TOP

Abasuubuzi baloopye kkampuni ezibabba mu URA

By George Bukenya

Added 3rd September 2016

ABASUUBUZI ba KACITA baloopedde ekitongole ekisolooza omusolo ekya URA amakampuni ge bakozesa okubalirira omusolo nga bwe gababba.

Akol1 703x422

Dorothy Akol, akulira URA

ABASUUBUZI ba KACITA baloopedde ekitongole ekisolooza omusolo ekya URA amakampuni ge bakozesa okubalirira omusolo nga bwe gababba.

Mu lukiiko URA lwe kyatuuzizza ku wooteeri ya Holiday Express mu Kampala, baategeezezza kaminsona wa URA avunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka Agnes Nabwire nti, amakampuni gayitirizza okubabba nga gabalirira omusolo ogusukka mw’ogwa gwe balina okusasula.

Omwogezi wa KACITA, Isa Ssekitto yasabye Nabwire okulondoola kkampuni zino zigobye abasuubuzi mu mulimu guno.

“Abasuubuzi abamu baggweereddemu ddala ng’ekizibu kiva ku kkampuni ze bawa omulimu gw'okubalirira omusolo ne bakola omulimu mu butali bwesimbu ekisudde bizinensi”, Ssekitto bwe yakkaatirizz.

Yayongeddeko nti, abasuubuzi aba ssente entono beegatta nga 20 ne basindika munnaabwe omu okusuubula ebweru ebintu ne babiteeka mu konteyina emu naye abakulembedde ku biwandiika abayitamu ne babala omusolo muyitirivu ekibasuula.

Anges Nabwire yategeezezza nti, bakoze ennoongosereza mu tteeka egenda okukkiriza buli musuubuzi okwebalira omusolo gw’alina okusasula ku bintu by’ayingizza mu ggwanga. Yayongeddeko nti omusuubuzi agenda kuba wa ddembe okusalawo okukozesa kkampuni zino oba okwebalira omusolo.

Yagambye nti abasuubuzi abeegatta ne baleetera ebintu mu konteyina bwe bituuka wano buli omu abeerewo nga URA esumulula konteyina okubalirira omusolo. Ate abo abatasobola kwebalira musolo bafeeyo okulaba nga basoma empapula za URA.

Etteeka ekadde libadde likaka abasuubuzi okukwasa omulimu gw'okubalirira omusolo kkampuni URA ze yawa layisinsi okubalirira omusolo ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...