TOP

Ssentebe wa Muyenga alekulidde ebifo by’obuweereza mu NRM

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2017

Ssentebe wa Muyenga, Yasin Omari alekulidde ekibiina kye ekya NRM ng’ebula mbale okutuuka ku kulonda kwa bassentebe by’ebyalo aba LC1 ne 2.

Was1 703x422

Omari (ku kkono) ng’alaga empapule kwe yaweereddeyo okulekulira kwe.

Ssentebe wa Muyenga, Yasin Omari alekulidde ekibiina kye ekya NRM ng’ebula mbale okutuuka ku kulonda kwa bassentebe by’ebyalo aba LC1 ne 2.

Omari yasinzidde muyenga n’ategeeza okulekulira kw’ekibiina kye kino ky’agamba nti abadde akyagala nnyo era ng’akikoleredde ebbanga ddene. Yawadde ensonga mukaaga ezimuwalirizza okulekulira.

Omari ku bwassentebe bwa LC1 Muyenga Hill, abadde agattako n’ebifo ebirala 4 by’abadde aweerezaamu mu NRM okuli; okukwata bendera ya NRM mu muluka gw’e Bukasa, Ssentebe wa NRM ow’eggombolola y’e Makindye, akulira akakiiko akakwasisa empisa ku ggombolola e Makindye mu NRM.

Yagambye nti asigazza ebifo bibiri byokka; ekya LC1 owa Muyenga Hill Zooni n’ekya ssentebe wa LC2 mu Bukasa omulonde.

Yategeezezza nti emu ku nsonga eyamulekulizza be bakulembeze ku mitendera egya waggulu okubayisaamu amaaso bo abasookerwako.

Ekirala nti poliisi ne ofiisi ya RCC babalemesa okukola emirimu gye balina okukolera abantu abaabalonda.

Yannyonnyodde nti waliwo n’abamu ku bakulembeze banne ababba ensimbi z’abatuuze era nga kati bali mu kkooti bawerennemba na misango wabula ate kyewuunyisa nga be babataddeko okubakulembera kye yagambye nti tasobola kukigumiikiriza.

Ensonga endala nti NRM yalonda abalina okugikwatira bendera ku bifo eby’enjawulo kyokka bwe baatuuka ku LC 2 kye yaliko ne batalonderako muntu ekigenda okubaviirako entalo n’okusika omuguwa mu kulonda okwengedde kwe kusalawo okwesimbawo nga tali wansi wa kibiina.

Yategeezezza nga Ssentebe wa NRM mu Makindye, Hajji Hussein Lukyamuzi, eyali omubaka mu palamenti John Ssimbwa yamumaamulako ekireeseewo entalo mu kibiina.

Agamba nti awandiise amabaluwa mangi eri ababatwala mu NRM nga Tango Odoi, Kasule Lumumba n’abalala ku nsonga eno, kyokka n’atafuna kuddibwamu newankubadde okukola ku nsonga ezibatawaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...