TOP

Ab'e Kyebando batabukidde omugagga ayagala okwezza ettaka lya Nnamukadde

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2017

Abatuuze b’e Kyebando - Katale zooni batabukidde omugagga abadde yeekobaana ne muwala wa Nnamukadde bamunyageko ettaka.

Kaaaa11 703x422

Abatuuze b'e Kyebando nga beekalakaasa. Mu katono ye Nnamukadde Nansiyata, gwe baagala okutwalako ettaka. EKIF: DANIEL KAYIGWA

Bya Daniel Kayigwa

Abatuuze b’e Kyebando - Katale zooni batabukidde omugagga abadde yeekobaana ne muwala wa Nnamukadde bamunyageko ettaka.

Bano nga bakulembeddwaamu kansala w’ekitundu ekyo, Muhamad Ssegirinnya batutte omugagga Daniel Mukalazi nga talinnya.

Ono abadde yeekobaana ne Mariam Nankya, muwala wa Nnamukadde Nansiyata Nankya banyage ettaka lye (Nansiyata).

Nnamukadde Nansiyata ategeezezza nti Nankya yabba ebiwandiiko byonna ebyogera ku ttaka lino n'abikyusa n'abizza mu mannya ge oluvannyuma n'aliguza Mukalazi mu bukyamu.

Agasseeko nti oluvannyuma Mukalazi yayungula ekibinja ky’abavubuka abaayiwa ettaka ku nnyumba ye mu ngeri y’okumusindiikiriza era nga kati abadde takyalina w'asula okutuusa we yeekubidde enduulu mu bakulembeze.

Ye kansala Muhamad Ssegirinnya ategeezezza nti tebajja kukkiriza bagagga kutulugunya bantu naddala abakadde abatalina mwasirizi n'asaba ebitongole by’ebyokwerinda bisitukiremu okuyamba abantu nga Nansiyata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.