TOP

Embeera embi abasuubuzi b’omu akeedi gye bakoleramu

By Martin Ndijjo

Added 11th January 2017

EMBEERA abasuubuzi b’omu Kampala gye bakoleramu yeeraliikirizza abaddukanya Kampala Central. Kino kyeyolekedde mu mbeera embi mwe bakolera eteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.

Arcade11 703x422

Kasasiro bamukung’aanyiza ku miryango gya akeedi so nga mukulukutiramu n’amazzi amajama.

Bya Martin Ndijjo

EMBEERA abasuubuzi b’omu Kampala gye bakoleramu yeeraliikirizza abaddukanya Kampala Central. Kino kyeyolekedde mu mbeera embi mwe bakolera eteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.

Abasuubuzi buli ku makya bakeera kweyiwa mu Kampala kunoonya ssente.

Bangi ku bano bakolera mu akeedi n’ebizimbe ebirala mwe basiiba nga balindiridde bakasitoma.

Ng’oggyeeko emisolo ne bakasitoma ababatakuza emitwe mu kiseera kino, obadde okumanyi nti embeera n’ebifo mwe bakolera bisobola okubafiiriza era nga bya bulabe eri obulamu bwabwe.

Wadde nga KCCA efubye okuyonja n’okulongoosa enzirukanya y’emirimu mu kibuga, abakulira abasuubuzi naddala abakolera mu akeedi bagamba nti embeera gye bakoleramu ekyali ya bulabe era eremesezza bangi okufuna n’okukulaakulana.

 asasiro gwe bakungaanyirizza ku mulyango gwa akeedi emu mu ampala Kasasiro gwe bakung’aanyirizza ku mulyango gwa akeedi emu mu Kampala.

 

Wano we basinzidde nga bali wamu ne KCCA okuvaayo n’enteekateeka y’olusiisira lw’ebyobulamu olugendereddwaamu okusomesa, okubudaabuda, okukebeza abasuubuzi endwadde ezitali zimu n’okubawa obujjanjabi wansi w’omulamwa ‘Munnakampala omulamu ly’essuubi lyaffe….’

Godfrey Katongole, ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi abakolera mu akeedi z’omu Kampala ekya ‘Kampala Arcades Traders Association’ (KATA) agamba nti balina bammemba abali mu bukadde 2 nga tebasobola kusigala nga batunula nga bammemba baabwe bakosebwa olw’embeera gye bakolera kubanga bangi tebamanyi bulabe bwe bakoleramu.

“Abantu abasinga bamala kulwala okugenda okwekebeza, olumu ekitayamba kubanga mu kiseera kino obulwadde bubeera busajjuse nga kizibu okuwona so ng’omuntu omutuufu yandibadde buli kiseera yeekebeza okuziyiza endwadde oba okumanya amangu ekizibu ne kisalirwa mangu amagezi.”

Olw’okuba abantu baffe ekibaleeta mu kibuga kunoonya ssente, bangi tebalina budde bugenda kwekebeza na kufuna bujjanjabi ate abalala bawoza kimu nti amalwaliro ga bbeeyi kubanga abasinga ku bano bamufunampola.

Katongole agamba nti olusiisira lw’ebyobulamu luno lugenda kukubibwanga mu biseera by’ennaku enkulu okuli; Kulisimaasi, paasika, Iddi kubanga mu budde buno omuwendo gw’abantu mu kibuga gweyongera era enteekateeka eno wadde esookedde wakati mu Kampala (Central) yaakugaziyizibwa okutuuka mu munisipaali za Kampala endala n’ebitundu ebiriraanyewo kubanga eno yonna batwalayo (Kampala metropolitan).

Embeera ey’obulabe abasuubuzi gye bakoleramu n’endwadde ze boolekedde okufuna. Dr. Nelson Mwesige nga y’atwala ebyobulamu ku lukiiko lw’abasuubuzi abakolera mu akeedi agamba nti ssinga abasuubuzi tebafaayo kumanya mbeera gye bakoleramu n’okuwaayo obudde okubuulirwa ku kye bayinza okukola, kiyinza okukosa obulamu n’enzirukanya y’emirimu gyabwe.

Ono alaze ezimu ku mbeera ez’obulabe mwe bakolera n’endwadde ze bayinza okufuna. l “Akeedi nnyingi, nkyafu munda ne wabweru ate nga muno abasuubuzi mwe basiiba nga bakola emirimu gyabwe.

Ng’oggyeeko ekya bakasitoma abamu abayinza okugaana okuzigendamu olw’obujama n’okukyuma, embeera eno esobola okuvaako endwadde ez’enjawulo okuli; ekiddukano, omusujja gw’omu byenda n’endala.

Abasuubuuzi bakolera essaawa nnyingi ng’obudde obusinga babeera batudde butuuzi nga tebava mu bifo.

 gombya ku kkonongannyonnyola ku byolusiisira lwebyobulamu akati ye r elson wesige ne odfrey atongole mu lukiiko lwa bannamawulire Ggombya (ku kkono)ng’annyonnyola ku by’olusiisira lw’ebyobulamu. Wakati ye Dr. Nelson Mwesige ne Godfrey Katongole mu lukiiko lwa bannamawulire.

 

Okutuula okumala obudde obuwanvu kivaako endwadde omuli; okulumizibwa ebinywa, omugongo n’ebirala. lWaliwo abakyala abalina omuze ogulya buli ekibasala mu maaso.

Bano buli lw’alaba atambuza ekyokulya ng’amuyita waakiri okumusaba ‘jjalibu’ oba okugulayo bya 500/-.

Embeera eno ey’okulyankuzibwa esobola okuvaako endwadde eziva ku mugejjo naddala mu mbeera eno nga tebalina budde bukola dduyiro. lOmujjuzo mu akeedi ne mu nkuubo zaazo nayo mbeera ya bulabe eri abakoleramu.

Ng’oggyeko obuzibu bwe basanga mu kussa olw’omukka gwe balwanira, endwadde ng’akafuba (TB), ssennyiga n’endala ezisaasanira mu mpewo kyangu okubakwata nga ziyita mu mukka gwe bassa.

Ekibuga kijjudde mmotoka omuli n’enkadde nga zino zivaamu omukka ogw’obulabe oguvaako endwadde omuli ne kkansa.

lBwe gutuuka ku mbeera y’ebyenfuna ne kiyitirira kuba abasinga bizinensi tezitambula bulungi, beeraliikirira ssente ze beewola, ez’obupangisa , okulya, fiizi z’abaana n’ebirala.

Olw’ebbula lya ssente abasuubuzi abasinga babeera mu kweraliikirira ku ngeri gye bayinza okutuukirizaamu ebintu bino byonna ekibateeka mu mbeera ya situleesi.

lOlw’okuba Akeedi ezisinga okugenda mu kaabuyonjo omala kusasula, abasuubuzi abamu mu mbeera ey’okukekkereza n’abamu obutaba na ssente, basalawo okwerumya ne batuuka n’okusiba omusulo okumala ebbanga eddene. Kino kisobola okubaviirako obuzibu ng’okulumizibwa mu akawago.

Abalala naddala abakazi bafuna endwadde nga candida eziva ku bantu abangi abakozesa kaabuyonjo n’ebiyigo.

lAkeedi ezisinga mu kibuga waggulu ziriko wooteeri oba loogi. Ebifo bino bikozesebwa nnyo abasuubuzi abagendayo okwesanyusa olumu ne basuubuzi bannaabwe oba abantu abalala era bano mu kwegatta bafuna endwadde z’obukaba omuli ne siriimu.

Mwesige agamba nti ekizibu kino bakinogedde eddagala nga bali wamu n’abekitongole kya IDI (Infectious Diseases Institute). Bagenda kutandika okuteeka kondomu mu bifo bino n’ebifo abasuubuzi we basobola okwekebereza siriimu ku buli akeedi.

KCCA yeeyamye okubayamba

Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza okulaga embeera gye bakoleramu n’obulabe bwe boolekedde, omumyuka wa meeya wa Kampala Central, Sam Gombya era nga ye yabaddewo ku lwa KCCA yayanirizza enteekateeka eno n’asuubiza nga KCCA bw’egenda okubakwasizaako.

“Ffe ng’abakulembeze era abatwala ekibuga tubeera basanyufu okukulembera abantu nga balamu kubanga omuntu okukola nga mulamu kiteegeza kukola na mannyi n’okwekulaakulanya.”

Yagasseeko nti mu KCCA bafuba okulaba nga balongoosa embeera abantu mwe bakolera. ‘‘Abakulembeze b’abasuubuzi bwe bavaayo n’enteekateeka eno tuteekeddwa okugiwagira kubanga ku nkomerero kitegeeza nkulaakulana ya kibuga na buli muntu kukyeyagaliramu,’’ bwe yagambye.

Gombya akubiriza abasuubuzi n’abantu abalala abasiiba mu kibuga okukozesa omukisa guno ogw’olusiisira lw’ebyobulamu olugenda okutandika ku Mmande nga January 16 okumala wiiki

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda