TOP

Bakansala e Makindye bakubaganidde mu lukiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 1st October 2016

MEEYA w’e Makindye, Ali Kasirye Nganda Mulyannyama akyatabuddwa oluvannyuma lw’olukiiko lwe yayise okuggweera mu kukubagana nga Bakansala aba NRM n’abooludda oluvuganya Gavumenti balemeddwa okukkaanya.

Ooka1 703x422

Bakansala ba NRM nga bakubagana n’aba DP mu kkanso.

Bya PONSIANO NSIMBI NE MARGRET ZALWANGO

MEEYA w’e Makindye, Ali Kasirye Nganda Mulyannyama akyatabuddwa oluvannyuma lw’olukiiko lwe yayise okuggweera mu kukubagana nga Bakansala aba NRM n’abooludda oluvuganya Gavumenti balemeddwa okukkaanya.

Mulyannyama yagambye nti kyabaswazizza eri abalonzi, okulemwa okuteesa ate nga baalondebwa kuteesa n’okumulungula ensonga mu mirembe banogere ebizibu ebiruma ab’e Makindye eddagala.

Okukubagana kyaddiridde kansala wa NRM, Janat Kiweesi Nassimbwa akiikirira omuluka gwa Kikubamutwe okuleeta ekiteeso ekiwakanya okuyisaamu erinnya lya Bosco Lusagala owa DP ng’akiikirira omuluka gwa Kibuye 1.

Kkanso yagguddwaawo ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Lwokuna ng’ekubirizibwa Meeya Mulyannyama.

Yasoose kuyita mu biteeso ebyateesebwako mu kkanso y’omulundi ogwayita eyatuula mu kifo kye kimu kyokka nga ne ku mulundi ogwo baalemwa okukkiriziganya nga guno mulundi gwakusatu nga bateesa ku nsonga eno.

Ssaalongo Erias Lukwago yeetabye mu lutuula luno n’afuluma nga terunnaggwa.

Olwafulumye, Meeya n’akomyawo n’ekiteeso ky’okukakasa omumyuka we ekyaggye aba NRM mu mbeera ne balumba omuwandiisi wa kkanso eyabadde alina okufuna abasemba erinnya lya Lusagala owa DP eyalondebwa Mulyanyama.

Embeera yawalirizza bakkansala ba NRM okuvaayo bataase omuwandiisi wa kkanso era we baatandikidde okulwana n’okwerangira ebisongovu.

Meeya yawaliriziddwa okuyimiriza kkanso okumala ssaawa bbiri n’abalagira okukkakkana.

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana bwe yalabye embeera etabuse n’avaawo nga talina ky’ayogedde.

Kkanso yazzeemu ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi, Meeya bwe yazzeemu okwanjula ekiteeso, omuwandiisi wa kkanso, Sylivia Nassolo n’amusala ekimuli n’amutegeeza nga mukama we omuwabuzi mu byamateeka bw’asabye ensonga eyogezebweyo aba DP kye bawakanyizza nga bagamba nti etteeka liwa Meeya obuyinza okulonda omumyuka we.

Aba DP 23 n’owa NRM omu baasembye Lusagala okuba omumyuka wa Meeya era ekiteeso ne kiyita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Bawambye abadde y'akakuba embaga...

Bawambye abadde y'akakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira

Sanyu 220x290

Abatembeeyi basagambiza nga akimemezza...

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya alagidde buli mutembeeyi eyaggalirwa mu kkomera ku misango gya KCCA gimuggyibweeko...

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza...

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde

Jac1 220x290

Jackson Mayanja anoonya wiini ya...

Jackson Mayanja anoonya wiini ya kubiri mu Kyetume FC

Reigns 220x290

Munna UPC kakongoliro afiiridde...

MUNNA UPC omukazi eyayatiikirira ennyo ku mulembe gwa Dr. Milton Obote II era ng’abadde mpagi luwaga mu kibiina...