-.

Olw’omugotteko oguli mu kitundu kino bannannyini mayumba we basima kaabuyonjo tebalinaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600

Bab1 220x290

Kaija ayogedde ebifudde Bukedde...

Kaija ayogedde ebifudde Bukedde ow’amaanyi

Teddy 220x290

Teddy Bugingo addukidde mu kkooti...

TEDDY Naluswa Bugingo addukidde mu kkooti enkulu ng’awakanya eky’omulamuzi wa kkooti y'e Kajjansi Mary Babirye...

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja...

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu