TOP

Ntudde ku maggwa mu KCCA - Jennifer Musisi

By Kizito Musoke

Added 3rd March 2017

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi Semakula ategeezezza nti ssinga yali ategeereddewo obugubi obuli mu kifo ky’alimu mu Kampala yandikigaanye okukitwala nga Pulezidenti amulonze.

Cant 703x422

Jennifer Musisi ne Allen Kagina (ku ddyo).

Bino yabyogedde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti aka COSASE gye yabadde ayitiddwa annyonnyole engeri gye yagabana ku buwumbi omukaaga ezaaweebwa abakozi ba Gavumenti 42 ng’akasiimo ku ssente ezaava mu musango gw’amafuta.

Margret Baba Diri (mukazi Koboko) yabuuzizza Musisi oba ng’akasiimo okumulonda ku bwa Dayirekita wa Kampala kaali tekamumala atuuke n’okukkiriza okutwala ssente z’omuwi w’omusolo endala.

Musisi yategeezezza nti eky’okumulonda ku bwa Dayirekita tekirina kakwate na kasiimo kuba yalondebwa nga November 11, 2011 ate omusango ne gusalwa mu 2015.

Yagambye nti gy’ali ssi kasiimo kuba embeera gy’ayitamu singa yali ategeereddewo ku ntandikwa nti bwe binaabeera teyandikkirizza kifo ky’alimu n’agamba nti; “Singa nali ntegeereddewo embeera gye nnina okuyitamu ku ntandikwa nga nnondebwa, sandikkirizza kifo kye bampa.

Waakiri nnandigenze ne nneekozesa nzekka, okusinga okukolera mw’eno embeera”, Musisi bwe yategeezezza akakiiko ka Palamenti.

Musisi yategeezezza nti yafuna obukadde 50 mu mpeke oluvannyuma lw’okuggyako ssente z’omusolo n’ez’ekittavvu Gavumenti mw’emuterekera ssente ze ng’amaze okuwummula (NSSF). Okuzifuna yali yavaayo dda mu kitongole ekiwooza emisolo ekya URA.

Yagambye nti Doris Akol , akulira ekitongole kya URA ye yamukubira essimu n’amutegeeza nga Pulezidenti bwe yali asiimye omulimu gwe baali bakoze mu kuwangula omusango gw’amafuta mwe baali battunkira ne kkampuni ya Heritage Oil.

Musisi yagambye nti tamanyi ngeri ssente gye zaagerekebwamu, kuba yali yeemalidde ku mirimu gya KCCA okutuusa bwe yafuna obubaka ku ssimu nga bumugamba nga bwe yali afunye obukadde 50 ku akawunti ye.

Yategeezezza nti omulimu gwe yakola kwali kutegeka ttiimu ya bannamateeka n’okukola okunoonyereza omuli n’okwebuuza ku mateeka ag’enjawulo ne bakakasa nti ddala kkampuni ya Heritage yalina okusasula omusolo eri Gavumenti.

Ye Kaliisa Kabagambe eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobugagga eby’omu ttaka yakkirizza nga bwe yafuna obukadde 100, kyokka oluvannyuma lw’okuggyako omusolo yafuna obukadde 60.

Yategeezezza nti yali tayagala kuweebwa ssente zino era nga singa yali aweereddwa omukisa okumwebuuzaako yandisabye bamuweemu omudaali.

Yagasseeko nti ekyamutwaza ssente zino, lwa nsonga nti yali tayagala kubeera mugyemu eri abaali bamusiimye. Akulira ekitongole ky’eby’enguudo ekya UNRA, Allen Kagina naye yalabiseeko mu kakiiko kano n’ategeeza nti wadde y’omu ku baafuna ku ssente kyokka teyeenyigirako mu kuzisaba okuva ku muntu yenna.

Yagambye nti kwali kusiima kwa Pulezidenti ng’abeebaza omulimu gwe baali bakoze.

Ssente obuwumbi omukaaga ezoogerwako zajjawo oluvannyuma lwa kkampuni y’amafuta eya Heritage Oil bwe yasalawo okutunda emigabo gyayo gye baalina mu by’okusima amafuta ne bagiguza kkampuni ya Tullow Oil ku ssente ezaali zisukka mu kawumbi kamu n’ekitundu eza doola ya Amerika.

Ekitongole ky’emisolo ekya (URA) kyavaayo ne kitegeeza nga bwe kyalina okuwooza omusolo ku ssente z’obuguzi buno, kyokka kkampuni z’amafuna ne zigaana ne zisalawo okwekubira enduulu mu kkooti e Bungereza nga bakiwawakanya. Omusango gwasalwa mu 2015, nga Uganda egusinze.

Wano abakungu ba Gavumenti abaali mu kuwoza omusango guno kwe kuwandiikira Pulezidenti Museveni asiime abakungu ababadde mu musango guno.

Abakungu 42 baaweebwa obuwumbi mukaaga ne bazigabana ng’akasiimo buli omu n’afunako omugabo ogw’enjawulo.

Palamenti yasalawo abakozi ba Gavumenti abaafuna ssente zino banoonyerezebweko akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE. Akakiiko kakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri County).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono