TOP

Lukwago olukiiko lwa KCCA olusoose alugguddewo mu bbugumu!

By Hannington Nkalubo

Added 16th June 2016

OLUKIIKO lwa Loodi meeya Erias Lukwago ne bakansala olusoose lutandise na bugumu bw’alonze Sarah Kanyike ku bumyuuka bwe bonna ne bamukakasa awatali kwesalamu n’atandikirawo okukola.

Loodi1 703x422

Lukwago ng'alayiza Kanyike ku bumyuka

OLUKIIKO lwa Loodi meeya Erias Lukwago ne bakansala olusoose lutandise na bugumu bw’alonze Sarah Kanyike ku bumyuuka bwe bonna ne bamukakasa awatali kwesalamu n’atandikirawo okukola.

Kansala Mohammed Ssegirinya aludde ng’agamba nti naye ekifo akyagala oluwulidde ng’abasinga bawagidde Sarah Kanyike naye n’asaba akazindaalo n’ategeeza olukiiko nti naye gw’awagira era Lukwago abalondedde omuntu asaanidde mu kifo ekyo.

Lukwago nga tannaba kwanjula linnya lya Kanyike, yasoose kutegeeza lukiiko nti etteeka limuwa obuyinza okulonda omuntu ye gw’akakkasa nti yasobola okukolagana obulungi naye era kwe kwanjula erinnya lya Kanyike owa DP okuva mu Makindye West.

Kansala munne owa DP Moses Kataabu olwawulidde n’asituka n’awagira Lukwago era n’awa ensonga ssatu; Mukyaala muzadde, alina obumanyirivu mu nsonga za KCCA, muyivu, awuliriza ate mukulembeze aludde nga yeebuuzibwako ensonga era wa DP atayuugayuuga.

Kataabu yawagiddwa bakansala ba FDC okuli Faridah Kabugo n’aba NRM abaakulembeddwa Bruhan Byaruhanga bonna abaawadde ensonga nti asobola bulungi ate olukiiko tebakyalwagalamu ntalo.

Sarah Kanyike yategeezezza nti olwobumanyirivu bw’alina mu nsonga z’obukulembeze, agenda kwongera ku mutindo gw’okuteesa mu lukiiko awatali kwetemamu wadde okulwana entalo.

Oluvannyuma baalonze obukiiko mwe bagenda okusinziira okukolera emirimu 10. Obukiiko buno kuliko akakola ku kutegekera ekibuga ak’okukulirwa Hajj Kawalya.

Ak’ebyenjigiriza kaakuliddwa munnamawulire Ismail Ddamba Kisuze, akakola ku kubala ebitabo Kansala Nsereko n’obulala.

Olukiiko lwateesezza ne kukuwa bameeya b’amagombolola obuyinza okwekolera ku bizibu byaabwe .

Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula ataabaddewo yakiikiriddwa mumyuka we Pheibe Tukahiirwa ne ba dayirekita abatwala ebitongole okuli akola enguudo, Andrew Kitaka, amateeka Micheal Okua n’abalala.

Olukiiko lwatandise na kulayiza ba kansala b’abavubuka abaasigala batalayidde okuli okuli Shamim Namusisi Aware, Denis Otim , Ismail Tabalamule ne Idah Zawedde.

Olukiiko lwabaddemu ababaka ba palamenti bana okuli Kato Lubwama owa Lubaga South, Moses Kasibante owa Lubaga North, Latif Ssebaggala owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West.

Abalala okuli Mohamed Nsereko (Kampala Central) baaweerezza obubaka ne Micheal Kabaziguluka owa Nakawa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana